BIKI BYE TUYIGA MU BAYIBULI?
Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
ABANTU ABAMU BAKKIRIZA nti omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu, ate abalala bagamba nti omuntu bw’afa ebibye biba bikomye. Ggwe olowooza otya?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Omuntu bw’afa, aba takyaliwo.
EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI
Adamu, omuntu eyasooka bwe yafa, yadda mu nfuufu. (Olubereberye 2:7; 3:19) N’abantu abalala bonna abafa badda mu nfuufu.—Omubuulizi 3:19, 20.
Omuntu afudde aba takyavunaanibwa kibi. (Abaruumi 6:7) N’olwekyo omuntu bw’afa, aba tabonerezebwa olw’ebibi bye yakola.
Abantu abaafa baliddamu okuba abalamu?
WANDIZZEEMU OTYA?
Yee
Nedda
Oboolyawo
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Wajja kubaawo okuzuukira.”—Ebikolwa 24:15.
BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?
Emirundi egimu Bayibuli egeraageranya okufa ku kwebaka. (Yokaana 11:11-14) Katonda asobola okuzuukusa abafu, nga bw’osobola okuzuukusa omuntu eyeebase.—Yobu 14:13-15.
Tuli bakakafu nti abafu bajja kuzuukira kubanga Bayibuli eyogera ku bantu abawerako abaazuukizibwa.—1 Bassekabaka 17:17-24; Lukka 7:11-17; Yokaana 11:39-44.