LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 9/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Obwakabaka Bwa Katonda Bufuga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Baibuli—Ebyafaayo Ebituufu, Obunnabbi Obwesigika
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Yigira ku Bunnabbi Obuli mu Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • 2A Okutegeera Obunnabbi bwa Ezeekyeri
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 9/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Lwaki Bayibuli erimu obunnabbi?

Yesu ayogea n’abamu ku batume be ku Lusozi olw’Emizeyituuni

Lwaki bayibuli eyogera ku bintu ebiriwo leero?​—Lukka 21:10, 11.

Teri muntu ayinza kwogera ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, byonna by’ayogedde ne bituukirira. Naye bwo obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukirira mu bujjuvu, era ekyo kitukakasa nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.​—Soma Yoswa 23:14; 2 Peetero 1:20, 21.

Obunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirira bunyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda. (Abebbulaniya 11:1) Ate era butuyamba okuba abakakafu nti ebyo Katonda bye yasuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso bijja kutuukirira. N’olwekyo, obunnabbi obuli mu Bayibuli butuwa essuubi ekkakafu.​—Soma Zabbuli 37:29; Abaruumi 15:4.

Obunnabbi bwa Bayibuli butuganyula butya?

Obunnabbi obumu bulabula abaweereza ba Katonda ne babaako kye bakolawo. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bwe baalaba ng’obunnabbi obumu butuukirizibwa, baava mu kibuga Yerusaalemi. Oluvannyuma ekibuga ekyo kyazikirizibwa olw’okuba abantu abasinga obungi abaali bakibeeramu bagaana okukkiririza mu Yesu. Naye Abakristaayo abaali bakivuddemu baawonawo.​—Soma Lukka 21:20-22.

Obunnabbi obutuukirizibwa leero bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuggyawo gavumenti z’abantu. (Danyeri 2:44; Lukka 21:31) N’olwekyo, kikulu nnyo buli muntu okubaako ky’akolawo kati, asobole okusiimibwa Yesu Kristo, Kabaka Katonda gwe yalonda.​—Soma Lukka 21:34-36.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 2 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku www.pr418.com/lg

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share