LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 10/15 lup. 7-11
  • Ebitonde Bituyamba Okumanya Katonda Omulamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebitonde Bituyamba Okumanya Katonda Omulamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUKKIRIZA KULINA KWESIGAMA KU KWEKENNEENYA OBUKAKAFU N’OKUKOZESA AMAGEZI
  • AMAANYI GA KATONDA GEEYOLEKERA MU BINTU BYE YATONDA
  • AMAGEZI GA KATONDA GEEYOLEKERA MU BINTU BYE YATONDA
  • YAMBA ABALALA OKUGULUMIZA KATONDA OMULAMU
  • Abavubuka, Munyweze Okukkiriza Kwammwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Osiima Ebintu Ebirungi Katonda Bye Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Nyweza Okukkiriza kw’Olina mu Mutonzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Omwoyo Omutukuvu—Gwakozesebwa mu Kutonda Ebintu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 10/15 lup. 7-11

Ebitonde Bituyamba Okumanya Katonda Omulamu

“Osaanidde ggwe Yakuwa, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa . . . kubanga watonda ebintu byonna.”​—KUB. 4:11.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kiki kye tulina okukola okusobola okusiguukulula enjigiriza ez’obulimba ‘ezaasimba amakanda’?

  • Amaanyi ga Yakuwa n’amagezi ge byeyolekera bitya mu bitonde bye?

  • Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okwongera okukkiririza mu Yakuwa?

1. Kiki kye tulina okukola okusobola okukakasa nti okukkiriza kwaffe kusigala nga kunywevu?

ABANTU bangi bagamba nti tebasobola kukkiririza mu kintu kye batalabangako. Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo okukkiririza mu Yakuwa? Ggwe ate oba, Bayibuli egamba nti “tewali muntu yali alabye Katonda.” (Yok. 1:18) Ate era tuyinza tutya okukakasa nti okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa, “Katonda atalabika,” kusigala nga kunywevu? (Bak. 1:15) Ekintu ekisooka kye tulina okukola kwe kumanya enjigiriza eziremesa abantu okutegeera amazima agakwata ku Yakuwa. Oluvannyuma tulina okukozesa Bayibuli okusiguukulula endowooza yonna ‘ewakanya okumanya okukwata ku Katonda.’​—2 Kol. 10:4, 5.

2, 3. Njigiriza ki ebbiri eziremesa abantu okutegeera amazima agakwata ku Katonda?

2 Ekimu ku bintu ebiremesa abantu okutegeera amazima agakwata ku Katonda ye njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. Enjigiriza eyo ekontana ne Bayibuli era emalamu abantu essuubi. Abantu abayigiriza enjigiriza eyo bagamba nti ebintu byonna byajjawo byokka. Abantu abo baba ng’abagamba nti obulamu tebulina kigendererwa.

3 Abantu abamu abeeyita Abakristaayo bayigiriza nti ebitonde byonna, nga mw’otwalidde ensi n’ebintu byonna ebigiriko, byakamalawo emyaka nga 10,000. Abantu abayigiriza enjigiriza eyo bagamba nti Katonda yatonda ebintu byonna mu nnaku mukaaga ez’essaawa 24.a Abantu abo bawakanya ebyo byonna bannasayansi bye bazudde ebiraga nti enjigiriza yaabwe eyo si ntuufu. Wadde ng’abantu abo bayinza okuba nga bassa ekitiibwa mu Bayibuli, enjigiriza yaabwe eyo esobola okuleetera abantu abalala okulekera awo okwesiga Bayibuli. Lwaki? Kubanga ereetera abantu okulowooza nti ebyo Bayibuli by’eyigiriza si bituufu. Abantu abayigiriza enjigiriza eyo balinga abantu abaaliwo mu kyasa ekyasooka abaali banyiikira okuweereza Katonda naye ng’okunyiikira kwabwe “tekwesigamye ku kumanya okutuufu.” (Bar. 10:2) Tuyinza tutya okukozesa Ekigambo kya Katonda okusiguukulula enjigiriza ezo ebbiri ‘ezaasimba amakanda’? Ekyo tuyinza okukikola nga buli omu ku ffe afuba okufuna okumanya okutuufu okuli mu Bayibuli.

