LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lvs sul. 15 lup. 200-212
  • Nyumirwa Omulimu Gwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nyumirwa Omulimu Gwo
  • Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Read in Kwagala Kwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABAKOZI ABABIRI ABASINGAYO
  • TWANDITUTTE TUTYA EMIRIMU GYE TUKOLA?
  • MULIMU KI GWE NNAAKOLA?
  • ‘MANYA EBINTU EBISINGA OBUKULU’
  • OMULIMU OGUSINGA OBUKULU GWE TULINA OKUKOLA
  • Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ensonga Lwaki Tusaanidde Okukola
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Weeyagalire mu Ebyo Byonna by’Oteganira
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Engeri gy’Oyinza Okutunuuliramu Omulimu Gwo mu Ngeri Etagudde Lubege
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
lvs sul. 15 lup. 200-212
Ow’oluganda ng’abuulira mukozi munne

ESSUULA 15

Nyumirwa Omulimu Gwo

“Buli muntu asaanidde . . . okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira.”​—OMUBUULIZI 3:13.

1-3. (a) Abantu bangi batwala batya emirimu gyabwe? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

ABANTU bangi okwetooloola ensi bakola nnyo okusobola okweyimirizaawo n’okulabirira ab’omu maka gaabwe. Kyokka era bangi tebaagala mirimu gye bakola, era baba tebeesunga kugenda ku mirimu. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’oli, kiki ekiyinza okukuyamba okunyumirwa omulimu gwo? Kiki ekiyinza okukuleetera okwagala omulimu gwo?

2 Yakuwa atugamba nti: “Buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.” (Omubuulizi 3:13) Yakuwa yatutonda nga twetaaga okukola. Ayagala tufune essanyu mu ebyo bye tukola.​—Soma Omubuulizi 2:24; 5:18.

3 Kati olwo kiki ekiyinza okutuyamba okunyumirwa emirimu gye tukola? Mirimu gya ngeri ki Abakristaayo gye balina okwewala? Tuyinza tutya okukakasa nti emirimu gyaffe tegitulemesa kuweereza bulungi Yakuwa? Era mulimu ki ogusingayo obukulu gwe tulina okukola?

ABAKOZI ABABIRI ABASINGAYO

4, 5. Yakuwa alina ndowooza ki ku mirimu?

4 Yakuwa ayagala nnyo okukola. Olubereberye 1:1 wagamba nti: “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” Katonda bwe yamala okutonda ensi ne byonna ebigiriko yagamba nti byonna bye yali akoze byali “birungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Omutonzi waffe yasanyukira emirimu gye yali akoze.​—1 Timoseewo 1:11.

5 N’okutuusa leero, Yakuwa akyakola. Yesu yagamba nti: “N’okutuusa kaakano Kitange akola.” (Yokaana 5:17) Wadde nga tetumanyi bintu byonna Yakuwa by’azze akola, ebimu ku byo tubimanyi. Abadde alonda abo abanaafugira awamu n’Omwana we, Yesu Kristo, mu Bwakabaka bwe. (2 Abakkolinso 5:17) Yakuwa awa abantu obulagirizi era abalabirira. Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira, abantu bangi bategedde ebikwata ku Yakuwa era balina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna.​—Yokaana 6:44; Abaruumi 6:23.

6, 7. Yesu mukozi wa ngeri ki?

6 Okufaananako Kitaawe, Yesu naye ayagala nnyo okukola. Bwe yali tannajja ku nsi, Yesu yakolera wamu ne Katonda “ng’omukozi omukugu” mu kutonda ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi. (Engero 8:22-31; Abakkolosaayi 1:15-17) Ne bwe yajja ku nsi, Yesu yeeyongera okukola n’obunyiikivu. Bwe yali akyali muto, yayiga okukola obulungi omulimu gw’okubajja, oboolyawo nga kino kyali kizingiramu okubajja ebintu ebitali bimu n’okuzimba amayumba. Yesu yakuguka nnyo mu mulimu ogwo ne kiba nti abantu baamuyitanga ‘mubazzi.’​—Makko 6:3.

7 Wadde kyali kityo, omulimu Yesu gwe yakulembeza mu bulamu bwe gwe gw’okubuulira amawulire amalungi n’okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa. Yamala emyaka esatu n’ekitundu ng’abuulira; yatandikanga ku makya nnyo n’atuusiza ddala ekiro. (Lukka 21:37, 38; Yokaana 3:2) Yesu yatambulanga eŋŋendo empanvu ng’ayita mu makubo agajjudde enfuufu, okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka.​—Lukka 8:1.

8, 9. Lwaki Yesu yanyumirwanga okukola omulimu Katonda gwe yamuwa?

8 Okukola omulimu Katonda gwe yamuwa, Yesu yali akitwala ng’emmere ye. Omulimu ogwo gwamuzzangamu nnyo amaanyi. Waliwo ennaku ezimu Yesu lwe yabuuliranga ennyo n’atafuna na budde kulya mmere. (Yokaana 4:31-38) Yakozesanga buli kakisa ke yafunanga okuyigiriza abalala ebikwata ku Katonda. Eyo ye nsonga lwaki yali asobola okugamba Yakuwa nti: “Nkugulumizza ku nsi kubanga mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.”​—Yokaana 17:4.

9 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa ne Yesu bakola nnyo era basanyukira emirimu gye bakola. Tusaanidde ‘okukoppa Katonda,’ era tusaanidde ‘okutambulira mu bigere bya Yesu.’ (Abeefeso 5:1; 1 Peetero 2:21) Eyo ye nsonga lwaki tusaanidde okuba abakozi abanyiikivu n’okufuba okukola emirimu gyaffe obulungi.

TWANDITUTTE TUTYA EMIRIMU GYE TUKOLA?

10, 11. Kiki ekiyinza okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gwo?

10 Abaweereza ba Yakuwa tukola n’amaanyi tusobole okweyimirizaawo n’okulabirira ab’omu maka gaffe. Twagala okunyumirwa emirimu gye tukola, naye ekyo oluusi tekiba kyangu. Kati olwo kiki kye tuyinza okukola bwe tuba nga tetunyumirwa mirimu gyaffe?

Ow’oluganda ng’anyumirwa omulimu gwe

Bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu, tunyumirwa omulimu gwaffe ka gube gwa ngeri ki

11 Ba n’endowooza ennuŋŋamu. Tuyinza obutasobola kukyusa mulimu gwe tukola oba obudde bwe tumala nga tukola, naye tusobola okukyusa endowooza gye tulina ku mirimu gyaffe. Okumanya ekyo Yakuwa ky’atusuubiramu kisobola okutuyamba. Ng’ekyokulabirako: Yakuwa asuubira omutwe gw’amaka okukola kyonna ekisoboka okulabirira ab’omu maka ge. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti oyo atalabirira ba mu maka ge “mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Bw’oba ng’oli mutwe gw’amaka, oteekwa okuba ng’okola nnyo okusobola okulabirira ab’omu maka go. K’obe ng’oyagala omulimu gw’okola oba nedda, osaanidde okukimanya nti omulimu ogwo gukuyamba okulabirira ab’omu maka go, era ekyo kisanyusa Yakuwa.

Mwannyinaffe ng’anyumirwa omulimu gwe

12. Okukola n’obunyiikivu n’okuba abeesigwa kituganyula kitya?

12 Ba mukozi munyiikivu era ba mwesigwa. Ekyo kijja kukuyamba okunyumirwa omulimu gwo. (Engero 12:24; 22:29) Oyo akukozesa ajja kukwesiga. Abantu batera nnyo okwagala okukozesa abantu abeesigwa, kubanga baba bakimanyi nti abantu abo tebajja kubabba ssente, kubba bintu bya kampuni, oba kukozesa bubi budde. (Abeefeso 4:28) N’ekisinga obukulu, bw’oba omukozi omunyiikivu era omwesigwa, ekyo Yakuwa akiraba. Ate era kikuleetera okuba ‘n’omuntu ow’omunda omuyonjo’ kubanga oba okimanyi nti osanyusa Katonda.​—Abebbulaniya 13:18; Abakkolosaayi 3:22-24.

