LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 3/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Lwaki Yesu Yabonaabona era n’Afa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Onooganyulwa Otya mu Kufa kwa Yesu n’Okuzuukira Kwe?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 3/1 lup. 16
People enjoying the seashore on a paradise earth and children swimming

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Okufa kwa Yesu kutuganyula kutya?

Katonda bwe yali atonda abantu, yayagala babeere ku nsi emirembe gyonna awatali kulwala wadde okufa. Kyokka, Adamu omuntu eyasooka okutondebwa, yajeemera Katonda n’afiirwa enkizo ey’okubeera omulamu emirembe gyonna. Olw’okuba ffenna twava mu Adamu, twasikira ekibi n’okufa. (Abaruumi 5:8, 12; 6:23) Yakuwa Katonda yatuma omwana we Yesu ku nsi asobole okutununula okuva mu kibi n’okufa.​—Soma Yokaana 3:16.

Yesu yafa tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Olowooza obulamu obwo buliba butya?

Okufa kwa Yesu kutusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe n’okufuna obulamu obutaggwaawo. Bayibuli eraga nti mu biseera eby’omu maaso tujja kubeera ku nsi nga tetukaddiwa, nga tetulwala, era nga tetufa.​—Soma Isaaya 25:8; 33:24; Okubikkulirwa 21:4, 5.

Tusaanidde kujjukira tutya okufa kwa Yesu?

Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yakola omukolo omutonotono, era n’alagira abagoberezi be okumujjukiranga nga bakola omukolo gwe gumu. Bwe tubaawo ku mukolo ogwo buli mwaka, tuba tufumiitiriza ku ngeri Yesu ne Yakuwa gye baagalamu abantu.​—Soma Lukka 22:19, 20; 1 Yokaana 4:9, 10.

Omwaka guno, omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu gujja kubaawo ku Bbalaza nga Apuli 14, ng’enjuba emaze okugwa. Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo bakwaniriza ku mukolo ogwo.​—Soma Abaruumi 1:11, 12.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 4 ne 5 mu katabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.pr418.com

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share