Wagira Obufuzi bwa Yakuwa!
“Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna.”—KUB. 4:11.
1, 2. Buli omu ku ffe asaanidde kuba mukakafu ku ki? (Laba ekifaananyi waggulu.)
NGA bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Sitaani agamba nti Yakuwa mufuzi mubi era nti abantu basobola okuba obulungi nga beefuga bokka. Ekyo Sitaani ky’agamba kituufu? Watya singa abantu beefuga bokka emirembe gyonna. Bandibadde basanyufu okusinga bwe kyandibadde nga bafugibwa Katonda? Wandibadde musanyufu singa obaawo emirembe gyonna naye nga weetwala wekka?
2 Tewali ayinza kukuddiramu bibuuzo ebyo. Buli omu ku ffe asaanidde okubifumiitirizaako. Bwe tubifumiitirizaako, kijja kutuyamba okukiraba nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo obulungi era nti tusaanidde okubuwagira n’omutima gwaffe gwonna. Kati ka tulabe engeri Bayibuli gy’etuyambamu okukiraba nti ddala Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna era nti obufuzi bwe bwe busingayo obulungi.
YAKUWA Y’AGWANIDDE OKUFUGA
3. Lwaki Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna?
3 Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna kubanga ye Katonda omuyinza w’ebintu byonna era ye Mutonzi. (1 Byom. 29:11; Bik. 4:24) Mu kwolesebwa okuli mu Okubikkulirwa 4:11, Yokaana yalaba abaafukibwako amafuta 144,000 abanaafugira awamu ne Yesu nga bagamba nti: “Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.” Olw’okuba Yakuwa ye yatonda ebintu byonna, y’agwanidde okufuga abantu ne bamalayika.
4. Lwaki okujeemera Katonda kuba kukozesa bubi eddembe ery’okwesalirawo?
4 Sitaani talina kintu kyonna kye yatonda. N’olwekyo, tagwanidde kufuga butonde bwonna. Sitaani n’abantu ababiri abaasooka bwe baajeemera obufuzi bwa Yakuwa baayoleka amalala mangi nnyo. (Yer. 10:23) Kyo kituufu nti olw’okuba baalina eddembe ery’okwesalirawo, baali basobola okusalawo okugaana obufuzi bwa Katonda. Naye baali batuufu okusalawo bwe batyo? Nedda. Eddembe ly’okwesalirawo abantu lye balina libasozesa okusalawo mu ngeri ey’amagezi ku bintu ebitali bimu. Naye okuba n’eddembe eryo tekibawa bbeetu kujeemera Mutonzi waabwe eyabawa obulamu. Mu butuufu, okujeemera Katonda kuba kukozesa bubi eddembe ery’okwesalirawo. Ffenna abantu twetaaga Yakuwa okutufuga n’okutuwa obulagirizi.
5. Lwaki tuli bakakafu nti ebyo Yakuwa by’asalawo bya bwenkanya?
5 Waliwo n’ensonga endala lwaki Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Yakuwa akozesa obuyinza bwe mu ngeri ey’Obwenkanya. Yakuwa agamba nti: “Nze Yakuwa, alaga okwagala okutajjulukuka, obwenkanya, n’obutuukirivu mu nsi, kubanga ebintu bino binsanyusa.” (Yer. 9:24) Yakuwa tasinziira ku mateeka g’abantu abatatuukiridde okusalawo obanga ekintu kituufu era obanga kya bwenkanya. Yakuwa kennyini mwenkanya, era y’ateerawo abantu amateeka n’emitindo egy’obwenkanya. Olw’okuba “obutuukirivu n’obwenkanya gye misingi gy’entebe [ye] ey’obwakabaka,” tuli bakakafu nti amateeka ge gonna n’ebyo byonna by’asalawo bya butuukirivu. (Zab. 89:14; 119:128) Ku luuyi olulala, wadde nga Sitaani agamba nti obufuzi bwa Yakuwa bubi, ye alemereddwa okuleetawo obwenkanya mu nsi.