Ow’oluganda ng’abuulira mukozi munne

13. Birungi ki ebirala ebiyinza okuvaamu singa tuba beesigwa ku mirimu?

13 Kijjukirenga nti engeri gye weeyisaamu ku mulimu esobola okuweesa Yakuwa ekitiibwa. Okumanya ekyo nakyo kisobola okukuyamba okwagala omulimu gwo. (Tito 2:9, 10) Enneeyisa yo ennungi eyinza n’okuleetera omu ku bakozi banno okwagala okuyiga Bayibuli.​—Soma Engero 27:11; 1 Peetero 2:12.

MULIMU KI GWE NNAAKOLA?

14-16. Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tulondawo omulimu ogw’okukola?

14 Bayibuli teriimu lukalala lwa mirimu Omukristaayo gy’alina kukola na gy’atalina kukola, naye erimu emisingi egisobola okutuyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku mirimu. (Engero 2:6) Nga tukozesa emisingi gya Bayibuli tuyinza okwebuuza ebibuuzo bino wammanga.

Ow’oluganda nga yeetegereza emirimu egiri mu lupapula lw’amawulire

Noonya omulimu ogutakontana na misingi gya Yakuwa

15 Omulimu guno gunandeetera okukola ekintu ekitasanyusa Yakuwa? Waliwo ebintu bye tumanyi nti Yakuwa abikyawa, gamba ng’okubba n’okulimba. (Okuva 20:4; Ebikolwa 15:29; Abeefeso 4:28; Okubikkulirwa 21:8) N’olwekyo, tusaanidde okwewala omulimu gwonna oguyinza okutuleetera okumenya amateeka ga Yakuwa.​—Soma 1 Yokaana 5:3.

16 Omulimu guno guwagira ekintu Yakuwa ky’akyawa? Ng’ekyokulabirako, watya singa oweebwa omulimu ogw’okwaniriza abagenyi mu ddwaliro eriggyamu embuto? Okukola omulimu ogw’okwaniriza abagenyi ku bwakyo si kibi. Naye tukimanyi nti Yakuwa akyawa ekikolwa eky’okuggyamu olubuto. N’olwekyo ne bwe kiba nti ggwe teweenyigira butereevu mu kuggyamu mbuto, ddala Yakuwa aba akitwala nti toliiko musango?​—Okuva 21:22-24.

17. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda?

17 Bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli, tuba ng’abantu aboogerwako mu Abebbulaniya 5:14, “abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” Weebuuze: ‘Bwe nnaakola omulimu guno, tekireetere balala kwesittala? Omulimu guno gunanneetaagisa okugenda mu nsi endala ne ndekawo munnange mu bufumbo n’abaana bange? Ekyo kinaabakwatako kitya?’

‘MANYA EBINTU EBISINGA OBUKULU’

18. Lwaki oluusi tekiba kyangu kukulembeza Yakuwa by’ayagala?

18 Olw’okuba ‘ebiseera bye tulimu bizibu nnyo,’ oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kukulembeza buweereza bwaffe eri Yakuwa. (2 Timoseewo 3:1) Kiyinza obutatubeerera kyangu kufuna mulimu n’okugumalako ebbanga. Wadde nga tulina okulabirira ab’omu maka gaffe, okusinza Yakuwa kye kintu kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe. N’olwekyo tetulina kukulembeza ssente mu bulamu bwaffe. (1 Timoseewo 6:9, 10) Kati olwo tuyinza tutya okukulembeza “ebintu ebisinga obukulu” ate nga mu kiseera kye kimu tulabirira ab’omu maka gaffe?​—Abafiripi 1:10.

