EBYAFAAYO
Abaali Ababiikira Baafuuka Baweereza ba Yakuwa
MUGANDA wange omuto Araceli yamboggolera n’aŋŋamba nti: “Lekera awo okwogera nange. Saagala kuwulira kintu kirala kyonna kikwata ku ddiini yo. Nneesonyiwa. Sikyakwagala!” Wadde nga kati ndi wa myaka 91, nkyajjukira obulumi bwe nnawulira nga muganda wange aŋŋambye ebigambo ebyo. Naye nga Omubuulizi 7:8 bwe wagamba, “enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,” era ekyo kyennyini kye kyatutuukako.—Felisa.
Felisa: Amaka mwe nnakulira gaali gettanira nnyo eby’eddiini. Mu butuufu, ab’eŋŋanda zange 13 baali bakulu mu kkereziya oba nga balina ebifo eby’amaanyi mu ddiini y’Ekikatoliki. Ppaapa Yowaana Pawulo II yalangirira ne kojja wange omu eyali faaza eyasomesanga mu ssomero ly’Abakatoliki nti mutuukirivu. Taata wange yali muweesi, ate nga maama wange mulimi. Mu baana bonna omunaana be baazaala, nze nnali nsinga obukulu.
Bwe nnali wa myaka 12, olutalo lwabalukawo mu Sipeyini. Oluvannyuma lw’olutalo olwo, taata yasibibwa mu kkomera olw’okuba gavumenti yali tekkiriziganya na ndowooza ze ez’eby’obufuzi. Maama tekyamwanguyira kutulabirira era bw’atyo yasalawo okukolera ku magezi mukwano gwe ge yamuwa, n’atwala baganda bange abato abasatu, Araceli, Lauri, ne Ramoni, mu kigo ky’e Bilbao, Sipeyini. Eyo baganda bange abo bandibadde basobola okufuna eky’okulya.
Araceli: Mu kiseera ekyo, twalina emyaka 14, 12, 10, era tekyatwanguyira butabeera wamu na ba mu maka gaffe. Mu kigo ky’e Bilbao twakolanga gwa kulongoosa. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, ababiikira baatutwala mu kigo ekirala ekyali ekineneko awaali walabirirwa bannamukadde mu Zaragoza. Twaweebwa omulimu ogw’okulongoosanga effumbiro, era omulimu ogwo tegwali mwangu gye tuli.
Felisa: Baganda bange bwe baatwalibwa mu kigo ky’e Zaragoza, maama ne kojja eyali faaza, baayagala nange ŋŋende mbeere mu kigo ekyo. Baalowooza nti okubeera mu kigo ekyo kyandinnyambye obutakwanibwa mulenzi eyali abeera okumpi n’ewaffe eyali atandise okunneegwanyiza. Okuva bwe kiri nti nnali nnettanira nnyo eby’eddiini, nnasanyukira eky’okugenda okubeera mu kigo okumala ekiseera nga maama ne kojja bwe baali bagambye. Saayosanga Misa, era nnalowooza ne ku ky’okufuuka omuminsani nga kizibwe wange eyali aweerereza mu nsi emu ey’omu Afirika.
Ekigo ky’e Zaragoza, Sipeyini (ku kkono) enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Nácar-Colunga (ku ddyo)
Ababiikira tebalina kye baakolawo kunnyamba kutuuka ku kiruubirirwa kye nnalina eky’okugenda okuweereza Katonda mu nsi endala, era nnali mpulira nti okubeera mu kigo nnali ng’ali mu kkomera. N’olwekyo, oluvannyuma lw’omwaka gumu, nnasalawo okuddayo eka ndabirire kojja wange, eyali akulira ekkereziya y’omu kitundu. Ng’oggyeeko okukola emirimu gy’awaka, nnasomeranga wamu naye ssapuli buli kawungeezi. Era nnayagalanga nnyo okutimba ebimuli mu kkereziya n’okwambazanga ekibumbe kya Maliyamu “n’eby’abatuukirivu.”
