LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w15 10/1 lup. 3
  • Lwaki Abantu Basaba?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Abantu Basaba?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Laba Ebirala
  • Okusemberera Katonda mu Kusaba
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Oyinza Kusaba Otya Okusobola Okuwulirwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 10/1 lup. 3

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKUSABA KATONDA KIGASA?

Lwaki Abantu Basaba?

“Nnali mukubi wa zzaala era nnasabanga Katonda ampe emikisa. Naye teyanzirangamu.”​—Samuel,a abeera e Kenya.

“Bwe twabanga tusaba nga tuli ku ssomero twaddiŋŋanga essaala ze baatuyigiriza.”​—Teresa, abeera mu Philippines.

“Bwe nfuna ebizibu nsaba. Ate era nsaba nsobole okusonyiyibwa ebibi byange era mbeere Omukristaayo omulungi.”​—Magdalene, abeera e Ghana.

1. Omusajja asaba ng’agenda okukuba zzaala; 2. Omuwala asaba ng’ali ku ssomero; 3. Omukazi ng’asaba

Ebyo Samuel, Teresa, ne Magdalene bye baayogera biraga nti ensonga ezireetera abantu okusaba ziba za njawulo, ezimu ziba za maanyi okusinga endala. Essaala z’abantu abamu ziviira ddala ku mutima kyokka abalala basaba kutuukiriza butuukiriza mukolo. Abantu bukadde na bukadde muli bawulira nti balina obwetaavu obw’okusaba ka kibe nti basaba kuyita bigezo ku ssomero, nga baagala ttiimu gye bawagira ewangule, nga baagala Katonda abawe obulagirizi mu maka gaabwe, oba olw’ensonga endala yonna. Mu butuufu okunoonyereza kulaga nti n’abantu abamu abatalina ddiini batera okusaba.

Naawe osaba? Bwe kiba bwe kityo, biki by’osaba? Ka kibe nti otera okusaba oba nedda, oyinza okuba nga weebuuza nti: ‘Ddala kigasa okusaba? Waliwo awulira essaala zange?’ Omuwandiisi omu yagamba nti okusaba ‘ngeri ya kufuna bufunyi buweerero; kiringa okwogera n’ekisolo ky’olunda awaka.’ Abasawo abamu nabo balina endowooza ng’eyo era bagamba nti ‘okusaba kulinga eddagala omuntu ly’anywa ne limuweweezaako buweweeza.’ Kati olwo tugambe nti abantu abasaba baba batuukiriza butuukiriza mukolo?

Nedda. Bayibuli eraga nti okusaba kulimu emiganyulo mingi ddala. Ate era eraga nti bwe tusaba mu ngeri entuufu wabaawo awulira essaala zaffe. Ka tulabe obanga ddala ekyo kituufu.

a Amannya agamu gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza