LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 9/1 lup. 3-6
  • Abantu Banaayonoonera Ddala Ensi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abantu Banaayonoonera Ddala Ensi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSI ENEEYONOONEKERA DDALA?
  • OKULWANIRIRA OBUTONDE
  • EKIGENDERERWA KY’OMUTONZI
  • TUJJA KUBEERA KU NSI EMIREMBE GYONNA
  • Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo
    Zuukuka!—2023
  • Ensi Eneezikirizibwa?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • “Bikolebwe mu Nsi, nga bwe Bikolebwa mu Ggulu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 9/1 lup. 3-6
Abaana nga bazannyira okumpi n’omwala gwa kazambi

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Abantu Banaayonoonera Ddala Ensi?

‘Emirembe emirala gigenda, n’emirembe emirala gijja; ensi ebeerawo ennaku zonna.’​—KABAKA SULEMAANI OWA ISIRAERI EY’EDDA.a

Omuwandiisi wa Bayibuli oyo bwe yageraageranya emyaka emitono ennyo omuntu gy’awangaala n’emyaka ensi gy’emaze nga weeri, yalaba nga waliwo enjawulo ya maanyi nnyo. Mu butuufu, omulembe ogumu gugenda omulala ne guddawo, naye ensi ebaddewo ebbanga lyonna, era ebintu ebiramu bikyasobola okugibeerako.

Okuva ku Ssematalo ow’okubiri, wabaddewo enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. Mu myaka nga nsanvu egyakayitawo, wabaddewo enkulaakulana ey’amaanyi mu by’entambula, mu by’empuliziganya, ne mu bya tekinologiya ebirala. Abantu bangi bali mu bulamu obulungi bwe baali batasuubira kubeeramu, era kati omuwendo gw’abantu gukubisaamu emirundi esatu bw’ogugeraageranya n’ogw’abo abaaliwo nga Ssematalo ow’okubiri yaakaggwa.

Kyokka, enkulaakulana ezo tezivuddeemu birungi byokka. Kigambibwa nti ebintu abantu bye bakola byonoona nnyo ensi, ne kiba nti gye bujja kiyinza okuba ekizibu ennyo okugibeerako. Mu butuufu, bannasayansi abamu bagamba nti mu byafaayo byonna, ensi esinze kwonoonebwa mu kiseera kino.

Bayibuli yalaga dda nti ekiseera kyandituuse abantu ne ‘boonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18) Abamu beebuuza obanga ekiseera ekyo kye kino kye tulimu. Abantu balituusa wa okwonoona ensi? Banaagyonoonera ddala n’esaanawo?

ENSI ENEEYONOONEKERA DDALA?

Bannasayansi abamu bagamba nti kizibu okumanya ebinaava mu nkyukakyuka y’embeera y’obudde, era beeraliikirivu nti gye bujja, embeera y’obudde eyinza okukyuka embagirawo ebitonde byonna ebiramu ne bikosebwa.

Eddubu nga liri ku muzira

Ng’ekyokulabirako, kigambibwa nti ensi bw’eneeyongera okubuguma, omuzira omungi ennyo ogwakwata ku guyanja Antarctic gujja kusaanuuka gwonna. Omuzira ogwo guziyiza ebbugumu eriva ku njuba ne litatuuka ku mazzi agali wansi waagwo. Naye bwe guneeyongera okukendeera, amazzi agali wansi waagwo gajja kubuguma, kiviireko omuzira gwonna okusaanuuka. Ekyo kiyinza okuviirako amazzi okweyongera ne wabaawo akatyabaga akayinza okutta abantu bukadde na bukadde.

OKULWANIRIRA OBUTONDE

Abantu bakoze enteekateeka eziwerako okulwanirira obutonde bw’ensi. Mu emu ku nteekateeka ezo erudde ng’egobererwa, abantu bakubirizibwa okwekulaakulanya naye nga teboonoona butonde bwa nsi. Biki ebivuddemu?

Eky’ennaku, abantu beeyongera bweyongezi kwonoona butonde. Bakozesa ebintu ebiri ku nsi ku kigero kya waggulu nnyo ne kiba nti ensi tesobola kubizzaawo mangu. Waliwo ekisobola okukolebwa okutaasa obutonde? Kakensa omu eyeekenneenya eby’obutonde yagamba nti: “Tetumanyi kye tuyinza kukola okusobola okutaasa obutonde.” Ekyo kikwatagana bulungi n’ekyo Bayibuli ky’egamba: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”​—Yeremiya 10:23.

