LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w17 Febwali lup. 8-12
  • Ekinunulo—‘Kirabo Ekituukiridde’ Okuva eri Kitaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekinunulo—‘Kirabo Ekituukiridde’ Okuva eri Kitaffe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “ERINNYA LYO LITUKUZIBWE”
  • “OBWAKABAKA BWO BUJJE”
  • “BY’OYAGALA BIKOLEBWE”
  • KIRAGE NTI OSIIMA EKINUNULO
  • EKINUNULO KITUSOBOZESA OKUFUNA “EKIWUMMULO”
  • Ekinunulo—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Weeyongere Okusiima Ekinunulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Ekinunulo—Kirabo kya Katonda Ekisingayo Obulungi
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Yakuwa Akola Enteekateeka ‘y’Ekinunulo ku lw’Abangi’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
w17 Febwali lup. 8-12
Yesu ng’ayigiriza abantu

Ekinunulo​—‘Kirabo Ekituukiridde’ Okuva eri Kitaffe

‘Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde kiva eri Kitaffe.’​—YAK. 1:17.

ENNYIMBA: 148, 109

EKINUNULO KIYAMBA KITYA MU . . .

  • kutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa?

  • kusobozesa abantu okufuna emikisa gy’Obwakabaka?

  • kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda?

1. Bintu ki ebirungi bye tufuna okuyitira mu kinunulo?

WALIWO emiganyulo mingi gye tufuna mu kinunulo kya ssaddaaka ya Yesu. Ekinunulo kisobozesa abaana ba Adamu abaagala obutuukirivu okuba ab’omu maka ga Katonda. Ekinunulo era kituyamba okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Kyokka waliwo n’emiganyulo emirala egiva mu kinunulo. Olw’okuba Yesu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala okufa kiyamba mu kugonjoola ensonga enkulu ezikwata ku bitonde byonna.​—Beb. 1:8, 9.

2. (a) Nsonga ki enkulu ezikwata ku bitonde byonna Yesu ze yayogerako ng’ayigiriza abayigirizwa be okusaba? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki kye tugenda okulaba?

2 Ng’ebula emyaka ng’ebiri Yesu aweeyo ekinunulo, yayigiriza abayigirizwa be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Mat. 6:9, 10) Okusobola okutuyamba okwongera okusiima ekirabo eky’ekinunulo, tugenda kulaba engeri ekinunulo gye kiyamba mu kutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda, mu kuleeta emikisa gy’Obwakabaka, ne mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.

“ERINNYA LYO LITUKUZIBWE”

3. Erinnya lya Katonda likiikirira ki, era Sitaani yalisiiga atya enziro?

3 Mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako, Yesu yasooka kwogera ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda. Erinnya lya Katonda likiikirira ekyo ky’ali. Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi era y’asingayo okuba omutukuvu. Mu butuufu, mu ssaala emu Yesu gye yasaba, yamuyita “Kitange Omutukuvu.” (Yok. 17:11) Olw’okuba Yakuwa mutukuvu, byonna by’akola n’amateeka g’awa bitukuvu. Wadde kiri kityo, mu lusuku Edeni, Sitaani yaleetawo okubuusabuusa obanga ddala Katonda y’agwanidde okuteerawo abantu emitindo egy’okugoberera. Sitaani yayogera eby’obulimba ku Yakuwa, bw’atyo n’asiiga erinnya lya Katonda enziro.​—Lub. 3:1-5.

4. Yesu yayamba atya mu kutukuza erinnya lya Katonda?

4 Obutafaananako Sitaani, ye Yesu ayagala nnyo erinnya lya Yakuwa. (Yok. 17:25, 26) Yesu yakola kyonna ekisoboka okutukuza erinnya lya Yakuwa. (Soma Zabbuli 40:8-10.) Engeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe ng’ali ku nsi, yakiraga nti emitindo gya Yakuwa gye gisingayo obulungi era nti buli kimu ky’atugamba okukola kituganyula. Wadde nga Sitaani yabonyaabonya Yesu n’atuuka n’okufiira mu bulumi obw’amaanyi, Yesu yasigala nga mwesigwa eri Kitaawe ow’omu ggulu. Yesu okusigala nga mwesigwa eri Katonda, kyalaga nti kisoboka omuntu atuukiridde okugondera Yakuwa mu ngeri etuukiridde.