6. Ensonga endala lwaki Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna y’eruwa?
6 Ensonga endala lwaki Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna eri nti alina okumanya n’amagezi ebyetaagisa okulabirira obutonde bwonna. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ky’okuba nti Yakuwa yasobozesa Omwana we okuwonya endwadde abasawo ze baali batasobola kuwonya. (Mat. 4:23, 24; Mak. 5:25-29) Eri Yakuwa ekyo tekyali kyamagero. Amanyi bulungi engeri omubiri gye gukolamu era asobola okuvumula endwadde yonna eba erumbye omubiri. Ate era asobola n’okuzuukiza abantu abaafa n’okuziyiza obutyabaga.
7. Lwaki amagezi ga Yakuwa ga waggulu nnyo ku g’ensi ya Sitaani?
7 Ensi eno efugibwa Sitaani ekyanoonya engeri y’okuleetawo emirembe mu mawanga. Naye Yakuwa yekka y’amanyi ekisaanidde okukolebwa okusobola okuleetawo emirembe mu nsi yonna. (Is. 2:3, 4; 54:13) Bwe tweyongera okuyiga ebisingawo ku kumanya n’amagezi Yakuwa by’alina, okufaananako omutume Pawulo, naffe tugamba nti: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nzibu okutegeerera ddala mu bujjuvu, n’amakubo ge gonna tetusobola kugategeera ne tugamalayo!”—Bar. 11:33.
OBUFUZI BWA YAKUWA BWE BUSINGAYO OBULUNGI
8. Okwatibwako otya bw’olowooza ku ngeri Yakuwa gy’afugamu?
8 Bayibuli tekoma ku kulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, era eraga nti obufuzi bwe bwe businga obulala bwonna. Ensonga emu lwaki kiri kityo eri nti Yakuwa afuga mu ngeri ey’okwagala. Mu butuufu, kitusanyusa nnyo bwe tulowooza ku ngeri gy’akozesaamu obuyinza bwe. Yakuwa ‘musaasizi, wa kisa, alwawo okusunguwala, era alina okwagala okutajjulukuka kungi, n’amazima mangi.’ (Kuv. 34:6) Katonda awa ekitiibwa abaweereza be. Atufaako n’okusinga ffe bwe twefaako. Ebyo Sitaani bye yayogera si bituufu kubanga Yakuwa talina kirungi ky’amma baweereza be abeesigwa. Yakuwa yatuuka n’okuwaayo Omwana we okutufiirira tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo!—Soma Zabbuli 84:11; Abaruumi 8:32.
9. Kiki ekiraga nti Katonda afaayo ne ku bantu kinnoomu?
9 Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa afaayo ku baweereza be bonna okutwalira awamu, era afaayo ne ku baweereza be kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yamala ebyasa bisatu ng’akozesa abalamuzi okununula eggwanga ly’Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe. Wadde nga yali afaayo ku ggwanga lyonna okutwalira awamu, Yakuwa era yali afaayo ne ku bantu kinnoomu. Omu ku bantu abo yali Luusi, omukazi ataali Muyisirayiri eyeefiiriza ennyo okusobola okufuuka omuweereza wa Yakuwa. Yakuwa yasobozesa Luusi okufuna omwami era n’azaala n’omwana. Yakuwa era yamuwa n’emikisa emirala. Luusi bw’anaazuukira, ajja kusanyuka okukimanya nti omwana gwe yazaala y’omu ku abo abali mu lunyiriri Masiya mwe yava. Ate era ajja kusanyuka nnyo okukimanya nti ebimukwatako byawandiikibwa mu Bayibuli mu kitabo ekiyitibwa erinnya lye!—Luus. 4:13; Mat. 1:5, 16.
10. Lwaki obufuzi bwa Yakuwa tebunyigiriza?
10 Yakuwa tanyigiriza abo b’afuga. B’afuga abawa eddembe era baba basanyufu. (2 Kol. 3:17) Dawudi yagamba nti: “Ekitiibwa n’obulungi biri mu maaso [ga Katonda], amaanyi n’essanyu biri w’abeera.” (1 Byom. 16:7, 27) N’omuwandiisi wa zabbuli ayitibwa Esani yagamba nti: “Balina essanyu abo abamanyi okukuba emizira. Ai Yakuwa, batambulira mu kitangaala ky’amaaso go. Basanyuka okuzibya obudde olw’erinnya lyo, era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.”—Zab. 89:15, 16.
11. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abakakafu nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo obulungi?
