LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 2/1 lup. 4-6
  • Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU MULIMU GW’OKOLA
  • OMULIMU GWO GUKOLE N’OBUNYIIKIVU
  • LOWOOZA KU NGERI OMULIMU GWO GYE GUGANYULAMU ABALALA
  • KOLA EKISINGA KU EKYO KY’OTEEKEDDWA OKUKOLA
  • TOGWA LUBEGE
  • Nyumirwa Omulimu Gwo
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • 11 Okuba Omukozi Omunyiikivu
    Zuukuka!—2018
  • Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Engeri gy’Oyinza Okutunuuliramu Omulimu Gwo mu Ngeri Etagudde Lubege
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 2/1 lup. 4-6
Omuvubuka akola ne banne nga musanyufu
Omuvubuka akola ne banne nga musanyufu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUNYUMIRWA OMULIMU GWO

Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo

“Buli muntu [asaanidde] okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.” (Omubuulizi 3:13) Katonda ayagala tufune essanyu mu mirimu gyaffe, era atulaga engeri gye tuyinza okufunamu essanyu eryo. (Isaaya 48:17) Ekyo akikola okuyitira mu Kigambo kye, Bayibuli. Lowooza ku magezi gano agali mu Bayibuli agasobola okutuyamba okunyumirwa emirimu gyaffe.

BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU MULIMU GW’OKOLA

Omulimu gw’okola ka gube nga gwetaagisa okukozesa ennyo obwongo, oba okukozesa amaanyi mangi, kijjukire nti “omulimu gwonna guliko kye gugasa.” (Engero 14:23) Mu ngeri ki? Okukola n’obunyiikivu kitusobozesa okufuna bye twetaaga mu bulamu. Kyo kituufu nti Katonda asuubiza okukola ku byetaago by’abo bonna abamuweereza n’obwesigwa. (Matayo 6:31, 32) Naye ekyo tekitegeeza nti tulina kulera bulezi ngalo; tulina okukola emirimu gyaffe n’obunyiikivu.​—2 Abassessaloniika 3:10.

N’olwekyo, ffenna kitukakatako okukola. Okukola kutusobozesa okwetuusaako bye twetaaga mu ngeri etakontana na mateeka. Joshua ow’emyaka 25 agamba nti: “Bw’oba osobola okwetuusaako bye weetaaga oba muntu wa buvunaanyizibwa, era omulimu gwo guba gukugasa.”

Ate era olw’okuba emirimu gy’okukakaalukana tegiba myangu, bwe tugikola n’obunyiikivu kituleetera okwekkiririzaamu. Bwe tunywerera ku mulimu gwaffe ne bwe guba muzibu, kiba kiraga nti tuli bavumu era nti tetuli bagayaavu. (Engero 26:14) Ate era okukola n’amaanyi kituleetera essanyu. Aaron ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko agamba nti: “Olunaku bwe luggwaako mbeera musanyufu. Wadde nga mba nkooye era nga n’omulimu gwange tegulabiddwa balala, mba mmanyi nti nnina ekintu eky’omugaso kye nkoze.”

OMULIMU GWO GUKOLE N’OBUNYIIKIVU

Bayibuli eyogera bulungi ku musajja ‘anyiikira okukola omulimu gwe’ n’omukazi “akola emirimu n’engalo ze n’essanyu.” (Engero 22:29; 31:13) Omuntu okusobola okunyumirwa omulimu gwe, alina okugukola n’obunyiikivu n’afuna obumanyirivu. Abantu batono nnyo abanyumirwa okukola emirimu gye batalinaamu bumanyirivu. Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki abantu abamu tebanyumirwa mirimu gye bakola.

Omuntu asobola okunyumirwa okukola omulimu gwonna, singa ebirowoozo bye abissa ku kuyiga okugukola obulungi. William ow’emyaka 24 agamba nti: “Bw’okola omulimu n’omutima gwo gwonna era n’olaba ebirungi ebivaamu, kikusanyusa nnyo. Naye tosobola kufuna ssanyu eryo ng’oli mugayaavu oba nga weesaasira.”

Omukyala yeeyongera okufuna obumanyirivu mu kuvuga tulakita
Omukyala yeeyongera okufuna obumanyirivu mu kuvuga tulakita

LOWOOZA KU NGERI OMULIMU GWO GYE GUGANYULAMU ABALALA

Weewale okuba nga ky’olowoozaako kyokka ze ssente z’ofuna. Mu kifo ky’ekyo, weebuuze: ‘Omulimu guno gunnyamba gutya? Singa sigukola oba singa ngukola bubi biki ebiyinza okuvaamu? Omulimu gwange guganyula gutya abalala?’

Ekibuuzo ekisembyeyo kikulu nnyo kubanga omulimu gwaffe bwe guba guganyula abalala, kituleetera essanyu lingi. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Ng’oggyeeko bakama baffe ne bakasitoma baffe, waliwo abantu abalala abaganyulwa mu mirimu gye tukola. Mu bano mulimu ab’omu maka gaffe n’abo abali mu bwetaavu.

