Obwakabaka bwa Katonda bwe buliba bufuga ensi, abantu “baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”—Zabbuli 37:11
Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Olowooza Bayibuli esobola okukuyamba ng’olina ebikweraliikiriza?
Wandizzeemu otya?
- Yee 
- Nedda 
- Oboolyawo 
Bayibuli ky’egamba
‘Mukwase Katonda byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’ (1 Peetero 5:7) Bayibuli etukakasa nti Katonda asobola okutuyamba nga waliwo ebitweraliikiriza.
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
- Bw’osaba Katonda, osobola okufuna “emirembe gya Katonda” ne kikuyamba obuteeraliikirira nnyo.—Abafiripi 4:6, 7. 
- N’okusoma Ekigambo kya Katonda kisobola okukuyamba obuteeraliikirira nnyo.—Matayo 11:28-30. 
Ekiseera kirituuka ne tuba nga tetulina kitweraliikiriza?
Abantu abamu balowooza nti . . . okweraliikirira kye kimu ku bintu ebyatutonderwa, ate abalala balowooza nti omuntu ng’akyali mulamu, tasobola buteeraliikirira. Ggwe olowooza otya?
Bayibuli ky’egamba
Katonda ajja kuggyawo ebituleetera okweraliikirira. “Okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”—Okubikkulirwa 21:4.
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
- Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, wajja kubaawo emirembe mingi.—Isaaya 32:18. 
- Ebintu ebitweraliikiriza bijja kuba tebikyaliwo.—Isaaya 65:17.