LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 7/1 lup. 8-9
  • Okweraliikirira Akabi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okweraliikirira Akabi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KIKULU NNYO OKUSABA
  • ESSUUBI ERIKWATA KU BISEERA EBY’OMU MAASO
  • Ebyeraliikiriza Biri Buli Wamu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakuwa Mukwase Byonna Ebikweraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Okweraliikirira
    Zuukuka!—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 7/1 lup. 8-9

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ENGERI Y’OKWAŊŊANGA EBIKWERALIIKIRIZA

Okweraliikirira Akabi

Alona agamba nti: “Bwe mpulira akade akalabula nga wagenda kugwaawo akabi, omutima gunkuba era ne nziruka okwekweka. Naye ne bwe mba nneekwese, mba nneeraliikirira. Ate bwe mba wabweru kiyitirira kuba mba sirina kifo we nnyinza kwekweka. Lumu bwe nnali ntambula, nnatandika okukaaba era nnali sisobola kussa bulungi. Kyantwalira essaawa eziwera okutereera, kyokka oluvannyuma akade kaddamu okuvuga.”

Alona nga mweraliikirivu olw’akabi akayinza okubaawo singa bbomu ebwatuka

Alona

Entalo si ze zokka eziyinza okutuviirako okutuukibwako akabi. Ng’ekyokulabirako, bw’okizuula nti ggwe oba omu ku b’omu maka go alina obulwadde obw’omutawaana, oyinza okweraliikirira ennyo. Ate abamu beeraliikirira nnyo olw’ebyo ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Beebuuza nti, ‘Abaana baffe n’abazzukulu banaabeera mu nsi ejjudde entalo, obumenyi bw’amateeka, endwadde, okwonoonebwa kw’obutonde, n’embeera y’obudde eyonooneka buli lukya?’ Biki ebiyinza okutuyamba obuteeraliikirira bintu ng’ebyo?

Olw’okuba aba akimanyi nti ebintu ebibi bibaawo, “omuntu omutegeevu alaba [akabi] ne yeekweka.” (Engero 27:12) Ate era nga bwe tufuba ennyo okukuuma obulamu bwaffe, tusaanidde okubaako kye tukolawo okukuuma ebirowoozo byaffe. Eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obukambwe oba amawulire agalimu ebifaananyi eby’entiisa bireetera abaana baffe naffe kennyini okweraliikirira. Olw’okuba Katonda teyatutonda tube nga tulowooza ku bintu ebibi, tusaanidde okulowooza ku bintu byonna “ebituufu, . . . ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa.” Bwe tunaakola bwe tutyo, “Katonda ow’emirembe” ajja kutuwa emirembe mu birowoozo ne mu mutima.​—Abafiripi 4:8, 9.

KIKULU NNYO OKUSABA

Bwe tuba n’okukkiriza okunywevu, tuba tusobola okwaŋŋanga ebitweraliikiriza. Bayibuli etukubiriza ‘okuba obulindaala ku bikwata ku kusaba.’ (1 Peetero 4:7) Tusobola okusaba Katonda atuyambe era atuwe amagezi n’obuvumu tusobole okuyita mu mbeera gye tuba tulimu, era tusaanidde okuba abakakafu nti “awulira buli kye tusaba.”​—1 Yokaana 5:15.

Avi ne Alona nga basaba Katonda abayambe

Ng’ali n’omwami we, Avi

Bayibuli egamba nti Sitaani ye ‘mufuzi w’ensi eno,’ so si Katonda, era nti “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (Yokaana 12:31; 1 Yokaana 5:19) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yatuyigiriza okusaba nti: “Tulokole okuva eri omubi.” (Matayo 6:13) Alona agamba nti: “Buli akade lwe katandika okuvuga, nsaba Yakuwa annyambe nneme okutya. Ate era, omwami wange ankubira essimu n’asabira wamu nange. Okusaba kunnyamba nnyo.” Ekyo kikwatagana n’ebigambo bino ebisangibwa mu Bayibuli ebigamba nti: “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, bonna abamukaabira n’amazima.”​—Zabbuli 145:18.

ESSUUBI ERIKWATA KU BISEERA EBY’OMU MAASO

Yesu bwe yali ayigiririza ku Lusozi, yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje.” (Matayo 6:10) Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okweraliikirira. Okuyitira mu Yesu, “Omukulu ow’emirembe,” Katonda ajja ‘kuggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.’ (Isaaya 9:6; Zabbuli 46:9) “[Katonda] alisalira omusango amawanga mangi, . . . Eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate. . . . Tewalibaawo abakanga.” (Mikka 4:3, 4) Abantu “balizimba ennyuma ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu.” (Isaaya 65:21) Ate era, “n’oyo atuulamu talyogera nti ndi mulwadde.”​—Isaaya 33:24.

Wadde nga leero waliwo ebintu bingi ebiyinza okutuyamba okwewala emitawaana, oluusi tetusobola kwewala bintu ‘ebigwaawo obugwi’ oba okwewala okuba mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu. (Omubuulizi 9:11) Nga bwe kibadde okumala ebyasa bingi, abantu abalungi bakyeyongera okufa olw’entalo, obumenyi bw’amateeka, n’endwadde. Waliwo ssuubi ki eri abantu ng’abo?

Abantu bukadde na bukadde, ng’omuwendo gwabwe omujjuvu Katonda y’agumanyi, bajja kuzuukira. Abantu abo Katonda akyabajjukira, era olunaku lujja kutuuka ‘bonna abali mu ntaana baveemu.’ (Yokaana 5:28, 29) Bayibuli bw’eba eyogera ku ssuubi ery’okuzuukira etukakasa nti: ‘Essuubi lye tulina liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu.’ (Abebbulaniya 6:19) Ate era Katonda “awadde abantu bonna obukakafu” ku ssuubi eryo ‘ng’azuukiza Yesu mu bafu.’​—Ebikolwa 17:31.

Mu kiseera kino, n’abo abafuba okukola Katonda by’ayagala bajja kufuna ebibeeraliikiriza. Okukola ebintu mu ngeri entuufu, okusemberera Katonda okuyitira mu kusaba, n’okukkiririza mu ssuubi ery’ebiseera eby’omu maaso eryogerwako mu Bayibuli kiyambye Paul, Janet, ne Alona okwaŋŋanga ebibeeraliikiriza. Katonda eyayamba Paul, Janet, ne Alona, nnammwe ‘k’abawe essuubi, abajjuze essanyu era abawe emirembe olw’okukkiriza kwammwe.’​—Abaruumi 15:13.

Saba Abasawo Bakuyambe

Singa okola kyonna ekisoboka okwewala okweraliikirira naye n’osigala ng’okyeraliikirira, kiba kirungi ne weebuuza ku musawo. Omuntu bwe yeeraliikirira ekisukkiridde ayinza okuba ng’alina ekizibu ekirala eky’amaanyi ky’atamanyi. Omusawo ayinza okusooka okukukebera kubanga okweraliikirira kayinza okuba akabonero akalaga nti oli mulwadde. Oluvannyuma omusawo ayinza okukuwa amagezi ku bujjanjabi bw’oyinza okufuna.a

a Abawandiika akatabo kano tebalina nzijanjaba yonna gye basalirawo bantu kukozesa. Abakristaayo basaanidde okukakasa nti obujjanjabi bwe basalawo okufuna tebukontana n’ebyo ebiri mu Bayibuli. Laba ekitundu ekirina omutwe “Okuyamba Abo Abalina Obulwadde Obuva ku Kweraliikirira,” mu Awake! eya Maaki 2012. Osobola okugifuna ku mukutu www.pr418.com.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share