Araceli: Obulamu bwaffe mu kigo bwakyuka. Bwe nnamala okukuba ebirayiro byange ebyasooka, ababiikira baasalawo okutwawula ffe abawala abasatu. Ramoni yasigala mu kigo ky’e Zaragoza, Lauri ne bamutwala mu kigo ky’e Valencia, ate nze ne bantwala mu kigo ky’e Madrid, gye nnakubira ebirayiro omulundi ogw’okubiri. Mu kigo ky’e Madrid mwasulangamu abayizi, bannamukadde, n’abagenyi abatali bamu, bwe kityo waaliyo emirimu mingi nnyo. Nnakolanga gye baalabiririranga bannamukadde.
Nnali ndowooza nti okubeera omubiikira kyandinnyambye okusemberera Katonda. Nnali nneesunze okusoma Bayibuli era ngitegeere. Naye mu kigo, tewali n’omu yali ayogera ku Katonda oba ku Yesu, era tetwakozesanga Bayibuli. Nnayigayo Olulattini olutonotono era twasomanga ebikwata ku bulamu “bw’abatuukirivu,” ne tusinzanga ne Maliyamu. Ng’oggyeeko ebyo, twasiibanga tukola mirimu egy’amaanyi.
Essanyu lyanzigwako era ne ntandika okweraliikirira. Nnawulira nga nneetaaga okukola nfune ssente okulabirira ab’eŋŋanda zange mu kifo ky’okukola mu kigo okugaggawaza obugaggawaza abalala. Bwe kityo, nnasalawo okwogerako n’oyo eyali akulira ababiikira mu kigo ekyo ne mmugamba nti nnali njagala kugenda. Naye yasalawo okunsibira mu kasenge akamu ng’alowooza nti ekyo kyandindeetedde okukyusa endowooza yange.
Enfunda ssatu ababiikira bansumulula okuva mu kasenge ako nga baagala okulaba obanga nnali nkyusizza endowooza yange. Naye bwe baakiraba nti nnali mmaliridde okugenda, baŋŋamba mpandiike ebigambo bino, “Ŋŋenda, kubanga njagala kuweereza Sitaani mu kifo ky’okuweereza Katonda.” Ekyo kyantiisa nnyo, era wadde nga nnali njagala nnyo okuva mu kigo, nnali sisobola kuwandiika bigambo ebyo. Bwe kityo, nnasaba ne baleete faaza ne nneenenya, era ne mmubuulira ebyali bibaddewo. Yakola enteekateeka ne banzizaayo mu kigo ky’e Zaragoza gye nnali mu kusooka. Waayita emyezi mitono nga ndi mu kigo ekyo ne banzikiriza okugenda. Era waayita ekiseera kitono Lauri ne Ramoni nabo ne bava mu kigo.
AKATABO FAAZA KE YATUGAANA KATWAWULA
Felisa
Felisa: Ekiseera kyatuuka ne nfumbirwa ne ŋŋenda okubeera mu kibuga Cantabria. Nneeyongera okugendanga mu Misa, era lumu ku Ssande faaza yayogera ekintu ekyanneewuunyisa. Mu busungu obungi yagamba nti, “Mulaba akatabo kano!” Yali ayogera ku katabo The Truth That Leads to Eternal Life. Yagattako nti, “Bwe kiba nti waliwo eyakuwa akatabo kano, kampe mu bwangu oba kasuule!”
Nnali sirina katabo ako, naye bwe nnawulira ebigambo ebyo, nnayagala okukafuna amangu ddala. Waayita ennaku ntono abakyala babiri Abajulirwa ba Yakuwa ne bajja ewaffe ne bampa akatabo ako ke baali baatugaana. Akatabo ako nnakasomerawo ku olwo era abakyala abo bwe baakomawo, nnakkiriza okutandika okuyiga nabo Bayibuli.
