Ab’oluganda balongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka mu Switzerland
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ennyanjula: Abantu abamu bwe basoma ku beebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa beewuunya, ate abalala batya.
Ekyawandiikibwa: Kub 1:3
Eky’okugaba: Akatabo kano kannyonnyola ensonga lwaki kirungi okumanya ebikwata ku beebagazi b’embalaasi abo.
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Olowooza kisoboka okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?
Ekyawandiikibwa: Is 46:10
Amazima: Katonda atubuulira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli.
AMAKA GAMMWE GASOBOLA OKUBAAMU ESSANYU (hf)
Ennyanjula: Tulaga abantu vidiyo eno ekwata ku maka. [Mulage vidiyo eyanjula brocuwa, Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu.]
By’oyinza okwogera: Bw’oba nga wandyagadde okusoma akatabo akoogeddwako mu vidiyo, nsobola okukakuwa oba nsobola okukulaga engeri gy’oyinza okukaggya ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.