Ab’omu maka gaffe. Omuntu bw’akola ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka ge, baganyulwa mu ngeri bbiri. Esooka, bafuna bye beetaaga mu bulamu, gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Mu ngeri eyo aba atuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yamuwa, ‘obw’okulabirira ababe.’ (1 Timoseewo 5:8) Ey’okubiri, omukozi omunyiikivu aba ateerawo ab’omu maka ge ekyokulabirako ekirungi. Shane ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko agamba nti: “Taata mukozi nnyo era waliwo bingi bye mmuyigiddeko. Ebbanga lyonna ly’amaze ng’akola omulimu gw’okubajja, abadde wa mazima era nga mukozi munyiikivu. Nange njize okukola n’amaanyi emirimu egiganyula abalala.”

Abo abali mu bwetaavu. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okufuba okukola basobole okubaako kye bawa omuntu ali mu bwetaavu.’ (Abeefeso 4:28) Bwe tukola n’obunyiikivu okusobola okufuna ebyetaago byaffe n’eby’ab’omu maka gaffe, tuba tusobola n’okuyamba abo abali mu bwetaavu. (Engero 3:27) N’olwekyo bwe tuba abakozi abanyiikivu, tusobola okufuna essanyu eriva mu kugaba.

KOLA EKISINGA KU EKYO KY’OTEEKEDDWA OKUKOLA

Lumu Yesu bwe yali ayigiriza, yagamba nti: “Omuntu ali mu buyinza bw’akuwalirizanga okutambula naye mayiro emu, otambulanga naye mayiro bbiri.” (Matayo 5:41) Amagezi ago gayinza gatya okukuyamba ng’okola omulimu gwo? Mu kifo ky’okukola ekyo kyokka ky’oteekeddwa okukola, lowooza ku ngeri gy’oyinza okukola ekisingawo. Weeteerewo ebiruubirirwa, gamba ng’okukola omulimu gwo obulungi oba mu bwangu okusingako bw’obadde okola. Ekintu ne bwe kiba kitono nnyo naye nga kikwatagana n’omulimu gwo, kikole bulungi.

Omukozi w’omu ssemaduuka ayamba bakasitoma era musanyufu
Omukozi w’omu ssemaduuka ayamba bakasitoma era musanyufu

Bw’onookola bw’otyo, ojja kunyumirwa nnyo omulimu gwo. Lwaki? Kubanga ojja kuba okola lwa kwagala so si lwa kuwalirizibwa. (Firemooni 14) Kino kikwatagana n’ebigambo ebiri mu Engero 12:24, awagamba nti: “Omukono gw’abanyiikivu gulifuga: naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw’obuddu.” Kyo kituufu nti bangi ku ffe tuyinza obutakozesebwa ng’abaddu. Kyokka omuntu akola ekyo kyokka ky’ateekeddwa okukola ayinza okuwulira ng’omuddu, kubanga buli kiseera abalala baba bamugamba bugambi okukola ekisingawo. Naye omuntu akola ekisinga ku ekyo ekimusuubirwamu aba musanyufu kubanga aba akikola lwa kwagala.

TOGWA LUBEGE

Okukola ennyo kirungi, era Bayibuli etukubiriza okukola n’obunyiikivu. (Engero 13:4) Naye tetukubiriza kukola nga tetuwummulako. Omubuulizi 4:6 wagamba nti: “Olubatu lumu wamu [n’okuwummula] lusinga embatu bbiri wamu n’okutegana n’okugoberera empewo.” Omuntu akola nga tawummula ayinza obutaganyulwa mu mulimu gwe, kubanga gumutwalira ebiseera n’amaanyi ge gonna. Omuntu ng’oyo aba ‘ng’agoba empewo.’

Bayibuli esobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola. Wadde ng’eraga nti tusaanidde okukola n’obunyiikivu, etukubiriza “okumanya ebintu ebisinga obukulu.” (Abafiripi 1:10) Ebintu ebisinga obukulu bye biruwa? Ekimu ku byo kwe kufissaawo akadde okubeerako n’ab’omu maka go era ne mikwano gyo. N’ekisingira ddala obukulu kwe kukola Katonda by’ayagala, gamba ng’okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza ku ebyo by’oba osomye.

Ab’omu maka baliira wamu eky’eggulo era basanyufu
Ab’omu maka baliira wamu eky’eggulo era basanyufu

Abo abalina endowooza ennuŋŋamu ku kukola, banyumirwa nnyo emirimu gyabwe. William ayogeddwako mu kitundu kino agamba nti: ‘Omu ku abo abaali bakama bange mukozi munyiikivu, era bakasitoma be bamwagala nnyo olw’okuba akola bulungi emirimu gye. Wadde alina eby’okukola bingi, afissaawo akadde okubeerako n’ab’omu maka ge n’okusinza Katonda. Y’omu ku bantu abasanyufu ennyo be mmanyi.’

Endowooza Gye Balina ku Kukola Emirimu egy’Okukakaalukana

“Bwe nkola ne nkoowa, mba musanyufu. Mba nkimanyi nti ddala nkoze.”​—Nick.

“Omulimu ogwetaagisa okukola ennyo gwe gusinga obulungi. Omulimu gwonna gw’okola gukole mu ngeri esingayo obulungi.”​—Christian.

“Omubiri gw’omuntu gusobola okukola ebintu ebyewuunyisa. Njagala nkirage nti nsiima obulamu Katonda bwe yampa nga nkola n’obunyiikivu era nga nnyamba abantu abalala.”​—David.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share