LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 1 lup. 11-14
  • Owulira nga Toli wa Mugaso

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Owulira nga Toli wa Mugaso
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBIZIBU EBIVA MU KUKULIRA MU MBEERA ENZIBU
  • KATONDA ATUFAAKO
  • EBINTU BISATU EBISOBOLA OKUKUYAMBA
  • TUJJA KUFUNA EMIREMBE EGY’OLUBEERA
  • Toli Wekka, Yakuwa Ali Naawe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Sanyuka olw’Ebyo by’Okola!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 1 lup. 11-14
Taata ng’asitudde kawala ke

Owulira nga Toli Wa Mugaso?

TEWALI muntu yeetaaga bukuumi ng’omwana eyaakazaalibwa. Bwe twali twakazaalibwa, obukuumi bwonna bwe twali twetaaga twabufunanga kuva eri bazadde baffe. Bwe twali twakatandika okutambula, twatunuuliranga abantu abakulu nga tulaba bawanvu nnyo era nga tubatya naddala nga bazadde baffe tebatuli kumpi. Naye omuzadde waffe bwe yatukwatanga ku mukono, twawuliranga emirembe.

Bwe twali tukyali bato, twali twetaaga nnyo bazadde baffe okutwagala n’okusiima bye tukola. Ate era bwe twakimanya nti bazadde baffe batwagala, kyatuzzangamu nnyo amaanyi. Bwe baasiimanga ebyo bye twabanga tukoze, kyatuzzangamu amaanyi ne tukola ekisingawo.

Bwe tweyongera okukula, mikwano gyaffe nabo baatugumyanga. Bwe twabeeranga nabo twabanga bagumu, era tetwatyanga kugenda ku ssomero.

Kyo kituufu nti ebyo bye tulabye waggulu bibaawo ng’omwana akulidde mu mbeera eyeeyagaza. Kyokka abaana abamu baba n’emikwano mitono, ate abalala bazadde baabwe tebabafaako. Melissaa agamba nti: “Buli lwe ndaba ebifaananyi by’ab’omu maka abali obumu era abasanyufu, mbeesiimisa era ne ŋŋamba nti, ‘Singa nange eyo y’embeera gye nnakuliramu.’” Oboolyawo naawe owuliranga Melissa.

EBIZIBU EBIVA MU KUKULIRA MU MBEERA ENZIBU

Oyinza okuba nga weenyooma olw’engeri gye wakuzibwamu. Oboolyawo wakula tewali akufaako wadde okukulaga okwagala. Kiyinzika okuba nti bazadde bo baayawukana, naye ng’olowooza nti ggwe wabaviirako okwawukana. Oba kiyinzika okuba nga muzadde wo yakuvumanga oba yakutulugunyanga.

Kiki ekiyinza okubaawo ng’omwana akulidde mu mbeera ng’eyo? Abamu batandika okukozesa ebiragalalagala oba okunywa omwenge nga bakyali bato. Abalala beegatta ku bibinja by’abayaaye nga banoonya emikwano. Ate abamu bafuna abalenzi oba abawala nga bakyali bato, olw’okuba baba baagala okwagalibwa n’okufiibwako. Naye emikwano ng’egyo tegitera kuwangaala, era ekyo kyongera bizibu ku bizibu.

Abavubuka abamu ababa beewaze okwenyigira mu bintu ng’ebyo bye twogeddeko waggulu, nabo oluusi bawulira nga tebalina mugaso. Ana agamba nti: “Nnali mukakafu nti sirina mugaso, kubanga ekyo maama wange kye yaŋŋambanga buli kiseera; sijjukira wadde omulundi n’ogumu lwe yanneebaza oba okuŋŋamba nti anjagala.”

Embeera gye tuba twakuliramu si ye yokka eyinza okutuviirako okuwulira nti tetulina mugaso. Ebirala ebiyinza okuleetera omuntu okuwulira nga talina mugaso kwe kwawukana ne mukyala we oba n’omwami we, okukaddiwa, oba okweraliikirira olw’endabika ye. K’ebe nsonga ki etuleetera okuwulira nga tetulina mugaso, essanyu lye tulina lituggwaako era tuba tetukyakolagana bulungi na balala. Biki ebiyinza okutuyamba obutawulira nti tetuli ba mugaso?

