LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w17 Jjuuni lup. 16-20
  • Onoogonjoola Obutategeeragana Okuume Emirembe?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Onoogonjoola Obutategeeragana Okuume Emirembe?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBIZIBU N’ENGERI GYE BIYINZA OKUGONJOOLWAMU
  • ENGERI EZ’ENJAWULO ZE TULINA ZIGANYULA EKIBIINA
  • FUBA OKUGONJOOLA OBUTAKKAANYA
  • Emirembe—Oyinza Otya Okugifuna?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Mugonjoole Obutakkaanya mu Ngeri ey’Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • ‘Luubirira Ebintu Ebireeta Emirembe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • “Muzimbaganenga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
w17 Jjuuni lup. 16-20
Mwannyinaffe ng’azze mu lukuŋŋaana naye nga munyiivu

Onoogonjoola Obutategeeragana Okuume Emirembe?

YAKUWA KATONDA akubiriza Abakristaayo okwagala emirembe. Ayagala bakole kyonna ekisoboka okuba mu mirembe. Bwe tufuba okunoonya emirembe, ffenna abaweereza ba Katonda kitusobozesa okuba mu mirembe. Era ekyo kireetera abantu abaagala emirembe okwagala okwegatta ku kibiina Ekikristaayo.

Ng’ekyokulabirako, omusawo omu ow’ekinnansi mu Madagascar yakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu. Yagamba nti: ‘Bwe ndiba wa kuyingira ddiini, eno ye ddiini gye ndiyingira.’ Oluvannyuma lw’ekiseera, yalekera awo okwenyigira mu by’obusamize, n’alongoosa obufumbo bwe, era n’afuuka omu ku baweereza ba Yakuwa, Katonda ow’emirembe.

Okufaananako omusajja oyo, buli mwaka abantu bangi beegatta ku kibiina Ekikristaayo, omuli emirembe gye baba bamaze ebbanga nga banoonya. Naye waliwo ebintu bingi ebisobola okumalawo emirembe. Bayibuli ekiraga nti ekibiina bwe kibaamu “obuggya obw’amaanyi n’okuyomba,” emikwano gifa era kireetawo obuzibu obw’amaanyi. (Yak. 3:14-16) Naye era Bayibuli etuyamba okumanya engeri y’okwewalamu obuzibu obwo n’engeri gye tusobola okuba mu mirembe. Ekyo nga tetunnaba kukiraba, ka tusooke tulabe embeera ezimu ezitera okubaawo.

EBIZIBU N’ENGERI GYE BIYINZA OKUGONJOOLWAMU

“Enkolagana yange n’ow’oluganda omu gwe nnali nkola naye, teyali nnungi. Lumu bwe twali tuwanyisiganya ebisongovu, abantu babiri bajja ne batusanga.”​—CHRIS.

Bannyinaffe babiri nga beetunuulidde bubi

“Muganda wange gwe nnali ntera okubuulira naye yeefuula omulundi gumu n’aba nga takyayagala kubuulira nange. Ate era yalekera awo okwogera nange. Nnali simanyi nsonga lwaki yali yeeyisa bw’atyo.”​—JANET.

“Nnalina abantu babiri be nnali njogera nabo ku ssimu. Omu ku bo yansiibula era ne ndowooza nti essimu ye yali agiggyeeko. Waliwo ebintu ebitali birungi bye nnamwogerako nga mbibuulira omulala gwe nnali njogera naye, naye oli essimu ye yali tagiggyeeko.”​—MICHAEL.

“Mu kibiina kyaffe mwalimu bapayoniya babiri abaafuna obutategeeragana. Omu ku bo yatandika okuboggoleranga munne. Obutakkaanya bwe baalina bwesittaza abalala.”​—GARY.

Oyinza okulowooza nti obuzibu obwo tebwali bwa maanyi nnyo. Naye bwonna bwali busobola okukosa enneewulira z’abo abaali bazingirwamu n’okukosa embeera yaabwe ey’eby’omwoyo. Kyokka eky’essanyu kiri nti bakkiriza bannaffe abo bonna baasobola okuzzaawo emirembe wakati waabwe nga bakolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli. Bulagirizi ki obuli mu Bayibuli bwe baakolerako?

