EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABEEBAGAZI B’EMBALAASI ABANA—ENGERI GYE BAKUKWATAKO
Abeebagazi b’Embalaasi Bakukwatako Batya?
Kuba akafaananyi ng’olaba embalaasi nnya zijja zidduka era ng’omusinde gwazo gukankanya ettaka! Embalaasi esooka njeru, era kabaka ow’ekitiibwa y’agituddeko. Embalaasi emmyufu ejja emugoberera, era oyo agituddeko aggyawo emirembe ku nsi. Awo ne kuddako embalaasi ey’okusatu, enzirugavu zigizigi, era oyo agituddeko akutte minzaani mu mukono gwe, ekiraga nti waliwo ebbula ly’emmere. Oba okyali awo, n’olaba embalaasi ey’okuna, ensiiwuufu, enkovvu, era ng’oyo agituddeko ayitibwa Kufa. Atta abantu bangi nnyo, era amagombe gajja gamugoberera!—Okubikkulirwa 6:1-8.
“Nnatya nnyo lwe nnasooka okusoma ku beebagazi b’embalaasi abana. Nnalowooza nti enkomerero etuuse, era nnalowooza nti sandiwonyeewo, olw’okuba saali mwetegefu.”—Crystal.
“Nneewuunya nnyo bwe nnasoma ku beebagazi b’embalaasi abatudde ku mbalaasi eza langi ez’enjawulo. Bwe nnategeera amakulu g’okwolesebwa okwo, nnalaba nga matuufu.”—Ed.
Naawe owulira nga Crystal bwe yawulira oluvannyuma lw’okusoma ku beebagazi b’embalaasi abana? Oba owulira nga Ed bwe yawulira? K’obe ng’owulira otya, ebyo bye tusoma ku mbalaasi ezo bye bimu ku bintu ebimanyiddwa ennyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Onooganyulwa otya bw’onootegeera amakulu g’okwolesebwa okwo? Katonda agamba nti ojja kufuna essanyu erya nnamaddala bw’onoosoma ebintu ebyawandiikibwa mu kitabo ekyo n’obitegeera era n’obikolerako.—Okubikkulirwa 1:1-3.
Wadde ng’abamu batya bwe basoma ku kwolesebwa okwo, ggwe tosaanidde kutya. Mu butuufu, abantu bukadde na bukadde bakirabye nti okusoma ku kwolesebwa okwo kinywezezza okukkiriza kwabwe era ne bafuna essuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. Naawe tukukubiriza okusoma ebitundu ebiddako, osobole okuba ng’abantu abo.