Akatabo faaza ke yatugaana
Nnali njagala nnyo okusanyusa Katonda. Bwe nnatandika okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa, nnamwagala nnyo era nnayagala nnyo okubuulira abalala ebimukwatako. Nnabatizibwa mu 1973. Nnafuba okukozesa buli kakisa ke nnafunanga okubuulirako ab’eŋŋanda zange ebikwata ku Yakuwa. Naye nga bwe nnakiraze ku ntandikwa, tebaasanyuka era banjigganya. Muganda wange Araceli ye yasinga okunkyawa.
Araceli: Embeera embi gye nnayitamu nga ndi mu kigo yandeetera okukyawa eddiini yange. Naye, nneeyongera okugendanga mu Misa ku Ssande n’okusoma ssapuli. Nnali njagala nnyo okuyiga ebiri mu Bayibuli, era nnasaba Katonda annyambe. Naye muganda wange Felisa bwe yambuulira ebikwata ku nzikiriza ye empya, yayogera nange nga mukyamufu nnyo ne ndowooza nti baali bamuzanyidde ku bwongo. Nnagaana okukkiriza bye yaŋŋamba.
Araceli
Nga wayise emyaka mitono, nnaddayo mu Madrid ne nfuna omulimu era ne nfumbirwa. Ekiseera kyatuuka ne ntandika okwekengera amadiini. Nnakiraba nti abantu abaali batayosa kugenda mu Misa tebaakoleranga ku ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri. Bwe kityo, nnalekera awo okugenda mu kkereziya. Nnalekera awo n’okukkiririza mu “batuukirivu,” mu kwenenyeza faaza, ne mu muliro ogutazikira. Era nneggyako ebifaananyi byonna ebisinzibwa bye nnalina. Nnali simanyi nti ekyo kye nnali nkola kyali kituufu. Nnawulira nga mpeddemu amaanyi, naye nneeyongera okusaba Katonda nga mugamba nti: “Njagala kukumanya. Nnyamba nkumanye!” Abajulirwa ba Yakuwa baateranga okujja ewange naye nga sibaggulira. Nnali sirina ddiini yonna gye nneesiga.
Ku ntandikwa y’emyaka gya 1980, muganda wange Lauri eyali abeera mu Bufalansa ne Ramoni eyali abeera mu Sipeyini baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnalowooza nti nabo baali babuzaabuziddwa nga Felisa. Oluvannyuma, waliwo muliraanwa wange eyali ayitibwa Angelines, eyafuuka mukwano gwange. Naye yali Mujulirwa wa Yakuwa. Enfunda eziwerako, Angelines n’omwami we bansaba ntandike okuyiga nabo Bayibuli. Baakiraba nti wadde nga nnali nneekengera amadiini nnali njagala nnyo okuyiga ebiri mu Bayibuli. Ekiseera kyatuuka ne nzikiriza okuyiga nabo Bayibuli naye ne mbagamba nti nja kukozesa enkyusa ya Bayibuli gye nnalina eyitibwa Nácar-Colunga.
KYADDAAKI BAYIBULI ETUGATTA
Felisa: Mu kiseera we nnabatirizibwa, mu 1973, ekibuga Santander, nga kino kye kibuga ekikulu eky’essaza ly’e Cantabria, Sipeyini, kyalimu Abajulirwa ba Yakuwa nga 70. Twalina ekitundu kinene eky’okubuuliramu, bwe kityo twakozesanga bbaasi n’oluvannyuma emmotoka okutuuka mu bitundu ebitali bimu eby’essaza eryo. Twabuulira n’obunyiikivu okutuusa lwe twabunyisa amawulire amalungi mu byalo byonna ebyali mu kitundu ekyo.