“Temuyombera mu kkubo.” (Lub. 45:24) Yusufu yagamba baganda be ebigambo ebyo bwe baali baddayo eri kitaabwe. Amagezi ago nga gaali malungi! Omuntu bw’aba nga tafuga busungu bwe era ng’anyiiga mangu, asobola okunyiiza abalala. Chris yakiraba nti obunafu bwe gaali malala n’obutaagala kuweebwa bulagirizi. Okusobola okukola ku bunafu obwo, yeetondera ow’oluganda gwe yayomba naye era n’afuba nnyo okufuga obusungu bwe. Ow’oluganda oyo bwe yalaba nga Chris afuba okulwanyisa obunafu bwe, naye yafuba okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa. Kati Chris n’ow’oluganda oyo baweerereza wamu Yakuwa nga basanyufu.

“Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka.” (Nge. 15:22) Janet yakiraba nti yali yeetaaga okukolera ku magezi ago. Yasalawo ‘okuteesa,’ kwe kugamba, okwogerako ne muganda we eyali amunyiigidde. Bwe baali boogera, mu ngeri ey’amagezi Janet yasaba muganda we oyo okumubuulira ekyali kimunyiizizza. Mu kusooka tekyali kyangu kutandika mboozi. Naye bwe beeyongera okwogera, buli omu yatandika okweyabiza munne mu ngeri ey’obukkakkamu. Muganda we yakiraba nti waaliwo ekintu kye yali ategedde obubi era nti Janet teyakiriimu. Yeetondera Janet, era kati baweereza Yakuwa nga bali bumu.

“Bw’oba otutte ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, ekirabo kyo kireke mu maaso g’ekyoto osooke ogende otabagane ne muganda wo.” (Mat. 5:23, 24) Yesu yawa amagezi ago bwe yali abuulira ku Lusozi. Michael yawulira bubi nnyo bwe yalowooza ku ngeri gye yali alumizzaamu muganda we ng’amwogerako ebigambo ebitali birungi. Michael yali mumalirivu okukola kyonna ekisoboka okuzzaawo emirembe. Yatuukirira muganda we oyo n’amwetondera. Biki ebyavaamu? Michael agamba nti: “Muganda wange oyo yansonyiyira ddala.” Twaddamu okuba ab’omukwano.

“Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.” (Bak. 3:12-14) Omukadde omu mu kibiina yayamba bapayoniya abo ababiri abaalina obutakkaanya okufumiitiriza ku bibuuzo bino: ‘Ddala kiba kya magezi okuleka obutategeeragana bwe tulina okumalako abalala emirembe? Waliwo kye tusinziirako okugaana okugumiikirizigana tusobole okweyongera okuweereza Yakuwa mu mirembe?’ Bombi baakolera ku magezi amalungi omukadde oyo ge yabawa. Kati bakolagana bulungi era beeyongera okubuulira n’obunyiikivu.

Omuntu bw’akunyiiza, kiba kirungi okukolera ku magezi agali mu Abakkolosaayi 3:12-14. Bangi bakirabye nti bwe booleka obwetoowaze ne bakolera ku magezi ago kibayamba okusonyiwa abalala. Naye bw’okiraba nti ofubye okukolera ku magezi ago naye embeera n’egaana okutereera, kiyinza okukwetaagisa okukolera ku musingi oguli mu Matayo 18:15. Wadde ng’amagezi agali mu kyawandiikibwa ekyo okusingira ddala gakola mu mbeera ng’omuntu akukoze ekibi eky’amaanyi, kiyinzika okuba nga ge weetaaga okukolerako okusobola okutereeza embeera. Tuukirira muganda wo mwogere ku kizibu ekiriwo, musobole okukigonjoola.

Waliwo n’amagezi amalala Bayibuli g’ewa. Bayibuli etukubiriza okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, omuli ‘okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.’ (Bag. 5:22, 23) Okufaananako woyiro asobozesa yingini okukola obulungi, okwoleka engeri ezo kiyamba mu kuleetawo emirembe.

ENGERI EZ’ENJAWULO ZE TULINA ZIGANYULA EKIBIINA

Okuba nti mu kibiina mulimu abantu abalina engeri ez’enjawulo kirimu emiganyulo. Kyokka okuba n’engeri ez’enjawulo nakyo kisobola okuleetawo obuzibu. Ow’oluganda omu amaze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde mu kibiina yawa ekyokulabirako kino: “Omuntu omusirise ayinza okuzibuwalirwa okubeera n’omuntu ayogerayogera ennyo. Ekintu ekyo kiyinza okulabika ng’ekitono naye kisobola okuleetawo obuzibu.” Ddala abantu abalina engeri ez’enjawulo basobola okukolagana obulungi? Lowooza ku mutume Peetero n’omutume Yokaana. Peetero yalina ngeri ki? Peetero ayinza okuba nga yali muntu wa bigambo bingi era ng’oluusi ayogera tasoose kulowooza. Ate ye Yokaana? Ye ayinza okuba nga yali muntu mwegendereza era nga wa bigambo bitono. Wadde ng’abatume abo baalina engeri za njawulo, baakoleranga wamu nga bali bumu. (Bik. 8:14; Bag. 2:9) N’olwekyo, Abakristaayo abalina engeri ez’enjawulo basobola bulungi okukolagana obulungi.

