Beewaayo Kyeyagalire mu philippines
EMYAKA nga kkumi emabega, Gregorio ne mukyala we Marilou, abali mu myaka 30, baali baweereza nga bapayoniya mu kibuga Manila ate nga mu kiseera kye kimu bakola emirimu egy’ekiseera kyonna. Wadde nga tekyali kyangu kukwataganya mirimu gyabwe n’obuweereza bwabwe, ekyo baasobola okukikola. Nga wayise ekiseera, Marilou yakuzibwa n’afuuka maneja mu bbanka mwe yali akolera. Agamba nti: “Emirimu gyaffe gyali gitusasula bulungi.” Mu butuufu, olw’okuba baali bafuna ssente nnyingi, baasalawo okuzimba ennyumba mu kifo eky’ebbeeyi, ekisangibwa mayiro nga 12 okuva mu kibuga Manila. Baapatana ne kampuni emu okubazimbira ennyumba eyo, nga baliko ssente ze balina okugisasula buli mwezi okumala emyaka kkumi.
“NNAWULIRA NG’EYALI ALYAZAAMANYA YAKUWA”
Marilou agamba nti: “Olw’okuba nnali nkuziddwa ku mulimu, kyali kinneetaagisa okumala ebiseera bingi nga nkola, ekyo ne kindeetera okuddirira mu by’omwoyo. Nnawulira ng’eyali alyazaamanya Yakuwa.” Marilou agamba nti: ‘Nnali sikyasobola kumalayo ssaawa zange nga payoniya.’ Ekyo, Gregorio ne Marilou kyabamalako essanyu, era ne baasalawo okutuula boogere ku ngeri gye baali batambuzaamu obulamu bwabwe. Gregorio agamba nti: “Twali twagala okukola enkyukakyuka naye nga tetumanyidde ddala kya kukola. Twayogera ku ngeri gye twali tuyinza okugaziya ku buweereza bwaffe, naddala okuva bwe kiri nti tetwalina baana. Twasaba Yakuwa atuwe obulagirizi obwetaagisa.”
Mu kiseera ekyo, waaliwo emboozi nnyingi ezaaweebwa ezikwata ku kugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Gregorio agamba nti: “Twawulira nga Yakuwa eyali ezzeemu essaala yaffe.” Gregorio ne Marilou baasaba Yakuwa anyweze okukkiriza kwabwe basobole okufuna obuvumu okusalawo obulungi. Ekizibu eky’amaanyi kye baalina, ye nnyumba yaabwe gye baali bazimba. Baali bamaze emyaka essatu nga basasula kampuni gye baapatana nayo. Kati olwo bandikoze ki? Marilou agamba nti: “Bwe twandiyimirizza kampuni eyo, twandifiiriddwa ssente zonna ze twali twakagisasulako, ate nga ssente ezo zaali nnyingi nnyo. Twalina okusalawo okukulembeza ebyo Katonda by’ayagala oba ebyo ffe bye twagala.” Bwe baafumiitiriza ku bigambo bya Pawulo ebikwata ku ‘kwefiiriza,’ baasalawo okusazaamu kontulakiti ne kampuni eyali ebazimbira ennyumba yaabwe, ne baleka emirimu gyabwe, ne batunda ebintu byabwe ebisinga obungi, era ne bagenda okuweereza mu kitundu ekimu ekiri ku kizinga ky’e Palawan, ekisangibwa mayiro nga 300 e bukiikaddyo bwa Manila.—Baf. 3:8.
‘BAAYIGA EKYAMA’
Bwe baali tebannagenda Palawan, Gregorio ne Marilou baaliko ebintu bye beerekereza, naye okusinziira ku mbeera eyaliyo, baali bakyetaaga okweyongera okubaako ebintu ebirala bingi bye beerekereza. Marilou agamba nti: ‘Mu kitundu ekyo, tewaaliyo masannyalaze, era n’ebintu ebisinga obungi bye twali tumanyidde okukozesa mu kibuga tebyaliyo. Mu kifo ky’okufumbira ku masannyalaze, twafumbiranga ku nku.’ Wadde kyali kityo, Gregorio ne Marilou bajjukiranga ensonga lwaki baasalawo okugenda mu kitundu ekyo, era mu kiseera kitono baamanyiira embeera y’omu kitundu ekyo. Marilou agamba nti: “Kindeetera essanyu lingi okwetegereza ebitonde bya Yakuwa ebirabika obulungi, nga muno mwe muli n’emmunyeenye ze ndaba ekiro. N’ekisinga byonna, kinsanyusa nnyo okulaba engeri abantu gye bakwatibwako nga tubabuulira. Okuweereza mu kitundu kino kituyambye ‘okuyiga ekyama’ eky’okuba abamativu.”—Baf. 4:12.
