LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w16 Agusito lup. 20-24
  • Okiraba nti Weetaaga Okwongera Okukulaakulana mu by’Omwoyo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okiraba nti Weetaaga Okwongera Okukulaakulana mu by’Omwoyo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KITEGEEZA KI OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO?
  • FUBA OKWONGERA OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO
  • TOKOOWA
  • KULAAKULANA MU NGERI GY’OBUULIRAMU
  • TENDEREZA YAKUWA NG’OKULAAKULANA MU BY’OMWOYO
  • Abavubuka—Mweyongere Okukulaakulana mu by’Omwoyo Oluvannyuma lw’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Engeri y’Okweteerawo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo n’Okubituukako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Weeyongere Okukulaakulana
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Olaba Obwetaavu bw’Okutendeka Abalala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
w16 Agusito lup. 20-24
Bannyinaffe basatu nga bakozesa essimu okubuulira, era ng’omukazi awuliriza amawulire g’Obwakabaka

Okiraba nti Weetaaga Okwongera Okukulaakulana mu by’Omwoyo?

“Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, okubuuliriranga, n’okuyigirizanga.”​—1 TIM. 4:​13.

ENNYIMBA: 45, 70

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kiki ky’oyinza okukola okusobola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo?

  • Oyinza otya okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo awatali kukoowa?

  • Nkyukakyuka ki z’oyinza okukola eziyinza okukuyamba okukola obulungi omulimu gw’okubuulira?

1, 2. (a) Obunnabbi obuli mu Isaaya 60:22 butuukiridde butya leero? (b) Bwetaavu ki obuliwo mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa?

BAYIBULI yagamba nti: “Omutono alifuuka lukumi era oyo anyoomebwa alifuuka ggwanga ery’amaanyi.” (Is. 60:22) Obunnabbi obwo butuukiriziddwa mu kiseera kino eky’enkomerero. Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2015 ababuulizi b’Obwakabaka mu nsi yonna baali 8,220,105! Ebigambo ebisembayo mu Isaaya 60:22 byandikubirizza buli Mukristaayo kinnoomu okubaako ky’akolawo. Bigamba nti: “Nze Yakuwa, ndikyanguyaako mu kiseera kyakyo.” Okufaananako abasaabaze abali mu mmotoka eyeeyongera sipiidi, naffe leero tulaba omulimu gw’okubuulira nga gweyongerayongera buli lukya. Ekyo kikukutteko kitya? Okola kyonna ekisoboka okubuulira n’obunyiikivu? Ab’oluganda ne bannyinaffe bangi beewaddeyo okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba abawagizi. Era ab’oluganda ne bannyinaffe bangi bagenze okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako oba beenyigidde mu mirimu emirala egy’Obwakabaka.

2 Okugatta ku ekyo, obwetaavu bw’ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina bweyongera buli lukya. Buli mwaka ebibiina ebipya nga 2,000 bitandikibwawo. Bwe kiba nti mu buli kibiina mwakubaamu abakadde 5, abaweereza 10,000 be baba beetaaga okufuuka abakadde buli mwaka. Ekyo era kiba kitegeeza nti ab’oluganda bangi beetaaga okutuukiriza ebisaanyizo okusobola okufuuka abaweereza mu kibiina. Ate era ffenna mu kibiina, ka tube basajja oba bakazi, tulina “eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.”​—1 Kol. 15:58.

KITEGEEZA KI OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO?

3, 4. Kiki ekyetaagisa okusobola okukulaakulana mu by’omyoyo?

3 Soma 1 Timoseewo 3:1. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okuluubirira’ kitegeeza okukunukkiriza n’okwata ekintu ekiri awantu w’ototuuka bulungi. Mu kukozesa ekigambo ekyo, omutume Pawulo yakiraga nti okukulaakulana mu by’omwoyo kyetaagisa okufuba. Lowooza ku w’oluganda alowooza ku ngeri gy’ayagala okuweereza mu kibiina mu biseera eby’omu maaso. Mu kiseera kino ayinza okuba nga si muweereza mu kibiina naye akiraba nti yeetaaga okubaako ebisaanyizo by’atuukiriza. Okusookera ddala, afuba okutuukiriza ebisaanyizo okufuuka omuweereza mu kibiina. Oluvannyuma lw’ekiseera, aba asuubira okutuukiriza ebisaanyizo okuweereza ng’omukadde mu kibiina. Mu mbeera ezo zombi, kiba kimwetaagisa okufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okusobola okuweebwa obuvunaanyizibwa obusingako mu kibiina.