19. Okwesiga Yakuwa kiyinza kitya okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mirimu gyaffe?

19 Weesige Yakuwa. (Soma Engero 3:5, 6.) Tukimanyi nti Yakuwa amanyi bulungi bye twetaaga era nti atufaako nnyo. (Zabbuli 37:25; 1 Peetero 5:7) Bayibuli egamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga [Katonda] yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’” (Abebbulaniya 13:5) Yakuwa tayagala tubeere awo buli kaseera nga tweraliikirira engeri gye tunaalabiriramu ab’omu maka gaffe. Yakuwa akiraze enfunda n’enfunda nti asobola okuwa abantu be bye beetaaga. (Matayo 6:25-32) Ka tube nga tukola mulimu ki, tulina okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa, okubuulira amawulire amalungi, n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana.​—Matayo 24:14; Abebbulaniya 10:24, 25.

20. Tuyinza tutya okwewala omwoyo ogw’okwagala ebintu?

20 Tunula wamu. (Soma Matayo 6:22, 23.) Kino kitegeeza okwewala omwoyo ogw’okwagala ebintu tusobole okwemalira ku kuweereza Yakuwa. Tetusaanidde kukkiriza ssente, obulamu obw’okwejalabya, oba okwagala okufuna ebintu ebiri ku mulembe kutuleetera kufiirwa nkolagana yaffe ne Katonda. Kati olwo biki ebinaatuyamba okukulembeza ebintu ebisinga obukulu? Tulina okufuba okwewala amabanja. Bw’oba ng’olina ebbanja, kola enteekateeka ennungi eneekusobozesa okulisasula. Bwe tuteegendereza, okunoonya ebintu kiyinza okututwalira obudde bungi n’amaanyi mangi, ne tutasobola kufuna budde bwa kusaba, kwesomesa, oba okubuulira. Mu kifo ky’okwemalira ku kunoonya ebintu tusaanidde okuba abamativu n’eby’etaago eby’omubiri, gamba ‘ng’eby’okulya n’eby’okwambala.’ (1 Timoseewo 6:8) Era ka tube nga tuli mu mbeera ki, buli luvannyuma lwa kiseera tusaanidde okwekebera tulabe enkyukakyuka ze twetaaga okukola okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.

21. Lwaki tulina okusalawo ekyo kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu?

21 Kulembeza ebintu ebisinga obukulu. Tusaanidde okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe mu ngeri ey’amagezi. Bwe tuteegendereza, ebintu ebitali bikulu nnyo, gamba ng’obuyigirize oba ssente, bisobola okututwalira ebiseera bingi. Yesu yagamba nti: “Musooke munoonyenga Obwakabaka.” (Matayo 6:33) Ebyo bye tusalawo mu bulamu, engeri gye tweyisaamu, ebintu bye tukola buli lunaku, n’ebiruubirirwa byaffe biraga ekyo kye tukulembeza mu bulamu.

OMULIMU OGUSINGA OBUKULU GWE TULINA OKUKOLA

22, 23. (a) Mulimu ki ogusinga obukulu Abakristaayo gwe balina okukola? (b) Kiki ekijja okutuyamba okunyumirwa emirimu gye tukola?

22 Ekintu ekisinga obukulu kye tulina okukola kwe kuweereza Yakuwa. Engeri emu gye tuweerezaamu Yakuwa, kwe kubuulira amawulire amalungi. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Okufaananako Yesu, tulina okunyiikirira omulimu ogwo. Abamu basazeewo okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Abalala bayize ennimi endala basobole okubuulira abantu aboogera ennimi ezo. Yogerako n’abamu ku abo abakoze ebintu ebyo bakubuulire engeri gye basobodde okubikolamu. Ojja kukiraba nti okugaziya obuweereza bwabwe kibayambye okwongera okufuna essanyu mu bulamu.​—Soma Engero 10:22.