“Kitusanyusa nnyo okulaba ng’abantu abapya bangi beeyongera okwegatta ku kibiina kya Yakuwa. Kati tuwulira nga ddala obulamu bwaffe bwa makulu.”—Gregorio and Marilou
Gregorio agamba nti: “We twatuukira mu Palawan, waaliyo Abajulirwa ba Yakuwa bana bokka. Ab’oluganda abo baasanyuka nnyo bwe nnatandika okuwa emboozi ya bonna buli wiiki era okuba nti nnakubanga ennyimba z’Obwakabaka ku ggita yange nga tuyimba, nakyo kyabasanyusa nnyo.” Mu mwaka gumu gwokka, ekibiina ekyo kyakulaakulana ne kiweza ababuulizi 24. Gregorio agamba nti: “Ab’oluganda abali mu kibiina ekyo batulaze okwagala kungi era ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi.” Gregorio ne Marilou bwe balowooza ku myaka omukaaga gye bamaze nga baweereza mu kitundu ekyo ekyesudde, bagamba nti: “Kitusanyusa nnyo okulaba ng’abantu abapya bangi beeyongera okwegatta ku kibiina kya Yakuwa. Kati tuwulira nga ddala obulamu bwaffe bwa makulu.”
“NDOZEZZAAKO NE NDABA NTI YAKUWA MULUNGI!”
Mu Philippines, waliyo ab’oluganda ne bannyinaffe nga 3,000 abaweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Bitaano ku bo bannyinaffe. Lowooza ku mwannyinaffe Karen.
Karen
Karen, kati alina emyaka 25, yakulira mu Baggao, Cagayan. Bwe yali akyali mutiini, yalowoozanga ku ky’okugaziya ku buweereza bwe. Agamba nti: “Okukimanya nti ekiseera ekisigaddeyo kitono ate ng’abantu aba buli ngeri beetaaga okuwulira obubaka bw’Obwakabaka, kyandeetera okwagala okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.” Wadde ng’abamu ku b’omu maka ge baali bamukubiriza okugenda ku yunivasite mu kifo ky’okugenda okuweereza mu kitundu ekyesudde, Karen yasaba Yakuwa amuwe obulagirizi. Yayogerako n’abo abaali baweereza mu bitundu ebyesudde. Bwe yali nga wa myaka 18, yagenda okuweereza mu kitundu ekyesudde mayiro nga 40 okuva ewaabwe.
Ekibiina Karen kye yagenda okuwagira kirimu ababuulizi batono era kibuulira mu bitundu by’ensozi ebiri okumpi n’olubalama lw’ennyanja Pacific. Karen agamba nti: “Okuva e Baggao okutuuka mu kibiina kye nnagenda okuweererezaamu, twatambula okumala ennaku ssatu. Twalinnya ensozi nnyingi era ne tusala emigga egy’enjawulo egisukka mu 30.” Agattako nti: “Okusobola okutuuka ku bayizi ba Bayibuli abamu, ntambula okumala essaawa mukaaga, ne nsula ew’omu ku bayizi bange, era enkeera ne ntambula okumala essaawa mukaaga okudda gye mbeera.” Alina emikisa gyonna gy’afunye? Karen agamba nti: “Oluusi ntambula n’amagulu ne gannuma, naye ndi musanyufu nnyo okuba nti nnina abayizi ba Bayibuli abasukka mu 18. Ndozezzaako ne ndaba nti Yakuwa mulungi!”—Zab. 34:8.
“NNAYIGA OKWESIGA ENNYO YAKUWA”
Sukhi
Kiki ekyakubiriza mwannyinaffe Sukhi, ali mu myaka 40 eyali abeera mu Amerika era ng’ali bwannamunigina, okugenda okuweereza mu Philippines? Mu 2011 yagenda mu lukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri okwali ow’oluganda ne mukyala we abaabuuzibwa ebibuuzo. Baayogera ku ngeri gye baatundamu ebintu byabwe ebisinga obungi basobole okugenda okubuulira mu Mexico. Sukhi agamba nti: “Ebyo bye baayogera byandeetera okulowooza ku kintu kye nnali sirowoozangako.” Sukhi, enzaalwa ya Buyindi, bwe yakitegeerako nti waaliwo obwetaavu obw’okubuulira abantu aboogera Olupunjabi ababeera mu Philippines, yasalawo okugenda okuweerereza eyo. Alina obuzibu bwonna bwe yayolekagana nabwo?
