Okuyigira ku Vidiyo The Bible—Accurate History, Reliable Prophecy
Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eno, oyinza okuddamu ebibuuzo bino? (1) Ani Nsibuko y’obubaka obwesigika obuli mu Baibuli? (Dan. 2:28) (2) Baibuli ennyonnyola etya obulungi Misiri ey’edda, era obunnabbi obuli mu Isaaya 19:3, 4 bwatuukirizibwa butya? (3) Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bakakasa batya Baibuli ky’eyogera ku Basuli, bakabaka baabwe, n’enkomerero ya Bwasuli? (Nak. 3:1, 7, 13) (4) Bunnabbi ki obukwata ku Babulooni obufuuse obwesigika? (5) Bumeedi ne Buperusi baalina buyinza ki ku bantu ba Katonda? (6) Danyeri 8:5, 8 zaatuukirizibwa zitya, era kino kyalagulibwa ng’ebulayo bbanga ki? (7) Yesu yeeraga atya okubeera Masiya omutuufu? (8) Bufuzi ki kirimaanyi obw’omu kiseera kino obutuukiriza obunnabbi obusangibwa mu Okubikkulirwa 13:11 ne 17:11? (9) Biki ebiragiddwa mu vidiyo ebikakasa obutuufu bw’Omubuulizi 8:9? (10) Ebiragiddwa binywezezza bitya okukkiriza kwo mu bisuubizo by’omu Baibuli eby’omu biseera eby’omu maaso? (11) Oyinza otya okukozesa vidiyo eno okumatiza abalala nti Katonda y’ensibuko ya Baibuli?