5. Tuyinza tutya okuyamba mu kutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda?

5 Tuyinza tutya okulaga nti twagala erinnya lya Yakuwa? Tukiraga okuyitira mu ngeri gye tweyisaamu. Yakuwa ayagala tubeere batukuvu. (Soma 1 Peetero 1:15, 16.) Ekyo kitegeeza nti tulina kusinza Yakuwa yekka era tulina okumugondera n’omutima gwaffe gwonna. Ne bwe tuba tuyigganyizibwa, tukola kyonna ekisoboka okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu n’amateeka ge. Bwe tukola ebikolwa ebirungi, tuleka ekitangaala kyaffe okwaka era ekyo kiweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. (Mat. 5:14-16) Mu butuufu kireetera n’abalala okukiraba nti ddala amateeka ga Yakuwa malungi era nti Sitaani mulimba. Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tusobya. Naye bwe tukola ensobi, tusaanidde okwenenya mu bwesimbu era ne tukola kyonna ekisoboka obutaddamu kukola bintu ebitaweesa Yakuwa kitiibwa.​—Zab. 79:9.

6. Lwaki Yakuwa atutwala ng’abatuukirivu, wadde nga tetutuukiridde?

6 Ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu, Yakuwa asonyiwa ebibi by’abo bonna abakkiririza mu Yesu. Era abo abeewaayo gy’ali abakkiriza okuba ab’omu maka ge. Abaafukibwako amafuta Yakuwa abatwala okuba abatuukirivu ng’abaana be, ate bo ‘ab’endiga endala’ abatwala okuba abatuukirivu nga mikwano gye. (Yok. 10:16; Bar. 5:1, 2; Yak. 2:21-25) N’olwekyo, ne mu kiseera kino, ekinunulo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu n’okuyamba mu kutukuzibwa kw’erinnya lye.

“OBWAKABAKA BWO BUJJE”

7. Miganyulo ki emirala egiva mu kinunulo?

7 Mu ssaala Mukama waffe Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako, ekintu kye yaddako okwogera kiri nti: “Obwakabaka bwo bujje.” Kakwate ki akaliwo wakati w’ekinunulo n’Obwakabaka bwa Katonda? Ekinunulo kisobozesa 144,000 okukuŋŋaanyizibwa, okufugira awamu ne Yesu nga bakabaka era nga bakabona mu ggulu. (Kub. 5:9, 10; 14:1) Yesu n’abo abanaafuga naye, bajja kumala emyaka lukumi nga bayamba abantu abawulize okuganyulwa mu kinunulo. Ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda era abantu bonna abeesigwa bajja kufuuka abatuukiridde. Kya ddaaki abaweereza ba Katonda bonna mu ggulu ne ku nsi bajja kuba baana ba Katonda. (Kub. 5:13; 20:6) Yesu ajja kuzikiriza Sitaani era amalewo ebizibu byonna Sitaani bye yaleetawo.​—Lub. 3:15.

8. (a) Yesu yayamba atya abayigirizwa be okukiraba nti Obwakabaka bwa Katonda bukulu nnyo? (b) Tuyinza tutya okukiraga nti tuwagira Obwakabaka?

8 Yesu bwe yali ku nsi, yayamba abayigirizwa be okukiraba nti Obwakabaka bwa Katonda bukulu nnyo. Amangu ddala ng’amaze okubatizibwa, Yesu yabuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda” okumpi n’ewala. (Luk. 4:43) Mu bigambo bye yasembayo okwogera n’abayigirizwa be, Yesu yabalagira okuba abajulirwa be “okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:6-8) Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira, abantu mu nsi yonna bandisobodde okumanya ebikwata ku kinunulo n’okukkiriza okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Leero, tukiraga nti tuwagira Obwakabaka nga tuyamba baganda ba Yesu abakyasigadde ku nsi okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna.​—Mat. 24:14; 25:40.

“BY’OYAGALA BIKOLEBWE”

9. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eri abantu?