11 Bulijjo bwe tufumiitiriza ku bulungi bwa Yakuwa kisobola okutuyamba okuba abakakafu nti obufuzi bwe bwe busingayo obulungi. Kituleetera okuwulira ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Olunaku olumu mu mpya zo lusinga ennaku olukumi mu kifo ekirala kyonna!” (Zab. 84:10) Yakuwa ye Mutonzi waffe, era amanyi bulungi bye twetaaga okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, era abituwa. Byonna by’atugamba okukola biganyula ffe era bwe tubikola tufuna essanyu lingi, ne bwe kiba nti okubikola kitwetaagisa okubaako bye twefiiriza.—Soma Isaaya 48:17.
12. Nsonga ki enkulu gye tusinziirako okuwagira obufuzi bwa Yakuwa?
12 Bayibuli ekiraga nti oluvannyuma lw’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, waliwo abantu abajja okusalawo okujeemera obufuzi bwa Yakuwa. (Kub. 20:7, 8) Kiki ekiyinza okubaleetera okukola bwe batyo? Sitaani bw’anaasumululwa okuva mu kkomera, ajja kufuba nnyo okulaba ng’alimbalimba abantu abaleetere okwerowoozaako bokka, nga bw’azze akola. Ayinza okugezaako okuleetera abantu okulowooza nti waliwo engeri gye basobola okubeerawo emirembe gyonna nga tebagondedde Yakuwa. Kya lwatu nti ekyo tekisoboka. Naye ekyebuuzibwa kiri nti: Naffe tunaatwalirizibwa obulimba obwo? Bwe tuba nga twagala Yakuwa era nga tumuweereza olw’okuba tukimanyi nti mulungi era nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, tetujja kutwalirizibwa bulimba bwa Sitaani obwo. Tujja kuba bamalirivu okufugibwa Yakuwa yekka, oyo afuga mu ngeri ey’okwagala.
NYWERERA KU BUFUZI BWA KATONDA
13. Bwe tukoppa Yakuwa kiraga kitya nti tuwagira obufuzi bwe?
13 Tusaanidde okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Nga bwe tulabye, Yakuwa y’agwanidde okufuga era obufuzi bwe bwe busingayo obulungi. Tukiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa nga tukuuma obugolokofu bwaffe era nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ngeri ki endala gye tuyinza okulagamu nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa? Tukiraga nga tukoppa Yakuwa. Bwe tukola ebintu nga Yakuwa bwe yandibikoze, tuba tukiraga nti tukkiriza nti engeri gy’afugamu y’esingayo obulungi.—Soma Abeefeso 5:1, 2.
14. Emitwe gy’amaka n’abakadde bayinza batya okukoppa Yakuwa?
14 Bayibuli eraga nti Yakuwa akozesa obuyinza bwe mu ngeri ey’okwagala. Emitwe gy’amaka n’abakadde abaagala obufuzi bwa Yakuwa, bafuba okumukoppa nga beewala okukajjala ku b’omu maka gaabwe oba ku kibiina. Pawulo yakoppa Katonda ne Yesu. (1 Kol. 11:1) Pawulo teyaswazanga balala era teyabakakanga kukola kituufu. Mu kifo ky’ekyo, yabakubirizanga mu ngeri ey’ekisa okukola ekituufu. (Bar. 12:1; Bef. 4:1; Fir. 8-10) Eyo ye ngeri Yakuwa gy’akolamu ebintu. Abo bonna abaagala obufuzi bwe era ababuwagira balina okumukoppa.
15. Bwe tugondera abo Yakuwa b’awadde obuyinza kiraga kitya nti tuwagira obufuzi bwe?
15 Ate era tukiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa nga tugondera abo Yakuwa b’awadde obuyinza. Ne bwe kiba nti tetutegeera bulungi ekyo ekiba kisaliddwawo oba nga tetukkiriziganya nakyo, tujja kukola ekyo Yakuwa ky’ayagala. Ekyo kyawukana nnyo ku ngeri abantu mu nsi gye beeyisaamu. Naye ffe bwe tutyo bwe tukola olw’okuba tuwagira obufuzi bwa Yakuwa. (Bef. 5:22, 23; 6:1-3; Beb. 13:17) Bwe tukola tutyo kituganyula, kubanga Yakuwa atwagaliza ekyo ekisingayo obulungi.
16. Abo abawagira obufuzi bwa Yakuwa basalawo batya?
16 Ate era tukiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa mu ebyo bye tusalawo. Yakuwa tatuwa mateeka ku buli kintu. Mu kifo ky’ekyo, atuyamba okumanya endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa tatuwa lukalala lulaga misono gya ngoye Abakristaayo ze balina okwambala. Mu kifo ky’ekyo, atugamba okwambala mu ngeri esaana era eraga nti tuli Bakristaayo. (1 Tim. 2:9, 10) Ate era atukubiriza okusalawo mu ngeri eteesittaza balala. (1 Kol. 10:31-33) Bwe tusalawo nga tetusinziira ku ebyo ffe bye twagala wabula nga tusinziira ku ebyo Yakuwa by’ayagala, kiba kiraga nti twagala obufuzi bwe era nti tubuwagira.
Kirage nti owagira obufuzi bwa Yakuwa mu ebyo by’osalawo ne mu maka go (Laba akatundu 16-18)
17, 18. Mu ngeri ki abafumbo gye bayinza okukiraga nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa?
17 Kati ate lowooza ku ngeri Abakristaayo abafumbo gye basobola okukiraga nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa. Watya singa obufumbo bubaamu okusoomooza okw’amaanyi kwe wali tosuubira? Era watya singa ekyo kye wali osuubira mu bufumbo si ky’osanze? Mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi n’ofumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isirayiri. Yakuwa yali yeetwala ga bba w’eggwanga eryo. (Is. 54:5; 62:4) Naye “obufumbo” obwo bwali buzibu nnyo. Wadde kyali kityo, Yakuwa teyayanguwa kwabulira Bayisirayiri. Enfunda n’enfunda yabasonyiwa era n’anywerera ku ndagaano gye yakola nabo. (Soma Zabbuli 106:43-45.) Ekyo bw’okifumiitirizaako, tekikuleetera kweyongera kwagala Yakuwa?
18 N’olwekyo, Abakristaayo abafumbo abaagala Yakuwa bafuba okumukoppa. Obufumbo ne bwe buba buzibu butya, tebasinziira ku nsonga ezitali za mu Byawandiikibwa okugattululwa mu bufumbo. Bakimanyi nti Yakuwa yabagatta wamu era nti ayagala buli omu anywerere ku munne. Ensonga yokka ey’omu Byawandiikibwa abafumbo gye basobola okusinziirako okugattululwa ne baba ba ddembe okuwasa oba okufumbirwa omuntu omulala kwe kuba nti omu ku bo ayenze. (Mat. 19:5, 6, 9) Abakristaayo abafumbo bwe bakola kyonna ekisoboka okulaba nti obufumbo bwabwe tebusattulukuka era ne bafuba okunyweza enkolagana yaabwe, baba balaga nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa.
19. Bwe tukola ensobi, kiki kye tusaanidde okukola?
19 Olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu tukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa. Yakuwa ekyo akimanyi era atuteereddewo enteekateeka ey’okutusonyiwa ebibi ng’asinziira ku ssaddaaka y’Omwana we. N’olwekyo, bwe tukola ensobi, tusaanidde okusaba Yakuwa atusonyiwe. (1 Yok. 2:1, 2) Mu kifo ky’okudda awo okwennyamira, tusaanidde okuyigira ku nsobi zaffe. Bwe tunywerera ku Yakuwa, ajja kutusonyiwa, atuwonye, tusobole okweyongera okumuweereza.—Zab. 103:3.
20. Lwaki kikulu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa leero?
20 Mu nsi empya, abantu bonna bajja kuba bafugibwa Yakuwa era bajja kuyiga amakubo ge ag’obutuukirivu. (Is. 11:9) Kyokka ne leero Yakuwa atuyigiriza ebintu bingi ebikwata ku makubo ge. Ekiseera kinaatera okutuuka wabe nga tewakyaliwo awakanya bufuzi bwa Yakuwa. N’olwekyo, ka tukole kyonna ekisoboka okuwagira obufuzi bwa Yakuwa nga tufuba okumugondera, nga tumuweereza n’obwesigwa, era nga tufuba okumukoppa mu buli kimu kye tukola.