4 Mu ngeri y’emu, ab’oluganda ne bannyinaffe abaagala okuweereza nga bapayoniya, okuweereza ku Beseri, oba okukola omulimu gw’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka nabo balina okufuba okutuuka ku biruubirirwa ebyo. Kati ka tulabe engeri Ekigambo kya Katonda gye kitukubiriza ffenna okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo.

FUBA OKWONGERA OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO

5. Abavubuka bayinza batya okukozesa amaanyi gaabwe okuweereza Yakuwa?

5 Olw’okuba abavubuka baba n’amaanyi mangi balina bingi bye basobola okukola mu kibiina kya Yakuwa. (Soma Engero 20:29.) Ng’ekyokulabirako, abavubuka bangi abaweereza ku Beseri bayamba mu mulimu gw’okukuba Bayibuli n’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Ate era abavubuka bangi bayamba mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Akatyabaga bwe kagwawo, abavubuka bangi bakolera wamu n’ab’oluganda abalina obumanyirivu okudduukirira abo ababa bakoseddwa akatyabaga. Ate abavubuka bangi abaweereza nga bapayoniya bayamba mu kutuusa amawulire amalungi ne ku bantu aboogera ennimi endala.

6-8. (a) Omuvubuka omu yakyusa atya endowooza gye yalina ku kuweereza Yakuwa, era biki ebyavaamu? (b) Tuyinza tutya ‘okulegako tulabe nti Yakuwa mulungi’?

6 Oyinza okuba ng’okimanyi nti kikulu okuweereza Katonda n’omutima gwo gwonna. Naye watya singa owulira ng’ow’oluganda ayitibwa Aaron bwe yali awulira? Wadde nga yakulira mu maka Amakristaayo, yagamba nti, “Enkuŋŋaana awamu n’omulimu gw’okubuulira byali tebinnyumira.” Yali ayagala okuweereza Katonda nga musanyufu naye nga tategeera nsonga lwaki teyali musanyufu. Kiki kye yakola?

7 Aaron yeeteerawo enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, nga muno mwe mwali okusoma Bayibuli, okutegeka enkuŋŋaana, n’okuzeenyigiramu. Yatandika n’okusaba buli lunaku. Aaron yeeyongera okwagala Yakuwa era n’akulaakulana. Yaweerezaako nga payoniya, yayambako mu mulimu gw’okudduukirira abo abagwiriddwako obutyabaga, era yagendako n’okubuulira mu nsi endala. Kati Aaron aweereza ku Beseri era mukadde mu kibiina. Aaron awulira atya bw’alowooza ku ngeri gy’akozesezzaamu obulamu bwe? Agamba nti: “ ‘Ndezeeko ne nkiraba nti Yakuwa mulungi.’ Yakuwa ampadde emikisa mingi, era ekyo kinkubirizza okwongera okumuweereza.”

8 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.” (Soma Zabbuli 34:​8-​10.) Mu butuufu, abo bonna abaweereza Yakuwa n’obunyiikivu tebasobola kwejjusa. Bwe tufuba okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, ‘tulegako ne tulaba nti Yakuwa mulungi.’ Bwe tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, tufuna essanyu eritagambika.

TOKOOWA

9, 10. Lwaki kikulu okuba omugumiikiriza?

9 Bwe tuba tulina ekiruubirirwa kye tukolerera okutuukako, tulina okuba ‘abagumiikiriza.’ (Mi. 7:7) Yakuwa bulijjo ayamba abaweereza be, wadde ng’oluusi aleka ekiseera ekiwerako okuyitawo embeera gye balimu okukyuka oba okufuna enkizo gye babadde baluubirira. Yakuwa yasuubiza Ibulayimu omwana naye Ibulayimu yalina okwoleka okukkiriza n’okuba omugumiikiriza. (Beb. 6:​12-​15) Wadde nga yalina okulinda okumala emyaka egiwerako nga Isaaka tannazaalibwa, Ibulayimu teyaggwaamu maanyi era Yakuwa yamuwa ekyo kye yali amusuubizza.​—Lub. 15:​3, 4; 21:5.

