AMAGEZI AG’EDDA AGAKYAKOLA NE LEERO
Teweeraliikiriranga
BAYIBULI KY’EGAMBA: “Mulekere awo okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwammwe.”—Matayo 6:25.
Kitegeeza ki? Yesu ye yayogera ebigambo ebyo waggulu ng’ayigiriza abantu. Okusinziira ku kitabo ekimu ekinnyonnyola ebigambo ebiri mu Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okweraliikirira’ kizingiramu “okweraliikirira eby’enfuna, eky’okulya, n’ebizibu ebirala abantu bye batera okufuna mu bulamu.” Ate era abantu batera okweraliikirira ebintu ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Si kikyamu okulowooza ku byetaago byaffe n’eby’ab’omu maka gaffe. (Abafiripi 2:20) Naye Yesu bwe yagamba nti “temweraliikiriranga,” yali atuyigiriza okwewala okweraliikirira eby’enkya ne kitumalako essanyu lye tulina leero.—Matayo 6:31, 34.
Amagezi ago gakyakola? Amagezi ago gakyakolera ddala. Lwaki tugamba bwe tutyo? Okunoonyereza okumu kulaga nti abantu abamu abeeraliikirira ennyo bafuna “endwadde z’omutima, alusa, asima, n’endwadde endala.”
Yesu yalaga nti tekigasa kweraliikirira. Yagamba nti: “Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongerako wadde akatono ku kiseera ky’obulamu bwe?” (Matayo 6:27) Ne bwe tweraliikirira ennyo, tetuyinza kwongera ku kiseera kya bulamu bwaffe wadde eddakiika emu bw’eti, era okweraliikirira tekusobola kumalawo bizibu bye tulina. Ng’oggyeeko ekyo, bye tweraliikirira biyinza n’obutabeerawo. Kakensa omu yagamba nti: “Okweraliikirira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso kuba kumala biseera, ate bye tweraliikirira biyinza n’obutabeerawo nga bwe tulowooza.”
Biki ebisobola okukuyamba okwewala okweraliikirira? Okusookera ddala, weesige Katonda. Bwe kiba nti Katonda awa ebinyonyi emmere era n’alabirira ebimuli ne birabika bulungi, kati olwo abantu abamusinza taabawe bye beetaaga mu bulamu? (Matayo 6:25, 26, 28-30) Eky’okubiri, lowooza ku bya leero. Yesu yagamba nti: “Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. Buli lunaku luba n’emitawaana egirumala.”—Matayo 6:34.
Bwe tukolera ku magezi ga Yesu ago, tujja kwewala ebizibu ebiva mu kweraliikirira. N’ekisinga obukulu, tujja kufuna “emirembe gya Katonda.”—Abafiripi 4:6, 7.