EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OMUBUULIZI 1-6
Weeyagalire mu Ebyo Byonna by’Oteganira
Yakuwa ayagala tunyumirwe emirimu gye tukola era atubuulira ebisobola okutuyamba okuginyumirwa. Omuntu asobola okunyumirwa omulimu gw’akola singa aba n’endowooza ennuŋŋamu ku mulimu ogwo.
Osobola okunyumirwa omulimu gw’okola singa . . .
oba n’endowooza ennuŋŋamu
olowooza ku ngeri omulimu gwo gye guganyulamu abalala
ofuba okugukola obulungi, naye bw’onnyuka ebirowoozo byo n’obissa ku b’omu maka go ne ku by’omwoyo