Nga babuulira nnyumba ku nnyumba mu Italy
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Katonda yakiteekateeka nti abantu bafe?
Ekyawandiikibwa: Kub 21:4
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kannyonnyola Bayibuli ky’eyogera ku bulamu n’okufa.
YIGIRIZA AMAZIMA
OMUNTU AYIGIRIZIBWA ATYA BAYIBULI?
By’oyinza okwogera: Abajulirwa ba Yakuwa tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere, era tukozesa Bayibuli okuddamu ebibuuzo gamba nga: Lwaki waliwo okubonaabona kungi? Kiki ekisobozesa amaka okubaamu essanyu? Tulina vidiyo eraga engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. [Mulage vidiyo Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuuli?] Kano ke kamu ku butabo bwe tukozesa. [Mulage akamu ku butabo bwe tukozesa nga tuyigiriza abantu Bayibuli, era bwe kiba kisoboka omulage engeri gye tukikolamu.]
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.