LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp17 Na. 5 lup. 4-5
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Bamalayika?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eyogera Ki ku Bamalayika?
  • munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Similar Material
  • Bamalayika—“Myoyo Egiweereza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Bamalayika
    Zuukuka!—2017
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Engeri Bamalayika Gye Bayinza Okukuyamba
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
See More
munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
wp17 Na. 5 lup. 4-5
Malayika omukulu ne bamalayika abalala bukadde na bukadde

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAMALAYIKA​—DDALA GYEBALI? LWAKI KIKULU OKUMANYA EBIBAKWATAKO?

Bayibuli Eyogera Ki ku Bamalayika?

Wandyagadde okumanya ebikwata ku bamalayika​—gye baava, era ne bye bakola? Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okumanya ebikwata ku bamalayika. (2 Timoseewo 3:16) Bayibuli eyogera ki ku bamalayika?

  • Bamalayika bitonde bya mwoyo, era okufaananako Katonda, tebalina mibiri gya nnyama. Bamalayika babeera mu ggulu ne Katonda.​—Lukka 24:39; Matayo 18:10; Yokaana 4:24.

  • Bamalayika oluusi bajjanga ku nsi nga balabika ng’abantu ne bakola Katonda kye yabanga abatumye, oluvannyuma ne baddayo mu ggulu.​—Ekyabalamuzi 6:11-23; 13:15-20.

  • Wadde nga mu Bayibuli bamalayika boogerwako ng’abasajja, era nga n’abo abajjako ku nsi baalabika ng’abasajja, bamalayika si basajja era si bakazi. Tebawasa era tebazaala. Ate era tebaasooka kubeera bantu ku nsi, wabula baatondebwa butondebwa, era eyo ye nsonga lwaki Bayibuli ebayita “abaana ba Katonda.”​—Yobu 1:6; Zabbuli 148:2, 5.

  • Bayibuli egamba nti waliwo ‘ennimi z’abantu n’eza bamalayika,’ era ekyo kiraga nti bamalayika nabo balina olulimi lwabwe. Wadde nga Katonda yatumanga bamalayika okwogera n’abantu, tatukkirizza kubasinza wadde okubasaba.​—1 Abakkolinso 13:1; Okubikkulirwa 22:8, 9.

  • Bayibuli eraga nti eriyo bamalayika buwumbi na buwumbi.​—Danyeri 7:10; Okubikkulirwa 5:11.

  • Bamalayika ‘ba maanyi nnyo’ era bagezi nnyo okusinga abantu. Ate era kirabika batambulira ku sipiidi ya maanyi nnyo okusinga ekintu kyonna ffe abantu kye tumanyi.​—Zabbuli 103:20; Danyeri 9:20-23.

  • Wadde nga bamalayika batusinga amagezi n’amaanyi, obusobozi bwabwe buliko ekkomo, era waliwo ebintu nabo bye batamanyi.​—Matayo 24:36; 1 Peetero 1:12.

  • Bamalayika nabo baatondebwa nga balina eddembe ery’okwesalirawo. Okufaananako abantu, nabo basobola okusalawo okukola ebirungi oba ebibi. Eky’ennaku, bamalayika abamu baasalawo okujeemera Katonda.​—Yuda 6.

Bamalayika Bategekeddwa Batya?

Malayika Omukulu ayitibwa Mikayiri y’akulira bamalayika bonna, era y’abasinga amaanyi n’obuyinza. Ebyawandiikibwa biraga nti Mikayiri ye Yesu Kristo.​—1 Abassessalonika 4:16; Yuda 9.

Basseraafi be bamalayika abali ku ddaala erya waggulu ennyo era beetoolodde entebe ya Katonda.​—Isaaya 6:1-3.

Bakerubi nabo bamalayika abali ku ddala erya waggulu era babeera kumpi ne Katonda nga bamuweereza.​—Olubereberye 3:24; Ezeekyeri 9:3; 11:22.

Bamalayika abalala bukadde na bukadde baweereza ng’ababaka ba Katonda.a​—Abebbulaniya 1:7, 14.

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku bamalayika, laba essuula 10 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? n’ekitundu mu byongerezeddwako ekirina omutwe ogugamba nti, “Mikayiri Malayika Omukulu.” Akatabo ako kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku www.pr418.com/lg.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share