LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 9/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Bamalayika—“Myoyo Egiweereza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Ebikwata ku Bamalayika ne Badayimooni
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Bamalayika?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Engeri Bamalayika Gye Bayinza Okukuyamba
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 9/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Bamalayika basobola okutuyamba?

Malayika ng’akuuma Danyeri mu kinnya ky’empologoma

Nga bamalayika bwe baayamba nnabbi Danyeri, ne leero bayamba abantu okuganyulwa mu mawulire amalungi

Yakuwa Katonda yali yatonda dda bamalayika bukadde na bukadde nga tannatonda bantu. (Yobu 38:4, 7) Bamalayika bitonde bya mwoyo era ba maanyi nnyo. Oluusi Katonda yabatumanga ku nsi okuwa abaweereza be obulagirizi n’obukuumi. (Zabbuli 91:10, 11) Leero, bamalayika bayamba abantu okuganyulwa mu mawulire amalungi abagoberezi ba Yesu ge babuulira.​—Soma Okubikkulirwa 14:6, 7.

Naye tusaanidde okusaba bamalayika? Nedda. Okusaba kuba kusinza, era Katonda yekka y’agwanidde okusinzibwa. (Okubikkulirwa 19:10) Okuva bwe kiri nti bamalayika baweereza ba Katonda, bakola ebyo Katonda by’abagamba so si abantu. N’olwekyo, Katonda yekka gwe tulina okusaba nga tuyitira mu Yesu.​—Soma Zabbuli 103:20, 21; Matayo 26:53.

Eriyo bamalayika ababi?

Okufaananako abantu, Katonda yatonda bamalayika nga balina eddembe ly’okwesalirawo, era basobola okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. Eky’ennaku, waliwo bamalayika bangi abaajeemera Katonda. (2 Peetero 2:4) Eyasookera ddala ye Sitaani; bamalayika abalala abaamwegattako baafuuka badayimooni. Kati wayiseewo emyaka egiwerako bukya Sitaani ne badayimooni be bagobwa mu ggulu ne basuulibwa ku nsi.​—Soma Okubikkulirwa 12:7-9.

Okubonaabona n’ebikolwa eby’obukambwe ebibaddewo okuva mu 1914 biraga nti Katonda anaatera okuzikiriza Sitaani ne badayimooni be. Ekyo bwe kinaggwa, ensi Katonda ajja kugizza buggya efuuke ekifo ekirabika obulungi.​—Soma Okubikkulirwa 12:12; 21:3, 4.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 10 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.pr418.com

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share