9 Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “By’oyagala bikolebwe”? Yakuwa ye Mutonzi. Bw’agamba nti ekintu kijja kubaawo, kiba kijja kubaawo. (Is. 55:11) Yakuwa tajja kukkiriza bujeemu bwa Sitaani kulemesa kigendererwa kye eri abantu kutuukirira. Yakuwa yali ayagala ensi ejjule abaana ba Adamu ne Kaawa abatuukiridde. (Lub. 1:28) Singa Adamu ne Kaawa baafa nga tebazadde mwana n’omu, ekigendererwa kya Katonda eky’ensi okujjula abaana baabwe tekyandituukiridde. Eyo ye nsonga lwaki, wadde nga Adamu ne Kaawa baali boonoonye, Yakuwa yabakkiriza okuzaala abaana. Okuyitira mu kinunulo, Katonda ajja kusobozesa abo bonna abakkiririza mu Yesu okufuuka abatuukiridde, babeerewo emirembe gyonna. Yakuwa ayagala nnyo abantu era ayagala babeere n’obulamu obulungi bwe yali abaagaliza.

10. Ekinunulo kiganyula kitya abo abaafa?

10 Ate enkumi n’enkumi z’abantu abaafa nga tebafunye kakisa kuyiga bikwata ku Yakuwa basobole okumuweereza? Okuyitira mu kinunulo obukadde n’obukadde bw’abantu bajja kuzuukira. Kitaffe ow’omu ggulu ajja kubazuukiza abawe akakisa okuyiga ebikwata ku kigendererwa kye n’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Bik. 24:15) Yakuwa tayagala bantu bafe, wabula ayagala babe balamu. Yakuwa ye nsibuko y’obulamu era bw’anaazuukiza abo abaafa, ajja kuba Kitaabwe. (Zab. 36:9) Mu butuufu kituukirawo okuba nti Yesu yatugamba okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu.” (Mat. 6:9) Yakuwa ajja kukozesa Yesu okuzuukiza abaafa. (Yok. 6:40, 44) Mu nsi empya Yesu ajja kukiraga bulungi nti ye “kuzuukira n’obulamu.”​—Yok. 11:25.

11. Kiki Yakuwa ky’ayagaliza ‘ab’ekibiina ekinene’?

11 Yakuwa ayagala abantu bonna babeere ba mu maka ge. Yesu yagamba nti: “Buli akola Katonda by’ayagala, ye muganda wange, mwannyinaze era maama wange.” (Mak. 3:35) Yakuwa yalaga nti abantu bangi okuva mu buli ggwanga n’ebika n’ennimi bandifuuse baweereza be. Abantu abo baayogerwako ‘ng’ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala.’ Bakkiririza mu kinunulo era bagondera Katonda. Bamutendereza nga bagamba nti: “Obulokozi bwaffe buva eri Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’eri Omwana gw’Endiga.”​—Kub. 7:9, 10.

12. Bintu ki ebikwata ku kigendererwa kya Yakuwa eri abantu bye tuyigira mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako?

12 Ebyo ebiri mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako nabyo biraga ekigendererwa kya Yakuwa eri abantu abawulize. Nga bwe kiragibwa mu ssaala eyo, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okutukuza erinnya lya Yakuwa. (Is. 8:13) Erinnya Yesu litegeeza nti “Yakuwa Bwe Bulokozi.” N’olwekyo, okuba nti tujja kulokolebwa okuyitira mu kinunulo, kiweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. Okuyitira mu Bwakabaka bwe, Katonda ajja kusobozesa abantu okuganyulwa mu bujjuvu mu kinunulo. Mu butuufu, essaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako etukakasa nti tewali kisobola kulemesa Katonda by’ayagala kutuukirira.​—Zab. 135:6; Is. 46:9, 10.

KIRAGE NTI OSIIMA EKINUNULO

13. Bwe tubatizibwa kiba kiraga ki?

13 Engeri emu gye tulagamu nti tusiima ekirabo eky’ekinunulo kwe kwewaayo eri Yakuwa, era ne tubatizibwa. Bwe tubatizibwa kiba kiraga nti “tuli ba Yakuwa.” (Bar. 14:8) Tuba tusaba Yakuwa atuwe omuntu ow’omunda omulungi. (1 Peet. 3:21) Bwe kityo, ng’asinziira ku musaayi gwa Yesu, Yakuwa atukakasa nti tuli mikwano gye, era tuba bakakafu nti ajja kutuwa byonna bye yasuubiza.​—Bar. 8:32.

Omusajja ng’abatizibwa era nga yeenyigira mu mulimu gw’okubuulira

Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo eky’ekinunulo? (Laba akatundu 13, 14)

14. Lwaki Yakuwa atulagira okwagala bantu bannaffe?

14 Kiki ekirala kye tusaanidde okukola okulaga nti tusiima ekirabo eky’ekinunulo? Okuva bwe kiri nti okwagala kweyolekera mu bintu byonna Yakuwa by’akola, Yakuwa ayagala abaweereza be bonna booleke okwagala. (1 Yok. 4:8-11) Bwe twagala bantu bannaffe, tuba tukiraga nti twagala okuba “abaana ba [Kitaffe] ali mu ggulu.” (Mat. 5:43-48) Ekiragiro eky’okwagala bantu bannaffe kye kiddirira ekiragiro eky’okwagala Yakuwa obukulu. (Mat. 22:37-40) Engeri emu gye tulagamu nti twagala bantu bannaffe kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Bwe tulaga bantu bannaffe okwagala, tuweesa Katonda ekitiibwa. Mu butuufu, okwagala kwe tulina eri Katonda “kutuukirira” bwe tugondera ekiragiro eky’okwagala bantu bannaffe, naddala bakkiriza bannaffe.​—1 Yok. 4:12, 20.

EKINUNULO KITUSOBOZESA OKUFUNA “EKIWUMMULO”

15. (a) Mikisa ki Yakuwa gy’atuwa leero? (b) Mikisa ki gye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso?

15 Bwe tukkiririza mu kinunulo, ebibi byaffe ‘bisangulibwa.’ Yakuwa atusonyiyira ddala. (Soma Ebikolwa 3:19-21.) Nga bwe twalabye, ng’asinziira ku kinunulo, Yakuwa afuula abaweereza be abaafukibwako amafuta abaana be. (Bar. 8:15-17) Ate bo ‘ab’endiga endala’ Yakuwa abayita okuba abaana be mu biseera eby’omu maaso. Bwe banaamala okufuuka abatuukiridde, wajja kubaawo okugezesebwa okusembayo. Abo abanaasigala nga beesigwa eri Yakuwa, nabo ajja kubafuula baana be, babeere ku nsi emirembe gyonna. (Bar. 8:20, 21; Kub. 20:7-9) Yakuwa ajja kweyongera okwagala abaana be emirembe n’emirembe. Era abantu bajja kweyongera okuganyulwa mu kinunulo emirembe n’emirembe. (Beb. 9:12) Yakuwa atuwadde ekirabo eky’omuwendo ennyo, era tewali asobola kukituggyako.

16. Ekinunulo kituyamba kitya okufuna eddembe erya nnamaddala?

16 Tewali kintu kyonna Sitaani ky’asobola kukola kulemesa abo abeenenya mu bwesimbu okuba ab’omu maka ga Yakuwa. Yesu yajja ku nsi era n’afa “omulundi gumu.” N’olwekyo, ekinunulo kyasasulwa omulundi gumu. (Beb. 9:24-26) Adamu yatuleetera okufa, naye ekinunulo kijja kutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Ekinunulo kitusobozesa okwekutula ku nsi ya Sitaani era kituyamba okulekera awo okutya okufa.​—Beb. 2:14, 15.

17. Okuba nti Yakuwa atwagala nnyo kikuleetera kuwulira otya?

17 Ebisuubizo bya Katonda byesigika. Ng’amateeka agafuga obutonde Katonda ge yassaawo bwe gatakyukakyuka, ne Yakuwa takyukakyuka. (Mal. 3:6) Ng’oggyeeko okutuwa obulamu, Yakuwa atwagala nnyo. “Tutegedde nti Katonda atwagala era tuli bakakafu ku ekyo. Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:16) Mu kiseera ekitali kya wala, ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda, era abantu bonna ku nsi bajja kuba baagalana. Mu butuufu ffenna tukkiriziganya n’ebigambo bino ebyogerwa abaweereza ba Yakuwa mu ggulu: “Ettendo n’ekitiibwa n’amagezi n’okwebaza n’amaanyi n’obusobozi bibeere eri Katonda waffe emirembe n’emirembe. Amiina.”​—Kub. 7:12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share