LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w18 Jjulaayi lup. 30-31
  • Oyinza Otya Okunyumirwa Okusoma Bayibuli n’Okugiganyulwamu?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Oyinza Otya Okunyumirwa Okusoma Bayibuli n’Okugiganyulwamu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Laba Ebirala
  • Okuyiga—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Ganyulwa mu Bujjuvu mu Bintu Yakuwa by’Atuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Engeri y’Okunoonyerezaamu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
w18 Jjulaayi lup. 30-31
Yoswa ng’asomera Amateeka ga Katonda ku ttaala

Oyinza Otya Okunyumirwa Okusoma Bayibuli n’Okugiganyulwamu?

Yoswa ng’asoma Amateeka; bbugwe wa Yeriko agwa naye ennyumba ya Lakabu yo esigalawo; Yoswa ng’awanise emikono gye ng’asaba Yakuwa

YOSWA ayolekaganye n’okusoomooza okw’amaanyi. Alina okukulembera Abayisirayiri okubayingiza mu Nsi Ensuubize wadde ng’ekyo tekigenda kuba kyangu. Naye Yakuwa amuzzaamu amaanyi n’amugamba nti: ‘Beera muvumu era wa maanyi. Kwata Amateeka gange. Gasomenga emisana n’ekiro, era fuba okukwata byonna ebiwandiikiddwamu osobole okutuuka ku buwanguzi era weeyise mu ngeri ey’amagezi.’​—Yos. 1:7, 8.

Mu ‘biseera bino ebizibu ennyo,’ naffe twolekaganye n’okusoomooza okw’amaanyi. (2 Tim. 3:1) Okufaananako Yoswa, naffe tusobola okutuuka ku buwanguzi singa tukolera ku magezi Yakuwa ge yamuwa. Tusaanidde okusoma Bayibuli obutayosa n’okukolera ku misingi egirimu nga tulina bye tusalawo.

Naye bangi ku ffe okusoma kuyinza okuba nga tekutunyumira era nga tekutwanguyira. Naye okuva bwe kiri nti kikulu nnyo okusoma Bayibuli, weetegereze akasanduuko “Gezaako Amagezi Gano” olabe ebyo by’osobola okukola ebiyinza okukuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli n’okugiganyulwamu.

Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Nnuŋŋamya ntambulire mu kkubo ly’ebiragiro byo kubanga mu byo mwe nsanyukira.” (Zab. 119:35) Osobola okufuna essanyu lingi mu kusoma Ekigambo kya Katonda. Bw’okisoma n’obwegendereza osobola okuyiga ebintu bingi.

Wadde nga togenda kukulemberamu ggwanga nga Yoswa bwe yalikulembera, oyolekagana n’okusoomooza okutali kumu. N’olwekyo, okufaananako Yoswa, soma Ekigambo kya Katonda era okolere ku ebyo by’osoma. Bw’onookola bw’otyo, ojja kutuuka ku buwanguzi era ojja kweyisa mu ngeri ey’amagezi.

GEZAAKO AMAGEZI GANO

  • Omusajja ng’awumbye engalo ng’asaba

    Saba nga tonneesomesa. Bayibuli erimu endowooza ya Katonda era yagiwandiisa osobole okugiganyulwamu. N’olwekyo, bw’oba ogenda okusoma Bayibuli saba Yakuwa akuyambe okutegeera by’osoma, obijjukire, era obikolereko.​—Ezer. 7:10.

  • Omusajja nga yeebuuza ekibuuzo

    Weebuuze ebibuuzo nga bino ng’osoma Bayibuli oba ebitabo ebiginnyonnyola: ‘Bino bye nsomye binjigiriza ki ku Yakuwa? Bikwatagana bitya n’ensonga enkulu Bayibuli gy’eyogerako? Nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala?’

  • Omusajja ng’afumiitiriza

    Fumiitiriza ku by’osoma. Bw’oba osoma, siriikiriramu ofumiitirize. Weebuuze: Bino bye nsomye bindeetera kuwulira ntya? Lwaki bindeetera okuwulira bwe ntyo? Bikwata bitya ku ebyo bye nnayitamu mu biseera eby’emabega, bye mpitamu kati, n’ebyo ebijja mu biseera eby’omu maaso? Nnyinza ntya okukolera ku misingi gya Bayibuli gino oba amagezi gano mu bulamu bwange? (Yob. 23:5; Zab. 49:3) Laba obanga osobola okunnyonnyola ensonga lwaki Yakuwa agaana abantu okukola ebintu ebimu era n’ebiyinza okuvaamu nga bakoze ebintu ebyo.​—Ma. 32:28, 29.

  • Omusajja ng’akuba akafaananyi ku byasomye mu Bayibuli

    Kuba akafaananyi ku ebyo by’osoma. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’olaba baganda ba Yusufu nga bamutunda eri Abayisimayiri. (Lub. 37:18-28) Biki by’olaba, by’owulira, era by’owunyirwa? Weeteeke mu bigere by’abantu aboogerwako. Biki bye balowooza, era bawulira batya? Bw’okuba akafaananyi mu ngeri ng’eyo, ojja kuganyulwa nnyo mu kusoma kwo.

  • Omusajja ng’akozesa ebintu ebikozesebwa mu kunoonyereza

    Kozesa ebintu ebituyamba mu kunoonyereza. Fuba okumanya engeri y’okukozesaamu ebintu ebyo ng’okozesa kompyuta oba ng’okozesa ebitabo ebikubiddwa mu kyapa. Totya kugamba balala bakuyambe okumanya engeri gy’oyinza okukozesaamu ebintu ebyo. Ng’ekyokulabirako, Watch Tower Publications Index oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, bisobola okukuyamba okunoonyereza ku nsonga ezitali zimu n’okumanya amakulu g’ebyawandiikibwa. Osobola n’okukozesa ebyongerezeddwako ebiri mu Enkyusa ey’Ensi Empya. Ebyongerezeddwako ebyo bikuyamba okumanya ebifo ebyogerwako mu Bayibuli we byali, ebiseera ebintu ebyogerwako we byabeererawo, ebipimo, n’ebintu ebirala.

  • Omusajja ng’aggya ensonga enkulu mu ebyo by’asomye

    Ggyamu ensonga enkulu mu ebyo by’osomye. Zibuulireko abalala. Waliwo ky’olabye ky’osobola okukozesa ng’obuulira? Bw’okola bw’otyo, kikuyamba okujjukira ebyo by’oba osomye n’okubikozesa okuyamba abalala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza