LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/10 lup. 3
  • Baibuli—Ebyafaayo Ebituufu, Obunnabbi Obwesigika

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baibuli—Ebyafaayo Ebituufu, Obunnabbi Obwesigika
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Similar Material
  • Okuyigira ku Vidiyo The Bible—Accurate History, Reliable Prophecy
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yigira ku Bunnabbi Obuli mu Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Obwakabaka Bwa Katonda Bufuga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 11/10 lup. 3

Baibuli—Ebyafaayo Ebituufu, Obunnabbi Obwesigika

Bukakafu ki obulaga nti Baibuli erimu ebyafaayo ebituufu? Bunnabbi ki obwa Baibuli obwatuukirizibwa obutukakasa nti n’obw’omu biseera eby’omu maaso bujja kutuukirira? Ebibuuzo bino biddibwamu mu vidiyo eyitibwa The Bible—Accurate History, Reliable Prophecy, eyokusatu ku ezo eziri ku DVD eyitibwa The Bible—A Book of Fact and Prophecy. Ng’omaze okulaba vidiyo eno, osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga?

(1) Ani Nsibuko y’obubaka obwesigika obuli mu Baibuli? (Dan. 2:28) (2) Mu ngeri ki Baibuli gy’eyogera ebintu ebituufu ebikwata ku Misiri ey’edda, era obunnabbi obuli mu Isaaya 19:3, 4 bwatuukirizibwa butya? (3) Abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bakakasizza batya ebyo Baibuli by’eyogera ku Basuuli, bakabaka baabwe, n’okuzikirizibwa kwa Busuuli? (Nak. 3:1, 7, 13) (4) Bunnabbi ki obukwata ku Babulooni obwatuukirizibwa? (Yer. 20:4; 50:38; 51:30) (5) Bunnabbi ki obukwata ku Bumeedi ne Buperusi obwatuukirizibwa? (Is. 44:28) (6) Obunnabbi obuli mu Danyeri 7:6 ne 8:5, 8 bwatuukirizibwa butya ku Buyonaani? (7) Obunnabbi obuli mu Danyeri 7:7 bwatuukirizibwa butya Rooma bwe yafuuka ensi kirimaanyi? (8) Bakayisaali ki aboogerwako mu Baibuli? (9) Kiki ekyatuuka ku Bakristaayo mu kiseera ky’obufuzi bwa Nero? (10) Obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 13:11 ne 17:10 bwatuukirizibwa butya? (11) Kabaka ow’omunaana y’ani? (12) Biki ebiri mu vidiyo ebiraga obutuufu bwa Omubuulizi 8:9? (13) Bunnabbi ki obw’omu biseera eby’omu maaso bwe weesunga okulaba nga butuukirizibwa? (14) Oyinza otya okukozesa vidiyo eno okuyamba abalala okukakasa nti obubaka obuli Baibuli bwava eri Katonda?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share