OKUKKIRIZA KULINA KWESIGAMA KU KWEKENNEENYA OBUKAKAFU N’OKUKOZESA AMAGEZI

4. Okukkiriza kwaffe kulina kwesigama ku ki?

4 Bayibuli eraga nti kikulu nnyo okuba n’okumanya okutuufu. (Nge. 10:14) Yakuwa ayagala tukozese amagezi gaffe okuzimba okukkiriza kwaffe, era ayagala okukkiriza kwaffe kube nga kwesigamiziddwa ku bukakafu, so si ku ndowooza z’abantu oba ku bulombolombo bw’amadiini. (Soma Abebbulaniya 11:1.) Okusobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa Katonda, tulina okusooka okuba abakakafu nti gy’ali. (Soma Abebbulaniya 11:6.) Tukkiriza nti Katonda gy’ali, si lwa kuba nti twagala bwagazi okubaako ekintu kye tukkiririzaamu, naye lwa kuba nti twekenneenyezza obukakafu obulaga nti Katonda gy’ali era ne tukozesa “amagezi” gaffe.​—Bar. 12:1.

5. Ekimu ku bintu ebitukakasa nti Katonda gy’ali kye kiruwa?

5 Omutume Pawulo yayogera ku kimu ku bintu ebiyinza okutuyamba okukakasa nti Katonda gy’ali, wadde nga tetusobola kumulaba. Yagamba nti: “Engeri [za Yakuwa] ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyakolebwa.” (Bar. 1:20) Oyinza otya okuyamba omuntu abuusabuusa nti Katonda gy’ali okukiraba nti ebigambo bya Pawulo bituufu? Oyinza okumulaga engeri ebitonde gye byolekamu amaanyi ga Katonda n’amagezi ge, nga bwe tugenda okulaba.

AMAANYI GA KATONDA GEEYOLEKERA MU BINTU BYE YATONDA

6, 7. Menyayo ebintu bibiri ebiraga nti Yakuwa alina amaanyi mangi?

6 Waliwo ebintu bibiri ebyetoolodde ensi ebyoleka amaanyi ga Yakuwa. Ebintu ebyo lye bbanga eryetoolodde ensi (atmosphere) awamu n’amaanyi gaayo aga magineeti (magnetic field). Ng’oggyeko okuba nti mu bbanga eryetoolodde ensi mwe muli empewo gye tussa, ebbanga eryo era liziyiza ebiyinjayinja ebiri mu bwengula okututuukako. Ebiyinjayinja ebyo byandibadde bya mutawaana nnyo gye tuli singa bigwa ku nsi. Naye ekyo tekibaawo olw’okuba bwe bituuka mu bbanga eryo eryetoolodde ensi, bikoleera omuliro ne bisaanawo. Bwe bikoleera, biba ng’emmunyeenye eddukira ku sipiidi ey’amaanyi, abamu kye bayita kibonoomu.

7 Amaanyi g’ensi aga magineeti nago gatuyamba obutatuukibwako kabi. Wansi eyo ddala mu makkati g’ensi, waliyo ekyuma ekisaanuuse, era nga kye kikola amaanyi ga magineeti ageetoolodde ensi. Amaanyi ago gaziyiza amaanyi agava ku njuba okututuusaako akabi. Singa amaanyi ga magineeti ago tegaaliwo, amaanyi amangi ennyo agava ku njuba gandibadde gookya buli kiramu ekiri ku nsi. Mazima ddala Yakuwa “wa maanyi” nnyo!​—Soma Isaaya 40:26.

AMAGEZI GA KATONDA GEEYOLEKERA MU BINTU BYE YATONDA

8, 9. Kiki ekiraga nti Yakuwa alina amagezi mangi?

