LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 10/1 lup. 12-13
  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • 4 | Katonda Asobola Okukuyamba Okweggyamu Obukyayi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2022
  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Nnali Mukambwe era Wa Ffujjo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 10/1 lup. 12-13
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Abantu Bangi Baali Tebanjagala”

Byayogerwa Waldo Moya

  • NNAZAALIBWA: 1978

  • ENSI: CHILE

  • EBYAFAAYO: NNALI MUKAMBWE NNYO

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnakulira mu Santiago, ekibuga ekikulu eky’eggwanga lya Chile. Ekitundu mwe nnakulira mwalimu obumenyi bw’amateeka bungi nga mw’otwalidde n’okukozesa ebiragalalagala. Bwe nnali nga ndi wa myaka ettaano, taata yatemulwa. Oluvannyuma maama yafumbirwa omusajja eyali omukambwe ennyo, era yatukubanga buli lunaku. Buli lwe nkirowoozaako mpulira bubi nnyo.

Bwe nnagenda nkula, nange nnafuuka mukambwe nnyo. Nnawulirizanga ennyimba ezitali nnungi, nnanywanga nnyo omwenge, era oluusi nnakozesanga ebiragalalagala. Nnalwananga n’abavubuka abaakukusanga ebiragalalagala, era emirundi mingi baagezaako okunzita. Lumu, ekibinja ekimu eky’abamenyi b’amateeka kyampangira omutemu anzite. Nnamwetakkuluzaako naye yali amaze okuntuusaako ekisago. Ku mulundi omulala, ekibinja ky’abakukusa ebiragalalagala bansongamu pisito ne bagezaako okuntuga.

Mu 1996, nnasisinkana omukyala ayitibwa Carolina, era mu 1998, twafumbiriganwa. Mutabani waffe asooka bwe yazaalibwa, nnatandika okweraliikirira nti olw’okuba nnali mukambwe nnyo, ab’omu maka gange nnandibayisizza nga taata omuto bwe yatuyisaanga. Bwe kityo nnasalawo okugenda eri abakugu mu ddwaliro erimu bannyambe, naye saatereera. Nneeyongera okuba omukambwe, era ng’ekintu ne bwe kiba kitono kitya kinnyiiza. Olw’okuba nnali saagala kuddamu kulumya ba mu maka gange nnagezaako okwetta. Naye ekirungi, saasobola kwetta.

Nnamala emyaka mingi nga sikkiriza nti Katonda gyali, naye nnali njagala okukkiririza mu Katonda. N’olwekyo nnatandika okusabira mu Balokole. Mu kiseera ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa baali bayigiriza mukyala wange Bayibuli. Nnali saagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa, era nnabavumanga. Naye baasigalanga bakkakkamu era ekyo kyankwatako nnyo.

Lumu mukyala wange yansaba mbikkule Bayibuli yange nsome Zabbuli 83:18. Ekyawandiikibwa ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa lye linnya lya Katonda. Kyanneewuunyisa nnyo kubanga mu ddiini gye nnalimu tabanjigiriza linnya lya Katonda. Ng’omwaka gwa 2000 gwa katandika, nange Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okunjigiriza Bayibuli.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, kyambudaabuda nnyo okukimanya nti Yakuwa Katonda wa kisa era asonyiwa. Ng’ekyokulabirako, mu Okuva 34:6, 7, Bayibuli egamba nti Yakuwa ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi.”

Wadde kyali kityo, tekyanyanguyira kussa mu nkola ebyo bye nnali njiga. Nnali sisuubira nti waliwo ekisobola okunnyamba okufuga obusungu. Buli lwe nnalemererwanga okubufuga, mukyala wange yanzizangamu amaanyi. Yanzijjukizanga nti Yakuwa yali alaba engeri gye nnali nfubamu. Ekyo kyampanga amaanyi okweyongera okuweereza Yakuwa wadde ng’oluusi nnalowoozanga nti sisobola kumusanyusa.

Lumu, Alejandro eyali anjigiriza Bayibuli yaŋŋamba nsome Abaggalatiya 5:22, 23. Ennyiriri ezo zigamba nti engeri eziri mu kibala eky’omwoyo kwe “kwagala, essanyu, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.” Alejandro yannyinnyonnyola nti sisobola kwoleka ngeri ezo mu maanyi gange, naye nti omwoyo omutukuvu gwe gusobola okunnyamba. Ekyo kyandeetera okukyusa endowooza yange!

Nga wayiseewo ekiseera, nnagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa. Engeri buli kimu gye kyali kitegekeddwamu, obuyonjo, n’obumu bye nnalaba byankakasa nti nnali nzudde eddiini ey’amazima. (Yokaana 13:34, 35) Nnabatizibwa mu Febwali 2001.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Yakuwa annyambye okuyiga okufuga obusungu ne nfuuka omuntu ow’emirembe. Ndabira ddala nga Yakuwa yanzigya wala nnyo. Abantu bangi baali tebanjagala, era sibanenya. Kati ndi musanyufu nnyo olw’okuba nze, mukyala wange, ne batabani baffe babiri tuweerereza wamu Yakuwa.

Ab’eŋŋanda zange n’abo abaali mikwano gyange beewuunya nnyo okulaba nti kati ndi muntu wa njawulo nnyo. N’ekivuddemu, abamu ku bo batandise okuyiga Bayibuli. Ate era nfunye enkizo okuyamba abalala okumanya Yakuwa. Nga kinsanyusa nnyo okulaba nti nabo Bayibuli ebayambye okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share