Emyaka bwe gizze giyitawo, njigirizza abantu abawerako Bayibuli era 11 ku bo ne batuuka n’okubatizibwa. Abasinga obungi ku bo baali Bakatoliki. Olw’okuba nange bwe nnali sinnafuuka Mujulirwa wa Yakuwa enjigiriza z’Ekikatoliki zaali zannyingira nnyo, nnakimanya nti nnalina okugumiikiriza abo be njigiriza n’okutegeera embeera yaabwe. Nnali nkimanyi nti abantu abo baali beetaaga ekiseera okusobola okweggyamu enjigiriza enkyamu era nti mpolampola Bayibuli n’omwoyo gwa Yakuwa byandigenze bibayamba okutegeera amazima. (Beb. 4:12) Omwami wange, Bienvenido, edda eyali omupoliisi, yabatizibwa mu 1979, ate ye maama wange we yafiira yali atandise okuyiga Bayibuli.
Araceli: Bwe nnali nnaakatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnasooka kubeekengera. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, endowooza yange yakyuka. Ekintu ekyasinga okunkwatako kwe kuba nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bakolera ku bye bayigiriza. Okukkiriza kwange kweyongera okunywera era ne nfuna essanyu. N’abamu ku baliraanwa bange baŋŋamba nti, “Araceli, weeyongere okutambulira mu kkubo ly’okutte!”
Nzijukira lumu nnasaba Yakuwa nti, “Ai Yakuwa, weebale okuŋŋumiikiriza n’okunsobozesa okutegeera amazima agali mu Bayibuli ge mmaze ebbanga nga nnoonya.” Nnasaba ne muganda wange Felisa ansonyiwe olw’ebigambo ebitali birungi bye nnamugamba. Kati mu kifo ky’okukaayana, twatandika okunyumya ku bintu ebiri mu Bayibuli. Nnabatizibwa mu 1989 nga nnina emyaka 61.
Felisa: Kati nnina emyaka 91, era ndi nnamwandu. Sikyalina maanyi nga ge nnalina edda. Naye nsoma Bayibuli buli lunaku, ŋŋenda mu nkuŋŋaana ng’embeera y’obulamu bwange ensobozesezza, era nkola kyonna kye nsobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.
Araceli: Oboolyawo olw’okuba nnaliko omubiikira, njagala nnyo okubuulira bafaaza n’ababiikira be nsanga nga mbuulira. Bangi ku bo mbagabidde ebitabo byaffe era ne tukubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okukyalira faaza omu enfunda eziwerako, yaŋŋamba nti: “Araceli, nzikiriza nti by’oŋŋamba bituufu, naye ku myaka gyange gino mba ndaga wa? Abo be mbeera nabo ku kigo n’ab’eŋŋanda zange banaagamba ki?” Nnamuddamu nti: “Olowooza ye Katonda anaagamba ki?” Nga munakuwavu yanyeenya omutwe, naye mu kiseera ekyo teyali mumalirivu kimala kweyongera kunoonya mazima.
Olunaku olumu lwe siyinza kwerabira lwelwo omwami wange lwe yaŋŋamba nti yali ayagala kugenda nange mu nkuŋŋaana. Wadde nga mu kiseera ekyo yali asussa mu myaka 80, okuva olwo talina lukuŋŋaana lwe yayosa. Yatandika okuyiga Bayibuli n’afuuka omubuulizi atali mubatize. Kindeetera essanyu lingi buli lwe nzijukira ebiseera ebyo nga tugendera wamu okubuulira. Yafa ng’ebula emyezi ebiri olukuŋŋaana olunene kwe yali agenda okubatirizibwa lutuuke.
Felisa: Ekimu ku bintu ebisinze okundeetera essanyu kwe kulaba nti baganda bange abato abasatu, mu kusooka abaanjigganya, baafuuka baweereza ba Yakuwa. Nga kituleetedde essanyu lingi okubeerangako awamu ne twogera ku Yakuwa Katonda waffe gwe twagala ennyo ne ku Kigambo kye! Kati nze ne baganda bange tuweerereza wamu Yakuwa.a
a Araceli ow’emyaka 87, Felisa ow’emyaka 91, ne Ramoni ow’emyaka 83, bakyaweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Lauri yafa mu 1990, nga mwesigwa eri Yakuwa.