10 Oluusi tekiba kyangu kulindirira. (Nge. 13:12) Bwe tumalira ebirowoozo ku bintu ebitatambudde nga bwe twali tusuubira, kiyinza okutumalamu amaanyi. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okweyongera okufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa okusobola okufuna enkizo gye tuluubirira. Laba engeri ssatu ekyo gye tuyinza okukikolamu.

11. Ngeri ki ze tusaanidde okufuba okukulaakulanya era lwaki kikulu okuzikulaakulanya?

11 Kulaakulanya engeri ennungi. Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma kituyamba okufuna amagezi, okutegeera, n’okumanya. Era kituyamba okulowooza obulungi n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Engeri ezo nkulu nnyo eri abo abatwala obukulembeze mu kibiina. (Nge. 1:​1-4; Tit. 1:​7-9) Bwe tufuba okusoma ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, kituyamba okumanya endowooza ya Katonda ku bintu ebitali bimu. Bulijjo tulina okusalawo ku bintu gamba ng’eby’okwesanyusaamu, eby’okwambala n’okwekolako, engeri y’okukozesaamu ssente, n’engeri y’okukolaganamu n’abalala. Bwe tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli kituyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa.

12. Abo abali mu kibiina bayinza batya okukiraga nti beesigika?

12 Ba muntu eyeesigika. Abakristaayo bonna, ka babe ba luganda oba bannyinaffe, balina okufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba bubaweereddwa mu kibiina. Nekkemiya bwe yali aweereza nga gavana, yalina okubaako abantu b’alonda okuva mu bantu ba Katonda okubawa obuvunaanyizibwa obutali bumu. Bantu ba ngeri ki be yalonda? Yalonda abantu abaali batya Katonda era nga beesigika. (Nek. 7:2; 13:​12, 13) Ne leero, “ekyetaagibwa mu bawanika kwe kubeera abeesigwa.” (1 Kol. 4:2) Bw’oba weesigika abalala bakiraba.​—Soma 1 Timoseewo 5:​25.

13. Oyinza otya okukoppa Yusufu ng’abalala bakuyisizza bubi?

13 Kkiriza Yakuwa akulongoose. Kiki ky’oyinza okukola ng’abalala bakuyisizza bubi? Oboolyawo oyinza okutereeza ensonga eyo amangu ddala. Naye ebiseera ebimu bw’ogezaako okulaga nti ggwe mutuufu, kiyinza okwongera okwonoona embeera. Baganda ba Yusufu baamuyisa bubi naye teyabasibira kiruyi. Oluvannyuma Yusufu baamuwaayiriza era ne bamusiba awatali musango. Wadde kyali kityo, mu biseera ebyo ebizibu Yusufu yeesiga Yakuwa. Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti: ‘Ekigambo kya Yakuwa kyamulongoosa.’ (Zab. 105:19) Oluvannyuma lw’okuyita mu kugezesebwa okwo, Yusufu yali asobola okukola obulungi omulimu ogw’enjawulo ogwamuweebwa. (Lub. 41:​37-​44; 45:​4-8) Naawe bw’oyolekagana n’embeera enzibu, saba Yakuwa akuwe amagezi, sigala ng’oli mukkakkamu, era asaba Yakuwa akuwe amaanyi. Yakuwa ajja kukuyamba.​—Soma 1 Peetero 5:​10.

KULAAKULANA MU NGERI GY’OBUULIRAMU

14, 15. (a) Lwaki tusaanidde ‘okussaayo omwoyo’ ku ngeri gye tubuuliramu? (b) Nkyukakyuka ki z’oyinza okukola okutuukana n’embeera z’abantu b’obuulira? (Laba ekifaananyi ku lupapula 20 n’akasanduuko, “Oli Mwetegefu Okugezaako Engeri Endala ey’Okubuulira?”)

14 Pawulo yagamba Timoseewo nti: ‘Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, okubuuliriranga, n’okuyigirizanga. Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo.’ (1 Tim. 4:​13, 16) Timoseewo yali mubuulizi alina obumanyirivu. Wadde kyali kityo, yali yeetaaga ‘okussaayo omwoyo ku kuyigiriza kwe’ kimuyambe okweyongera okukola obulungi omulimu gw’okubuulira. Yali tasaanidde kulowooza nti abantu bandyeyongedde okuwuliriza by’ababuulira ne bwe kyandibadde nti takyusakyusa mu nnyanjula ze. Okusobola okweyongera okutuuka ku mitima gy’abantu, yalina okutuukanya by’ayogera n’embeera zaabwe. Naffe ekyo kye tusaanidde okukola nga tubuulira.