8 Amagezi ga Yakuwa geeyolekera mu ngeri gy’asobozesa obulamu okusobola okweyongera okubaawo ku nsi. Lowooza ku kibuga ekirimu abantu abangi ennyo era nga kiriko bbugwe, kyokka nga tewali ngeri yonna bantu gye bayinza kuyingiza mazzi mu kibuga ekyo wadde okufulumya kazambi. Mu kiseera kitono ddala, ekibuga ng’ekyo kiba kikyafu nnyo era nga tekikyabeerekamu. Ensi yaffe efaananako ekibuga ekiriko bbugwe. Amazzi agali mu nsi ga kigero, era si kyangu kuggya kazambi ku nsi kumutwala mu kifo kirala, gamba ng’eyo mu bwengula. Naye ensi esobola okuyimirizaawo ebiramu byonna ebigiriko emirembe n’emirembe. Lwaki kiri bwe kityo? Kubanga ensi esobola okulongoosa ebintu ebiba bimaze okukozesebwa ne bisobola okuddamu okukozesebwa.

9 Lowooza ku ngeri ensi gy’ekolamu omukka ebiramu ebigiriko gwe byetaaga. Ebiramu bingi ebiri ku nsi biyingiza omukka oguyitibwa oxygen ate ne bifulumya omukka oguyitibwa carbon dioxide. Wadde kiri kityo, omukka gwa oxygen teguggwaawo ate era n’omukka gwa carbon dioxide teguyitirira bungi mu bbanga. Ekyo kisoboka kitya? Kisoboka olw’okuba ku nsi kuliko ebimera. Ebimera ebirina ebikoola ebya kiragala bikozesa omukka gwa carbon dioxide, amazzi, ekitangaala ekiva ku njuba, n’ebintu ebirala okuva mu ttaka okukola emmere yaabyo n’okukola omukka gwa oxygen. Mu ngeri eyo, Yakuwa akozesa ebimera bye yatonda ‘okuwa abantu bonna obulamu n’omukka gwe bassa.’ (Bik. 17:25) Nga Yakuwa alina amagezi mangi!

10, 11. Amagezi ga Yakuwa geeyolekera gatya mu ngeri gye yakolamu ebiwojjolo ebimu ne nnamunkanga?

10 Amagezi ga Yakuwa era geeyolekera mu ngeri gye yakolamu ebitonde eby’enjawulo ebiri ku nsi. Okunoonyereza kulaga nti ku nsi kuliko ebika by’ebitonde eby’enjawulo ebiri wakati w’obukadde 2 n’obukadde 100. (Soma Zabbuli 104:24.) Kati ka tulabe engeri amagezi ga Katonda gye geeyolekera mu bimu ku bitonde ebyo.

Amagezi ga Katonda geeyolekera mu ngeri gye yakolamu amaaso ga nnamunkanga; ekifaananyi kiraga eriiso nga ligaziyiziddwa (Laba akatundu 11)

11 Ng’ekyokulabirako, waliwo ekiwojjolo ekimu ekirina obwongo obwenkana akatwe ka ppini. Wadde ng’obwongo bwakyo butono nnyo, ekiwojjolo ekyo kisobola okuva e Canada ne kigenda mu kibira ekimu eky’omu Mexico, olugendo olwa mayiro nga 1,800. Ekyo kisobola okukikola olw’okuba enjuba ekiyamba okumanya oluuyi lwe kiba kyolekedde. Naye ekyo kisoboka kitya ng’ate enjuba buli kiseera eba etambula? Yakuwa yakola obwongo bw’ekiwojjolo ekyo nga busobola okukiyamba okumanya oluuyi olutuufu lwe kiba kyolekedde wadde ng’enjuba eba etambula. Kati ate lowooza ku kiwuka ekiyitibwa nnamunkanga. Ekiwuka ekyo amaaso gaakyo gasobola okulaba ebintu bingi mu kiseera kye kimu. Wadde ng’obwongo bwakyo nabwo butono nnyo, ebintu byonna bye kiraba, kisobola bulungi okubitegeera.