Oboolyawo mu kibiina kyo mulimu mukkiriza munno ayogera oba eyeeyisa mu ngeri ekunyiiza. Wadde kiri kityo, Kristo yamufiirira era osaanidde okumulaga okwagala. (Yok. 13:34, 35; Bar. 5:6-8) N’olwekyo, mu kifo ky’okumukyawa oba okumwewala, weebuuze: ‘Ddala muganda wange (oba mwannyinaze) oyo alina ekintu ky’akola ekikontana obutereevu n’Ebyawandiikibwa? Ddala akigenderera okukola ekintu ekimmalako emirembe? Oba kyandiba nti tulina engeri za njawulo?’ N’ekisinga obukulu osaanidde okwebuuza: ‘Ngeri ki z’alina ezisobola okuŋŋanyula?’

Ekibuuzo ekyo ekisembyeyo kikulu nnyo. Omuntu bw’aba ng’ayogerayogera nnyo ate nga ggwe oli musirise, lowooza ku ngeri gy’ayanguyirwamu okutandika emboozi n’abantu ng’abuulira. Oyinza okumusaba obuulireko naye olabe ebyo by’osobola okumuyigirako. Bwe kiba nti mugabi ate nga ggwe toli mugabi, lwaki tolowooza ku ssanyu ly’afuna mu kuyamba bannamukadde, abalwadde, n’abalala abali mu bwetaavu? N’olwekyo, wadde nga mulina engeri za njawulo, ggwe ne mukkiriza munno oyo musobola okuba n’enkolagana ennungi singa buli omu atunuulira ebirungi ebiri mu munne. Ekyo kiyinza obutabafuula ba mukwano gwa ku lusegere, naye kibayamba okuba mu mirembe era kiyamba n’ekibiina okuba mu mirembe.

Ewudiya ne Suntuke nabo bayinza okuba nga baalina engeri za njawulo. Wadde kyali kityo, omutume Pawulo yabakubiriza “okuba n’endowooza emu mu Mukama waffe.” (Baf. 4:2) Naawe onoofuba okukola kye kimu osobole okuba mu mirembe ne bakkiriza banno?

FUBA OKUGONJOOLA OBUTAKKAANYA

Okufaananako omuddo ogumera mu nnimiro y’ebimuli, endowooza embi gy’obeera nayo ku bakkiriza banno yeeyongera okukula singa tofuba kugyeggyamu. Obukyayi bwe bukula mu mutima gw’omuntu, kisobola okukosa ekibiina kyonna. Bwe tuba nga twagala Yakuwa ne baganda baffe, tujja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti tetukkiriza butategeeragana bwe tufuna ne bakkiriza bannaffe kumalawo mirembe mu kibiina.

Bannyinaffe babiri nga boogera okutereeza ensonga

Bwe weetoowaza n’ofuba okuleetawo emirembe, musobola okuvaamu ebirungi

Bwe twogera ku butakkaanya obuba buzzeewo nga tulina ekigendererwa eky’okuleetawo emirembe ebivaamu biba birungi. Lowooza ku kyokulabirako kya mwannyinaffe omu. Yagamba nti: “Nnali mpulira nti muganda wange omu yali ampisa ng’omwana omuto. Ekyo kyampisa bubi nnyo. Ekiseera kyatuuka ne mba nga saagala na kwogera naye. Muli nnagamba nti, ‘Tampa kitiibwa era nange sijja kukimuwa.’”

Mwannyinaffe oyo yatandika okufumiitiriza ku ngeri gye yali yeeyisaamu. Agamba nti: “Nnange nnakiraba nti nnalina obunafu bwe nnalina okukolako. Nnakiraba nti nnalina okukyusa endowooza yange. Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa ne mmutegeeza ku nsonga eyo, nnagulira muganda wange oyo akalabo era ne mmuwandiikira akabaluwa ne mmwetondera olw’endowooza enkyamu gye nnamulinako. Twegwa mu kifuba era ensonga ne tuzimala. Tetuddangamu kufuna butakkaanya.”