Ow’oluganda ne mukyala we nga babuulira

Ekintu ekisinga obukulu kye tulina okukola, kwe kuweereza Yakuwa

23 Bangi ku ffe tumala ebiseera bingi nga tukola omulimu gwaffe oba emirimu egitali gimu okusobola okulabirira ab’omu maka gaffe. Ekyo Yakuwa akiraba era asiima ebyo bye tukola okusobola okulabirira ab’omu maka gaffe. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okukoppa Yakuwa ne Yesu nga tukola n’obunyiikivu emirimu gyaffe, ka gibe gya ngeri ki. Ate era tusaanidde okukijjukiranga nti okuweereza Yakuwa kye kintu ekisinga obukulu kye tusaanidde okukola. Ekyo kye kijja okutuleetera essanyu erya nnamaddala.

EMISINGI GYA BAYIBULI

1 YAKUWA YATONDA ABANTU NGA BEETAAGA OKUKOLA

“Buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.”​—Omubuulizi 3:13

Lwaki okukola kirabo okuva eri Katonda?

  • Olubereberye 1:1, 31; Omubuulizi 2:24; Yokaana 5:17

    Yakuwa mukozi munyiikivu. Anyumirwa emirimu gy’akola era ayagala naffe tunyumirwe emirimu gye tukola.

  • Engero 8:22-31; Abakkolosaayi 1:15-17

    Ne Yesu naye mukozi munyiikivu; yakola n’obunyiikivu nga tannajja ku nsi era ne bwe yali ku nsi.

  • Makko 6:3; Lukka 21:37, 38; Yokaana 4:31-38; 17:4

    Yesu yakola bulungi omulimu Katonda gwe yamuwa n’agumaliriza wadde nga tekyali kyangu.

2 TUSOBOLA OKUBA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU MIRIMU GYE TUKOLA

“Olabye omusajja eyakuguka mu mulimu gwe? Ajja kuyimirira mu maaso ga bakabaka.”​—Engero 22:29

Kiki ekinaatuyamba okunyumirwa emirimu gye tukola?

  • Engero 12:24; Abakkolosaayi 3:22-24; Abebbulaniya 13:18

    Ne bwe kiba nti tetusobola kukyusa mulimu gwe tukola, tusobola okukyusa endowooza gye tugulinako. Era tusaanidde okuba abeesigwa n’okukola n’obunyiikivu.

  • Engero 27:11; 1 Timoseewo 5:8; 1 Peetero 2:12

    Bw’olabirira ab’omu maka go, oba ogondera Katonda. Era bwe weeyisa obulungi ku mulimu oweesa Yakuwa ekitiibwa.

  • Okuva 20:13-15; Engero 2:6; Abaruumi 14:19-22; Abeefeso 5:28–6:4; 1 Yokaana 5:3; Okubikkulirwa 18:4

    Bayibuli etuyamba okumanya engeri okukola emirimu egitali gimu gye kiyinza okutukwatako, okukwata ku b’omu maka gaffe, bakkiriza bannaffe, ne Yakuwa.

3 OKUKULEMBEZA EBINTU EBISINGA OBUKULU KISOBOLA OKUTUYAMBA OKUNYUMIRWA EMIRIMU GYAFFE

‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’​—Abafiripi 1:10

Kiki kye tulina okukulembeza mu bulamu?

  • Zabbuli 37:25; Engero 3:5, 6; 1 Peetero 5:7

    Ba mukakafu nti Yakuwa amanyi bye weetaaga mu bulamu.

  • Matayo 6:25-32; 1 Timoseewo 6:8-10; Abebbulaniya 13:5

    Ba mumativu ne by’olina.

  • Engero 10:22; Matayo 6:33; 28:19, 20; Abebbulaniya 10:24, 25

    Weemalire ku kuweereza Yakuwa n’okubuulira amawulire amalungi. Kino kye kintu ekisinga obukulu kye tulina okukola.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share