15 Emirundi egimu bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba tetusanga bantu waka. Mu bitundu ebimu si kyangu kutuuka ku bantu olw’okuba amayumba gaabwe gali mu bikomera. Bwe kiba nti ekitundu mw’obuulira bwe kityo bwe kiri, lwaki togezaako okukozesa engeri endala ez’okubuulira?

16. Magezi ki agayinza okuyamba omubuulizi okubuulira mu bifo ebya lukale?

16 Emu ku ngeri ennungi ennyo gye tuyinza okubunyisaamu amawulire amalungi kwe kubuulira mu bifo ebya lukale. Abajulirwa ba Yakuwa bangi beenyigidde mu nkola eno era bafunye ebibala bingi. Babuulira abantu ku siteegi za takisi ne bbaasi, mu butale, mu bifo ebiwummulirwamu, ne mu bifo ebirala ebya lukale. Okusinziira ku mbeera eba eriwo, omubuulizi ayinza okutandika okwogera n’omuntu ng’ayogera ku bintu ebifulumidde mu mawulire, ng’abaako ebirungi by’asiima ku baana be, oba ng’amubuuza ebikwata ku mulimu gwe. Emboozi bw’egenda eranda, omubuulizi ayinza okubaako ensonga ey’omu Byawandiikibwa gy’aleeta era n’abuuza omuntu oyo ky’agirowoozaako. Emirundi mingi ebyo omuntu by’addamu bisobozesa omubuulizi okwongera okunyumya naye ebisingawo ebikwata ku Bayibuli.

17, 18. (a) Kiki ekiyinza okukuyamba okufuna obuvumu okubuulira mu bifo ebya lukale? (b) Okulowooza ku bigambo Dawudi bye yayogera ng’atendereza Yakuwa kiyinza kitya okukuyamba nga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira?

17 Bwe kiba nti tekikwanguyira kubuulira mu bifo ebya lukale, tolekulira. Eddie, aweereza nga payoniya mu New York, yali azibuwalirwa okubuulira abantu mu bifo ebya lukale. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yafuna obuvumu. Kiki ekyamuyamba? Eddie agamba nti: “Mu kusinza kwaffe okw’amaka, nze ne mukyala wange tunoonyereza ku ngeri gye tuyinza okuddamu abantu abalina endowooza ez’enjawulo. Twebuuza ne ku babuulizi abalala engeri gye bayinza okukwatamu abantu abalina endowooza ez’enjawulo.” Kati Eddie annyumirwa nnyo okubuulira mu bifo ebya lukale.

18 Bwe weeyongera okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu, okukulaakulana kwo kujja kweyoleka eri bonna. (Soma 1 Timoseewo 4:​15.) Ate era ojja kutendereza Kitaffe ali mu ggulu nga Dawudi bwe yakola bwe yagamba nti: “Nnaatenderezanga Yakuwa ekiseera kyonna; ettendo lye linaabanga ku mimwa gyange buli kaseera. Nja kwenyumiririza mu Yakuwa; abawombeefu bajja kuwulira basanyuke.” (Zab. 34:​1, 2) Era okuyitira mu mulimu gw’okubuulira gw’okola, abawombeefu bayinza okukwegattako mu kusinza okw’amazima.