KATONDA ATUFAAKO

Kikulu okukijjukira nti Katonda atufaako ffenna era ayagala okutuyamba. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Katonda yagamba nti: “Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba, nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.” (Isaaya 41:10, 13) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda mwetegefu okutuyamba! Tetwetaaga kweraliikirira kintu kyonna!

Bayibuli eyogera ku bantu abaalina ebibeeraliikiriza naye ne beesiga Katonda. Kaana, maama wa Samwiri, yawuliranga nti talina mugaso olw’okuba yali mugumba. Muggya we yamukudaaliranga olw’okubutazaala. N’ekyavaamu, Kaana yakaabanga era n’emmere n’emulema okulya. (1 Samwiri 1:6, 8) Naye bwe yamala okusaba Katonda, teyaddamu kunakuwala.​—1 Samwiri 1:18.

Kabaka Dawudi naye oluusi yeeraliikiriranga. Okumala emyaka mingi, Kabaka Sawulo yamuyigganga ng’ayagala okumutta. Emirundi mingi Dawudi yabulako katono okuttibwa, era ekyo kyamweraliikirizanga nnyo. (Zabbuli 55:3-5; 69:1) Wadde yalina ebizibu ebyo byonna, yagamba nti: “Nja kugalamira nneebake mirembe, kubanga, Ai Yakuwa, ggwe wekka andeetera okuba mu mirembe.”​—Zabbuli 4:8.

Kaana ne Dawudi bombi ebizibu byabwe baabitegeeza Yakuwa, era yabayamba. (Zabbuli 55:22) Tuyinza tutya okubakoppa?

EBINTU BISATU EBISOBOLA OKUKUYAMBA

1. Weesigenga Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu.

Omusajja ng’afumiitiriza ku by’asoma mu Bayibuli

Yesu yatukubiriza okumanya Kitaawe, era “Katonda omu ow’amazima.” (Yokaana 17:3) Omutume Pawulo yawandiika nti: “[Katonda] tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27 Omutume Yakobo naye yawandiika nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”​—Yakobo 4:8.

Bwe tukimanya nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo era atufaako, kituyamba obuteeraliikirira. Kiyinza okukutwalira ekiseeera kiwanvuko okwesigira ddala Katonda, naye abamwesize baganyuddwa nnyo. Caroline agamba nti: “Bwe nnatandika okwesiga Katonda, yafuuka nga Kitange gwe nsobola okutegeeza byonna ebinneeraliikiriza. Ekyo kyannyamba okuwulira emirembe!”

Rachel naye agamba nti: “Bwe nnasigala nzekka nga siri ne bazadde bange, Yakuwa ye yannyamba obutennyamira. Nnamusabanga annyambe mu bizibu bye nnalina, era yannyambanga.”b

2. Kolagana n’abo abaagala Katonda.

Abanyumya nga bali ku Kingdom Hall

Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwenna muli ba luganda.” (Matayo 23:8) Yali ayagala abagoberezi be baagalane ng’abantu ababeera mu maka agamu.​—Matayo 12:48-50; Yokaana 13:35.

Mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa abantu baba bumu era baagalana ng’ab’oluganda. (Abebbulaniya 10:24, 25) Abantu bangi bwe bagenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa bazzibwamu amaanyi era ne kibayamba obuteeraliikirira nnyo.

Eva agamba nti: “Nnalina mukwano gwange nfiirabulago mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa gye nkuŋŋaanira, era yategeeranga mbeera gye nnabangamu. Yampulirizanga nga nnina kye mmubuulira, yansomeranga Bayibuli, era yasabirangako wamu nange. Teyanvanga ku lusegere. Nnamweyabizanga ne kinnyamba okufuna obuweerero ne mba nga seeraliikirira nnyo.” Rachel ayogeddwako waggulu naye agamba nti: “Nnafuna maama ne taata mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Bandeetera okuwulira nga njagalibwa era nga nfiibwako.”

3. Yagala abalala era beera wa kisa.

Bw’oyagala abalala era n’oba wa kisa gye bali, ojja kufuna emikwano egya nnamaddala. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Gye tukoma okwagala abalala, nabo gye bakoma okutwagala. Yesu era yagamba nti: “Mugabenga, nammwe abantu balibagabira.”​—Lukka 6:38.