Ku luuyi olulala, Bayibuli etukakasa nti Katonda eyatonda ensi tajja kuleka bantu kugyonoonera ddala. Mu Zabbuli 115:16, Bayibuli egamba nti: “Ensi [Katonda] yagiwa abaana b’abantu.” Ensi ‘kirabo kirungi’ Kitaffe ow’omu ggulu kye yatuwa. (Yakobo 1:17) Ddala Katonda ayinza okutuwa ekirabo ky’amanyi nti kijja kutuusa ekiseera kyonooneke? Tayinza kukola bw’atyo! Ekitukakasa ekyo ye ngeri ensi gye yatondebwamu.

EKIGENDERERWA KY’OMUTONZI

Ekitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye kitubuulira mu bulambulukufu engeri Katonda gye yatondamu ensi. Mu kusooka “ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n’ekizikiza kyali kungulu ku buziba.” Naye waaliwo ‘amazzi’ agandibadde ag’omugaso ennyo eri ebitonde ebyandibadde ku nsi. (Olubereberye 1:2) Oluvannyuma Katonda yagamba nti: ‘Wabeewo ekitangaala.’ (Olubereberye 1:3) Ekitangaala okuva ku njuba kyatuuka ku nsi ne wabaawo ekitangaala ku nsi omulundi ogwasookera ddala. Oluvannyuma Katonda yatonda olukalu n’ennyanja. (Olubereberye 1:9, 10) Ebyo bwe byaggwa, ensi n’emerako ‘omuddo ogubala ensigo, n’emiti egibala ebibala.’ (Olubereberye 1:12) Bw’atyo Katonda bwe yateekateeka ebintu ebisobozesa ebiramu okubeerawo ku nsi. Yalina kigendererwa ki?

Nnabbi Isaaya yagamba nti Katonda ‘yabumba ensi n’agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu.’ (Isaaya 45:18) N’olwekyo, Katonda yatonda ensi ng’ayagala abantu bagibeereko emirembe gyonna.

Eky’ennaku, abantu boonoonye ensi​—ekirabo Katonda kye yabawa. Naye ekigendererwa kya Katonda tekikyukanga. Bayibuli egamba nti: “Katonda si muntu, okulimba; so si mwana wa muntu, okwejjusa: Ayogedde, n’okukola talikikola?” (Okubala 23:19) Katonda tajja kuleka bantu kwonoonera ddala nsi; ekiseera kinaatera okutuuka ‘azikirize abo aboonoona ensi.’​—Okubikkulirwa 11:18.

TUJJA KUBEERA KU NSI EMIREMBE GYONNA

Lumu Yesu bwe yali ayigiriza yagamba nti: “Balina essanyu abateefu, kubanga balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Ate era Yesu yabuulira abaali bamuwuliriza engeri Katonda gy’anaalongosaamu ensi. Yagamba abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” Obwakabaka bwa Katonda, oba gavumenti ye, bw’ajja okukozesa okutuukiriza ekigendererwa kye yalina ng’atonda ensi.​—Matayo 6:10.

Katonda bwe yali ayogera ku nkyukakyuka ez’omuggundu Obwakabaka obwo ze bunaaleeta, yagamba nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.” (Okubikkulirwa 21:5) Ekyo kitegeeza nti Katonda ajja kuggyawo ensi eno atonde endala? Nedda, kubanga ensi Katonda yagitonda nga teriiko kikyamu kyonna. Katonda ajja kuggyawo “abo aboonoona ensi,” ng’abo be bantu ababi awamu ne gavumenti zaabwe. Wajja kuddawo “eggulu eriggya n’ensi empya.” “Eggulu eriggya” ye gavumenti empya ey’omu ggulu, oba Obwakabaka bwa Katonda, ate “ensi empya” be bantu abajja okubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka obwo.​—Okubikkulirwa 21:1.

Katonda ajja kuzzaawo ebintu byonna abantu bye boonoonye, ebitonde ebiramu bibe nga birina buli kimu kye byetaaga. Ng’ayogera ku ekyo Katonda ky’ajja okukola, omuwandiisi omu owa Bayibuli yagamba nti: “[Olabirira] ensi, n’ogifukirira, ogigaggawaza nnyo.” Katonda bw’anaaba amaze okulongoosa ensi era ng’agiwadde omukisa, embeera y’obudde ejja kuba nnungi, ensi ejja kuba erabika bulungi era ng’ebala emmere nnyingi.​—Zabbuli 65:9-13.

Okusinziira ku muwandiisi ayitibwa Pyarelal, omukulembeze w’Abahindu eyali ayitibwa Mohandas Gandhi yagamba nti: “Ensi eriko ebintu ebimala buli muntu, naye abamu bwe babilulunkanira biba tebimala.” Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ensibuko y’ebizibu byonna nga buyamba abantu okukyusa enneeyisa yaabwe. Nnabbi Isaaya yalaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe buliba bufuga, “ensi erijjula okumanya Mukama.” (Isaaya 11:9) Abantu baliba tebayisa bubi bannaabwe, era nga teboonoona nsi. Mu butuufu, ne leero abantu bukadde na bukadde okuva mu mawanga gonna bayigirizibwa emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Bayigirizibwa okwagala Katonda ne bantu bannaabwe, okufaayo ku butonde, okulaga nti basiima ebyo Katonda by’atukolera, n’okweyisa mu ngeri gy’ayagala. Bateekebwateekebwa okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Omubuulizi 12:13; Matayo 22:37-39; Abakkolosaayi 3:15.

Ensi

Katonda tayinza kuleka bantu kwonoonera ddala nsi eno ennungi ennyo

Ekitabo ky’Olubereberye bwe kiba kifundikira ebikwata ku kutonda kigamba nti: “Katonda n’alaba buli ky’akoze; era, laba, kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Yakuwa Katonda tayinza kuleka bantu kwonoonera ddala nsi eno ennungi ennyo, era ekyo kitusanyusa nnyo. Mu butuufu asuubiza nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Naawe onoobeera omu ku ‘batuukirivu’ abo abanaabeera ku nsi emirembe gyonna?

a Biggiddwa mu Bayibuli mu Omubuulizi 1:4.

Engeri Abantu gye Boonoonyeemu Obutonde

  • Embeera y’obudde. “Waliwo obukakafu obwenkukunala obulaga nti ensi n’ennyanja byeyongedde okubuguma . . . Ebintu abantu bye bazze bakola okuviira ddala mu myaka gya 1950, bye bisinze okuviirako ensi okubuguma.”​—Lipoota y’ekitongole kya American Meteorological Society, eya 2012.

  • Ettaka. “Kumpi ettaka ebitundu 50 ku buli 100 lyonoonese olw’ebintu abantu bye bakola, era ekyo kiviiriddeko obutonde okwonooneka, ettaka obutaba ggimu, . . . n’embeera y’obudde okukyuka.”​—Global Change and the Earth System.

  • Ennyanja. ‘Olw’envuba embi, ennyanja ezisinga obungi mu nsi yonna zisigaddemu ebyennyanja bitono, ate ezimu ziweddemu ebyennyanja.’​—BBC, Ssebutemba 2012.

  • Ebitonde. “Bannasayansi bangi bagamba nti . . . [ebitonde ebirala bingi binaatera okusaanawo] ku kigero ekitabangawo, era nti abantu be bavunaanyizibwa.”​—Byaggibwa ku mukutu, science.nationalgeographic.com.

Ensi

Ekifaananyi ekiraga nti Katonda yatonda ensi ng’esobola okubeesaawo ebiramu

Ensi erina obusobozi obwewuunyisa obw’okubeesaawo abantu, ebisolo, ebimera, awamu n’ebitonde ebirala. Ng’ekyokulabirako, ebimera bikozesa amaanyi agava ku njuba, omukka oguyitibwa carbon dioxide, amazzi, n’ebirala ebiri mu ttaka okukola emmere yaabyo n’omukka oguyitibwa oxygen. Abantu n’ebisolo balya ebimera era bayingiza omukka oguyitibwa oxygen, ne bafulumya oguyitibwa carbon dioxide ebimera gwe bikozesa. Mu ngeri eyo abantu n’ebisolo baganyula ebimera, n’ebimera biganyula abantu n’ebisolo. N’olwekyo, ensi esobola okubeesaawo ebintu ebiramu emirembe gyonna.

Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti Katonda “yakola ensi olw’obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw’amagezi ge.” (Yeremiya 10:12) Kakensa mu bya Bayibuli yagamba nti, ‘ensi yakolebwa mu ngeri yennyini esobozesa abantu okugibeerako.’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share