Ennyanjula
DDALA KATONDA AKUFAAKO?
Bwe wagwawo akatyabaga abantu ne bafa oba ne babonaabona, tuyinza okwebuuza obanga ddala Katonda alaba era afaayo. Bayibuli egamba nti:
“Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe, naye Yakuwa yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”—1 Peetero 3:12.
Akatabo kano kalaga engeri Katonda gy’atuyambamu nga tulina ebizibu, ne ky’ajja okukola okumalawo okubonaabona kwonna.