Abantu bangi nnyo baagala okuba mu mirembe. Naye bwe wabaawo embeera ebasoomooza, bangi batandika okweyisa mu ngeri etabangula emirembe. Bwe kityo bwe kiri mu bantu abasinga obungi abatasinza Yakuwa. Naye bo abantu ba Yakuwa balina okuba mu mirembe. Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okuwandiika nti: “Mbeegayirira okweyisa mu ngeri etuukana n’okuyitibwa kwe mwayitibwa, nga muba bawombeefu, nga muba bakkakkamu, nga mugumiikiriza, era nga buli omu azibiikiriza munne mu kwagala, nga mufuba nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egibagatta.” (Bef. 4:1-3) ‘Emirembe egyo egitugatta’ gya muwendo nnyo. Ka ffenna tube bamalirivu okukuuma emirembe nga tufuba okugonjoola obutakkaanya obuba buzzeewo.

Pawulo ne Balunabba Baali Bumu Wadde nga Baali ba Njawulo

Pawulo ne Balunabba

Pawulo yali musajja ayoleka ennyo enneewulira ze. Bwe yali tannafuuka Mukristaayo, Pawulo ‘yatiisatiisa abayigirizwa ba Mukama waffe, era ng’ayagala okubatta.’ (Bik. 9:1) Nga wayise ekiseera, Pawulo yayogera ku nneewulira gye yalina eri Abakristaayo bwe yali nga tannafuuka Mukristaayo. Yagamba nti: “Nnabasunguwalira nnyo.”​—Bik. 26:11.

Pawulo bwe yamala okubatizibwa, yakola enkyukakyuka ez’amaanyi, naye abantu baali bakyajjukira engeri gye yali yeeyisaamu edda. Ne bwe waali wayise ekiseera ng’amaze okufuuka Omukristaayo, ab’oluganda mu Yerusaalemi “bonna baali bamutya, kubanga baali tebakikkiriza nti muyigirizwa wa Yesu.”​—Bik. 9:26.

Oboolyawo ab’oluganda abo bandyeyongedde okutya Pawulo singa Omukristaayo omu ow’e Kupulo ayitibwa Yusufu teyamuyamba. Yusufu yali amanyiddwa ng’ow’oluganda ow’ekisa, era ab’oluganda baamuwa erinnya “Balunabba,” eritegeeza, “oyo azzaamu abalala amaanyi.” (Bik. 4:36, 37) Ab’oluganda abaali batwala obukulembeze baali bamussaamu ekitiibwa, era yayamba Pawulo. Bayibuli egamba nti: “Awo Balunabba n’ajja n’amuyamba n’amutwala eri abatume, n’ababuulira nga Sawulo bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, . . . era yabategeeza engeri gye yayogera n’obuvumu mu linnya lya Yesu ng’ali mu Ddamasiko.” (Bik. 9:26-28) Oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo bya Balunabba, ab’oluganda mu kibiina ky’e Yerusaalemi baasembeza Pawulo. Oluvannyuma, Pawulo ne Balunabba baatandika okuweerereza awamu ng’abaminsani.​—Bik. 13:2, 3.

Balunabba ateekwa okuba nga yali ayagala nnyo Pawulo olw’okuba yali munyiikivu era ng’ayogera n’obuvumu. Ate Pawulo ateekwa okuba nga yali ayagala nnyo Balunabba olw’okuba yali wa kisa era ng’afaayo ku balala.

Bayibuli egamba nti lumu waabalukawo “oluyombo olw’amaanyi” wakati wa Pawulo ne Balunabba. Lwaki? Bayibuli tegamba nti oluyombo olwo lwava ku kuba nti baalina engeri za njawulo. Wabula lwava ku kuba nti baalina endowooza ya njawulo ku kya Yokaana Makko okugenda nabo ku lugendo lwabwe olw’obuminsani.​—Bik. 15:36-40.

Wadde nga Pawulo ne Balunabba baalina engeri za njawulo, baali baweerereza wamu. Ate era okuba nti Pawulo ne Makko baddamu okukolera awamu kiraga nti Pawulo ne Balunabba baagonjoola obutakkaanya bwe baalina. (Bak. 4:10) N’olwekyo, eky’okuba nti tulina engeri za njawulo tetusaanidde kukikkiriza kumalawo mirembe gye tulina.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share