Sukhi agamba nti: “Tekyannyanguyira kumanya bintu ki bya kutunda. Ate era, oluvannyuma lw’okumala emyaka 13 nga mbeera nzekka mu nnyumba yange, nnasalawo okugira nga mbeerako awaka okumala ekiseera kitono. Ekyo tekyannyanguyira, naye kyannyamba okwetegekera embeera gye nnali ŋŋenda okubeeramu nga mpeereza mu Philippines.” Bizibu ki bye yafuna ng’ali mu Philippines? Agamba nti: “Okutya ebiwuka n’okuwulira ekiwuubaalo bye bizibu ebyali bisinga okuba eby’amaanyi bye nnalina. Kyokka, nnayiga okwesiga ennyo Yakuwa!” Sukhi alina emikisa gyonna gy’afunye? Agamba nti: “Yakuwa atugamba nti, ‘Mungezese, mulabe obanga siibayiire emikisa mingi nnyo.’ Ndaba obutuufu bw’ebigambo ebyo, naddala buli lwe ŋŋenda ew’omuntu gwe njigiriza Bayibuli n’aŋŋamba nti, ‘Onookomawo ddi? Nnina ebibuuzo bingi bye njagala okukubuuza.’ Kinsanyusa nnyo okuyamba abantu okuyiga amazima!” (Mal. 3:10, NW) Sukhi agattako nti: “Ekintu ekyasinga okunzibuwalira kwe kusalawo okusenguka. Naye ekyo bwe nnamala okukikola, kyaneewuunyisa nnyo okulaba engeri Yakuwa gye yannyambamu.”
“NNAGGWAAMU OKUTYA”
Sime, ow’oluganda omufumbo anaatera okuweza emyaka 40, yava mu Philippines n’agenda okukolera mu emu ku nsi za Buwalabu era ng’afuna ssente nnyingi. Bwe yali eyo, omulabirizi w’ekitundu yayogerako naye era yawulira n’emboozi eyaweebwa omu ku b’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi. Ekyo kyamukubiriza okukulembeza Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwe. Sime agamba nti: “Buli lwe nnalowoozanga ku ky’okuleka omulimu gwange, nnawuliranga nga ntidde.” Wadde kyali kityo, yasalawo okuleka omulimu gwe ogwo n’addayo mu Philippines. Kati, Sime ne mukyala we, Haidee, baweerereza mu Davao del Sur, mu bukiikaddyo bwa Philippines awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Sime agamba nti: “Buli lwe ndowooza ku ky’okuba nti sakkiriza kutya kunnemesa kuleka mulimu gwange n’okuba nti nnasalawo okukulembeza Obwakabaka, kindeetera essanyu lingi. Tewali kireeta ssanyu nga kukimanya nti owa Yakuwa ekyo ekisingayo obulungi!”
Sime ne Haidee
“KITULEETEDDE ESSANYU LINGI!”
Ramilo ne mukyala we Juliet, abali mu myaka 30, bwe baakitegeerako nti ekibiina ekimu ekyesudde mayiro nga 20 okuva we babeera kyali kirina obwetaavu bw’ababuulizi, baasalawo okukiwagira. Buli wiiki, bavuga ppikipiki yaabwe ne bagenda mu kitundu ekyo, mu nkuŋŋaana n’okubuulira, embeera y’obudde ne bw’eba mbi. Wadde ng’enguudo ezigenda mu kitundu ekyo mbi nnyo, kibasanyusa nnyo okuba nti basobodde okugaziya ku buweereza bwabwe. Ramilo agamba nti: “Nze ne mukyala wange tulina abayizi ba Bayibuli 11! Okuweereza mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako kyetaagisa okwefiiriza, naye kituleetedde essanyu lingi!”—1 Kol. 15:58.
Juliet ne Ramilo
Wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku kuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako mu nsi yo oba mu nsi endala? Bwe kiba kityo, yogerako n’omulabirizi wammwe ow’ekitundu, era osome ekitundu “Osobola ‘Okugenda e Makedoni’?” ekyafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2011.