Ennyanjula
OLWOOZA OTYA?
Abeebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu kitabo eky’Okubikkulirwa bamanyiddwa nnyo. Abamu beewuunya bwe basoma ku beebagazi b’embalaasi abo, ate abalala batya. Weetegereze Bayibuli ky’egamba ku bunnabbi ng’obwo:
“Alina essanyu oyo asoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno, n’abo ababiwulira.”—Okubikkulirwa 1:3.
Akatabo kano kalaga ensonga lwaki kikulu okumanya ebikwata ku beebagazi b’embalaasi abo.