12, 13. Lwaki tuyinza okugamba nti engeri Yakuwa gye yakolamu obutoffaali bw’omubiri gwaffe yeewuunyisa?

12 Engeri Yakuwa gye yakolamu obutoffaali bw’ebiramu byonna nayo yeewuunyisa nnyo. Ng’ekyokulabirako, omubiri gw’omuntu, gulimu obutoffaali nga obuwumbi emitwalo 10. Mu buli katoffaali mulimu akantu akalinga akaguwa akayitibwa DNA (deoxyribonucleic acid). Akantu ako kalimu ebiragiro ebiyamba mu kukola ebitundu by’omubiri byonna.

13 Bubaka bwenkana wa obuba mu DNA? Ka tugeraageranye gramu emu eya DNA ku CD. CD esobola okuteekebwako obubaka bwonna obuli mu nkuluze emu. Ekyo kyewuunyisa kubanga CD eba ntono nnyo. Naye, gramu emu eya DNA esobola okubaamu obubaka obugenda ku CD obuwumbi 1,000! Mu ngeri endala, singa ofuna DNA n’omukaza ng’ajjuza akajiiko, aba asobola okubaamu obubaka obukwata ku bantu bonna abali ku nsi ng’obakubisizzaamu emirundi 350!

14. Ebyo bannasayansi bye bazudde bikuleetera kuwulira otya?

14 Kabaka Dawudi yagamba nti Yakuwa Katonda yawandiika mu kitabo eky’akabonero obubaka bwonna obukwata ku ngeri omubiri gw’omuntu gye gukulamu. Yagamba nti: “Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyabumbibwanga buli lunaku buli lunaku, bwe byali nga tebinnabaawo n’ekimu.” (Zab. 139:16) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Dawudi bwe yalowooza ku ngeri omubiri gwe gye gwakolebwamu, yatendereza Yakuwa. Bannasayansi bazudde ebintu bingi ebyewuunyisa ebikwata ku ngeri omubiri gw’omuntu gye gwakolebwamu. Ebyo bye bazudde bituleetera okukkiriziganya n’ebigambo omuwandiisi wa Zabbuli bye yawandiika ng’ayogera ku Yakuwa. Yagamba nti: “N[n]aakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: emirimu gyo gya kitalo; n’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.” (Zab. 139:14) Kya lwatu nti ebitonde ebitwetoolodde bikyoleka kaati nti waliwo Omutonzi.

YAMBA ABALALA OKUGULUMIZA KATONDA OMULAMU

15, 16. (a) Ebitabo byaffe biyambye bitya abantu okukiraba nti Yakuwa ye Mutonzi ow’ekitalo? (b) Kitundu ki ku ebyo ebirina omutwe “Kyakolebwa Bukolebwa?” ekyasinga okukukwatako?

15 Okumala emyaka mingi, magazini ya Awake! ebadde eyamba abantu okutegeera ebitonde kye bituyigiriza ku Katonda waffe omulamu. Ng’ekyokulabirako, mu 2006, Awake! ya Ssebutemba yalina omutwe ogugamba nti “Is There a Creator?” Magazini eyo yakubibwa n’ekigendererwa eky’okuyamba abo ababuzaabuziddwa enjigiriza ez’obulimba ezikwata ku bitonde. Mwannyinaffe omu yawandiikira ettabi lyaffe mu Amerika n’agamba nti: “Kaweefube ow’okugaba magazini eyo ey’enjawulo yagenda bulungi nnyo. Omukyala omu yansaba magazini 20. Yali musomesa wa sayansi era ng’ayagala buli omu ku bayizi be afune magazini eyo.” Ow’oluganda omu yagamba nti: “Mbadde mbuulira okuviira ddala mu myaka gya 1940 era kati nnaatera okuweza emyaka 75 egy’obukulu, naye sinyumirwangako kubuulira nga bwe kyali nga tugaba Awake! eyo ey’enjawulo.”

16 Okuva mu 2008, magazini ya Awake! ebadde efulumiramu ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Kyakolebwa Bukolebwa?” Ekitundu ekyo kiraga engeri ey’ekitalo ebitonde ebitali bimu gye byakolebwamu era kiraga n’engeri abantu gye bagezezzaako okukoppa Omutonzi nga baliko ebintu bye bakola. Ate era mu 2010 twafuna brocuwa eyitibwa Was Life Created? Ebifaananyi ebirabika obulungi ebiri mu brocuwa eyo bituyamba okukiraba nti Yakuwa ye Mutonzi ow’ekitalo. Ebibuuzo ebiri ku nkomerero ya buli kitundu ekiri mu brocuwa eyo, biyamba omuntu okufumiitiriza ku ebyo by’aba asomye. Ogezezzaako okukozesa brocuwa eyo ng’obuulira nnyumba ku nnyumba oba ng’obuulira mbagirawo?

17, 18. (a) Abazadde, muyinza mutya okuyamba abaana bammwe okunnyonnyola obulungi ebikwata ku nzikiriza yaabwe? (b) Mukozesezza mutya brocuwa ezikwata ku butonde mu kusinza kwammwe okw’amaka?

17 Abazadde mugezezzaako okukubaganya ebirowoozo n’abaana bammwe nga mukozesa brocuwa Was Life Created? mu kusinza kwammwe okw’amaka? Bwe mukola mutyo, mujja kuyamba abaana bammwe okwongera okukkiririza mu Katonda waffe omulamu. Muyinza n’okuba nga mulina abavubuka abali mu siniya. Mukijjukire nti abo abayigiriza enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa, bafuba okuleetera abaana bammwe okulowooza nti tewali Mutonzi. Ebyo bannasayansi n’abasomesa abamu bye bayigiriza, awamu n’ebyo ebiba mu programu za ttivi ezimu ne mu firimu ezimu, bitumbula enjigiriza enkyamu. Musobola okuyamba abaana bammwe okuziyiza enjigiriza eyo nga mukozesa brocuwa endala eyitibwa, The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking, nga nayo twagifuna mu 2010. Okufaananako brocuwa eyitibwa Was Life Created?, ne brocuwa eno nayo eyamba abaana baffe okutendeka obusobozi bwabwe obw’okulowooza. (Nge. 2:10, 11) Ebayamba obutamala gakkiriza ebyo byonna bye babayigiriza ku ssomero.

Abazadde muyambe abaana bammwe okunnyonnyola obulungi ebikwata ku nzikiriza yaabwe (Laba akatundu 17)

18 Oluusi ku mawulire bayinza okugamba nti bannasayansi bazudde ebintu eby’edda ebikakasa nti enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa ntuufu. Oba nti bannasayansi bafunye obukakafu obulaga nti obulamu busobola okutandikawo bwokka. Brocuwa eyitibwa The Origin of Life esobola okuyamba abayizi obutamala gakkiriza ebyo bye baba bawulidde. Abazadde, mukozese brocuwa ezo okuyamba abaana bammwe okunnyonnyola obulungi ensonga lwaki bakkiriza nti eriyo Omutonzi.​—Soma 1 Peetero 3:15.

19. Nkizo ki ffenna gye tulina?

19 Tusobola okuyiga bingi ebikwata ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo nga tusoma ebitabo bye tufuna mu kibiina kya Yakuwa ebyogera ku bitonde. Ekyo kituleetera okutendereza Katonda waffe. (Zab. 19:1, 2) Nga tulina enkizo ya maanyi okuwa Yakuwa, Omutonzi w’ebintu byonna, ekitiibwa n’ettendo ebimugwanidde!​—1 Tim. 1:17.

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku njigiriza eno (creationism), laba brocuwa Was Life Created? olupapula 24 okutuuka 28

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share