Okwagalana kutuleetera okufuna emirembe. Bayibuli egamba nti, “okwagala tekulemererwa.” (1 Abakkolinso 13:8) María agamba nti: “Nkimanyi nti ebintu ebimu bye ndowooza ebindeetera okweraliikira oluusi tebiba bituufu. Naye ekinnyamba okweggyamu ebirowoozo ng’ebyo, kwe kukolera abalala ebirungi. Mpulira essanyu buli lwe nkolera abalala ebirungi.”

Omusajja omukadde n’omuvubuka nga batambula

TUJJA KUFUNA EMIREMBE EGY’OLUBEERA

Amagezi agaweereddwa waggulu, tegayamba muntu kufuna mirembe gya lubeerera naye omuntu bw’agakolerako asobola okufuna obuweerero. Caroline agamba nti: “Wakyaliwo ebinneeraliikiriza, naye sikyalowooza nti siri wa mugaso. Nkimanyi nti Katonda anfaako nnyo, era nnina emikwano mingi eginzizaamu amaanyi.” Rachel naye agamba nti: “Oluusi mpulira nga ndi mwennyamivu. Naye nnina ab’oluganda mu kibiina be nneebuuzaako ne bampa amagezi agannyamba okusigala nga nnina endowooza ennuŋŋamu. N’ekisinga obukulu, nnina Kitange ow’omu ggulu gwe ntegeeza buli lunaku ebinneeraliikiriza ne nfuna obuweerero.”

Bayibuli eyogera ku nsi empya ejja okubaamu emirembe egy’olubeerera

Ebitweraliikiriza byonna binaatera okuggwaawo. Bayibuli eyogera ku nsi empya ejja okubaamu emirembe egy’olubeerera. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe, era tewalibaawo n’omu abatiisa.” (Mikka 4:4) Mu kiseera ekyo tewali n’omu ajja kututuusaako kabi. N’ebintu ebibi ennyo ebyatutuukako “tebirijjukirwa.” (Isaaya 65:17, 25) Katonda n’Omwana we Yesu Kristo, bajja kuleeta “obutuukirivu obwa nnamaddala.” Era ekyo kijja kuvaamu “obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.”​—Isaaya 32:17.

a Amannya gonna gakyusiddwa.

b Abo abaagala okufuuka mikwano gya Katonda, Abajulirwa ba Yakuwa babayigiriza Bayibuli ku bwereere.

Embeera Abamu Ze Bayiseemu

“Taata bwe yakomangawo awaka ng’atamidde, yabanga mukambwe nnyo era yamboggoleranga. Yabanga ng’ensolo enkambwe eyigga. Ate nze nnabanga ng’akaliga akatidde ennyo era nneekwekanga. Nnabeeranga mu kutya kumpi buli lunaku.”​—Caroline ng’ayogera ku mbeera gye yakuliramu.

“Nnali mpulira nga sirina muntu yenna gwe nnyinza kwesiga. Nnawulira ng’omuntu abulidde ku lusozi oluwanvu nga ndaajana nfune obuyambi naye nga tewali muntu yenna ampulira, wadde okujja okunnyamba.”​—Eva, eyagattululwa n’omwami we.

“Taata yaŋŋambanga nti, ‘Oli mubi nnyo, teri n’omu alikwagala!’ Okumala emyaka mingi ngezezzaako okukakasa omutima gwange nti siri muntu mubi era nti abantu abalala banjagala. Nnabanga mwennyamivu era nga njagala omuntu ambudaabuda naye nga tewali n’omu.”​—Mark.

“Ebiseera ebimu bwe ntunuulira omukazi alabika obulungi, mmugeraageranya ku kimuli ekirungi omuntu yenna ky’ayagala okuteeka mu nnyumba ye. Naye nze nninga omuddo ogw’omu nsiko ogutasikiriza muntu yenna.”​—Omuwala ayitibwa María.

“Nga nnina emyaka 12, bazadde bange baagenda okukolera mu nsi endala ne bandeka awaka okulabirira bato bange babiri. Nnawuliranga ekiwuubaalo kya maanyi. Nnayagalanga omuntu okundabirira n’okunneebaza olw’ebyo bye nnali nkola. Naye nnawuliranga ng’omuntu abulidde mu kibira ekinene. Wadde nga nneeyongera okulabirira bato bange, nnali njagala okuva mu mbeera eno nange mbeereko omusanyufu.”​—Rachel.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share