LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 11/1 lup. 3
  • Bangi Kibazibuwalira Okwagala Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bangi Kibazibuwalira Okwagala Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Amazima Gasobola Okukufuula ow’Eddembe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Tategeerekeka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Mukambwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 11/1 lup. 3
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBULIMBA OBULEETERA ABANTU OKUKYAWA KATONDA

Bangi Kibazibuwalira Okwagala Katonda

“‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka.”​—Yesu Kristo yabyogera mu mwaka gwa 33 embala eno.a

Abantu abamu kibazibuwalira okwagala Katonda. Bagamba nti Katonda tategeerekeka, tatufaako, era nti mukambwe. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga:

  • “Nnasabanga Katonda annyambe, naye nga mu kiseera kye kimu ndowooza nti tatufaako, era nti tatuukirikika. Nnali nkitwala nti Katonda si wa ddala, era nti talina nneewulira.”​—Marco, abeera mu Yitale.

  • “Wadde nga nnali njagala nnyo okuweereza Katonda, nnalowoozanga nti tatufaako, mukambwe nnyo, era ayagala obwagazi okutubonereza. Nnali simanyi nti atwagala.”​—Rosa, abeera mu Guatemala.

  • “Bwe nnali nkyali muto, nnalowoozanga nti buli kiseera Katonda atunoonyaamu nsobi, asobole okutubonereza. Nnali ndowooza nti tatulumirirwa era nga mmutwala ng’omufuzi atafaayo ku bantu b’afuga.”​—Raymonde, abeera mu Canada.

Ggwe olowooza otya? Katonda mukambwe era tatufaako? Okumala ebyasa bingi, Abakristaayo abamu bazze beebuuza ekibuuzo ekyo. Mu butuufu mu biseera eby’edda, abantu mu madiini ageeyita Amakristaayo tebaasabanga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Lwaki? Kubanga abantu baamutyanga nnyo. Munnabyafaayo Will Durant yagamba nti: “Omuntu obuntu atatuukiridde ayinza atya okwetantala okusaba Katonda omukambwe era ali ewala ennyo?”

Kyajja kitya Katonda okutwalibwa “ng’omukambwe era atatufaako”? Kiki ddala Bayibuli ky’eyigiriza ku Katonda? Bw’onooyiga amazima agakwata ku Katonda ojja kumwagala.

a Matayo 22:37, 38.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share