TENDEREZA YAKUWA NG’OKULAAKULANA MU BY’OMWOYO

19. Lwaki omuweereza wa Yakuwa asaanide okuba omusanyufu ne bwe kiba nti ali mu mbeera enzibu?

19 Dawudi era yagamba nti: “Emirimu gyo gyonna gijja kukugulumiza, Ai Yakuwa, era abeesigwa gy’oli bajja kukutendereza. Bajja kulangirira ekitiibwa ky’obwakabaka bwo, era bajja kwogera ku buyinza bwo, Bamanyise abantu ebikolwa byo eby’amaanyi n’obulungi bw’ekitiibwa ky’obwakabaka bwo.” (Zab. 145:​10-​12) Ebigambo ebyo biraga engeri abaweereza ba Yakuwa bonna abeesigwa gye bawuliramu. Naye watya singa obulwadde oba obukadde bukulemesa okukola ekyo kye wandyagadde okukola mu mulimu gw’okubuulira? Bulijjo kijjukire nti bw’obuulira abo abakulabirira oba abakujjanjaba awamu n’abalala, obuweereza bwo obwo obutukuvu buleetera Yakuwa okutenderezebwa. Bwe kiba nti osibiddwa mu kkomera, oyinza okuba ng’ofuba okubuulira ng’embeera bwe ziba zikusobozesezza, era ekyo kisanyusa nnyo Yakuwa. (Nge. 27:11) Ate bwe kiba nti obeera mu maka omuli abantu abatali bakkiriza naye n’onywerera ku nteekateeka zo ez’eby’omwoyo, nakyo kisanyusa nnyo Yakuwa. (1 Peet. 3:​1-4) Embeera gy’olimu k’ebe nzibu etya, osobola okutendereza Yakuwa era osobola okukulaakulana mu by’omwoyo.

20, 21. Bw’oba n’eby’okukola bingi mu kibiina kya Yakuwa, oganyula otya abalala?

20 Bwe weeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa. Bw’obaako enkyukakyuka z’okola mu bulamu bwo, oboolyawo oyinza okwongera ku biseera by’omala ng’obuulira, bw’otyo n’osobola okuyamba abantu bangi okuyiga amazima. Ate era bw’okulaakulana mu by’omwoyo era n’oyoleka omwoyo ogw’okwefiiriza kisobola okuganyula ennyo bakkiriza banno. Era bw’oba n’eby’okukola bingi mu kibiina, ojja kusiimibwa era ojja kwagalibwa nnyo abo bonna abaagala Yakuwa.

21 Ka tube nga tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa oba nga twakatandika okumuweereza, ffenna tusobola okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Naye Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bayinza batya okuyamba abapya okukulaakulana mu by’omwoyo? Ekyo tujja kukiraba mu kitundu ekiddako.

OLI MWETEGEFU OKUGEZAAKO ENGERI ENDALA EY’OKUBUULIRA?

MWANNYINAFFE Venecia, ow’omu Venezuela yagamba nti: “Nnali sikirowoozangako nti lumu ndisobola okubuulira nga nkozesa essimu.” Naye lumu yakubira essimu omukyala omu gwe yali amanyi n’abaako obubaka okuva mu Bayibuli bw’amubuulira mu bufunze. Omukyala oyo yayagala nnyo okuyiga ebiri mu Bayibuli, era Venecia yatandika okumuyigiriza Bayibuli. Oluvannyuma omukyala oyo yabatizibwa. Kati Venecia agamba nti: “Okubuulira ng’okozesa essimu kuvaamu ebibala!”

Mu Liberia, omuvubuka ayitibwa Peter yateranga okutwala ebitabo byaffe ng’agenda ku ssomero. Abamu ku bayizi banne bwe baalaba tulakiti eyitibwa Abavubuka​—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe? baamusaba agibawe. Peter yakubaganya nabo ebirowoozo ku tulakiti eyo era n’ababuuza nti: “Munaakozesa mutya obulamu bwammwe?” Omu ku bayizi banne omulenzi yagamba nti: “Njagala okukozesa obulamu bwange okuweereza Katonda.” Peter yatandika okumuyigiriza Bayibuli.

Olw’okuba baali batawanyizibwa obulwadde, ow’oluganda omu ne mukyala we ababeera mu Poland baatandika okubuulira nga bakozesa amabaluwa. Omusajja omu gwe baawandiikira ebbaluwa yabawandiikira n’abagamba nti: “Mbeebaza olw’ebigambo ebizzaamu amaanyi bye mwampandiikira. Mukyala wange yafa emyaka esatu emabega ate omwaka oguwedde mutabani wange yafiira mu kabenje.” Ate omu ku bakyala gwe baawandiikira yabaddamu nga wayiseewo ebbanga ddene. Yabagamba nti: “Ebbaluwa gye mwampandiikira emyaka ebiri emabega yannyamba okuyiga amazima. Njagala kubateegeza nti kati nnabatizibwa era ndi omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share