LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be lup. 33-lup. 38 kat. 4
  • Engeri y’Okunoonyerezaamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okunoonyerezaamu
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okukozesa Baibuli​—Ekitabo Ekisingirayo Ddala Obulungi mu Kunoonyereza
  • Okuyiga Okukozesa Ebintu Ebirala Ebyeyambisibwa mu Kunoonyereza
  • Amaterekero Amalala ag’Ebitabo bya Teyokulase
  • Beera ne Fayiro mw’Otereka Ebintu Byo
  • Nnyumya n’Abantu
  • Sengeka by’Onoonyerezzaako
  • Ekitabo Ekipya Ekituyamba Okunoonyereza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Etterekero ly’Ebitabo ery’Ekibiina Lituyamba Litya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Oyinza Otya Okuwa Abalala Amagezi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be lup. 33-lup. 38 kat. 4

Engeri y’Okunoonyerezaamu

KABAKA SULEMAANI ‘yafumiitiriza n’anoonyereza, asobole okusengeka obulungi engero.’ Lwaki? Kubanga yali ayagala okuwandiika ‘ebigambo ebituufu era eby’amazima.’ (Mub. 12:9, 10) Lukka ‘yanoonyereza ebintu byonna n’obwegendereza’ asobole okuwandiika ku bulamu bwa Kristo mu ngeri ey’amagezi. (Luk. 1:3) Abaweereza ba Katonda bano bombi baakola okunoonyereza.

Okunoonyereza kye ki? Kwe kwekenneenya n’obwegendereza ebintu ebikwata ku nsonga emu. Kuzingiramu okusoma, era kwetaagisa okugoberera enkola entuufu. Era kuyinza okuzingiramu okubuuza abantu ebibuuzo.

Ddi lwe weetaaga okunoonyereza? Zino wammanga ze zimu ku mbeera lwe kuyinza okwetaagisa. Nga weesomesa oba ng’osoma Baibuli oyinza okusanga ebintu by’otategeera bulungi. Omuntu gw’obuulira ayinza okukubuuza ekibuuzo ekiyinza okukwetaagisa okusooka okubaako by’omanya okusobola okukiddamu. Oyinza okuba olina emboozi ey’okuwa.

Lowooza ku mboozi ekuweereddwa. By’olina okwogerako biyinza okuba tebirina nsonga gye bisongako butereevu. Oyinza otya okubikwataganya n’embeera eriwo mu kitundu? Bifuule binyuvu ng’okola okunoonyereza. Bw’owa emiwendo egikwata ku ebyo by’oyogerako era n’owa n’ebyokulabirako ebituukirawo era ebikwata ku bulamu bw’abo abakuwuliriza, ensonga okusooka eyalabise nti teriimu bippya okisanga nti erimu eby’okuyiga bingi era n’ereetera n’abakuwuliriza okubaako kye bakolawo. Ensonga eziri ku kiwandiiko ky’emboozi yo ziyinza okuba zikwata ku bantu mu nsi yonna, naye weetaaga okuzigaziya, okuwa ebyokulabirako, n’okulaga engeri gye zikwata ku kibiina oba abantu kinnoomu. Ekyo wandikikoze otya?

Nga tonnatandika kunoonyereza, sooka olowooze ku abo abanaakuwuliriza. Biki bye bayinza okuba nga bamanyi? Biki bye beetaaga okumanya? Ate ggwe olina kiruubirirwa ki? Kunnyonnyola; kumatiza; kusambajja; oba kukubiriza? Kyetaagisa okunnyonnyola okusobola okutangaaza ku nsonga gy’oyogerako. Wadde nga bayinza okutegeera ensonga enkulu, kiyinza okukwetaagisa okubategeeza engeri ey’okukolera ku byogeddwako era n’ekiseera eky’okubikolerako. Okumatiza kwetaagisa okuwa ensonga eziraga lwaki ekintu kiri bwe kityo, nga mw’otwalidde n’okuwa obujulizi. Okusambajja kwetaagisa okumanya obulungi enjuyi zombi ezikwata ku nsonga, awamu n’okwekkaanya obujulizi obuliwo. Kya lwatu, tuba tetwagala kuwa buwi nsonga ziwagira kye twogera naye era tulina okukikola mu ngeri ey’ekisa. Okukubiriza kuzingiramu okutuuka ku mutima. Kitegeeza okuleetera abakuwuliriza okugoberera ebyogerwa. Ebyokulabirako by’abantu abaagoberera okubuulirira okwaweebwa, wadde nga baali mu buzibu obw’amaanyi, biyinza okukuyamba okutuuka ku mitima gw’abo b’oyogera nabo.

Kati oli mwetegefu okuwa emboozi? Nedda. Lowooza ku bye weetaaga okwogerako. Ebiseera by’olina kintu kikulu. Olina biseera byenkana wa okutegeerezaamu abalala by’oteeseteese? Olina ddakiika ttaano oba ddakiika ana mu ttaano? Ebiseera bigereke nga bwe kiba mu nkuŋŋaana z’ekibiina, oba si bigereke nga bwe kibeera ng’oyigiriza omuyizi wo owa Baibuli oba ng’okyalidde ow’oluganda okumuzzaamu amaanyi?

N’ekisembayo, bitabo ki by’ogenda okukozesa okunoonyereza? Ng’oggyeko ebyo by’olina awaka, eriyo ebirala by’oyinza okweyambisa mu tterekero ly’ebitabo mu Kizimbe ky’Obwakabaka? Ab’oluganda abaweerezza Yakuwa okumala emyaka mingi bayinza okukwazika ku bitabo byabwe? Mu kitundu kyammwe waliwo etterekero ly’ebitabo erya lukale gy’oyinza okufuna ebitabo eby’okukozesa bwe kiba kyetaagisa?

Okukozesa Baibuli​—Ekitabo Ekisingirayo Ddala Obulungi mu Kunoonyereza

Ky’onoonyerezaako bwe kiba kizingiramu amakulu g’ekyawandiikibwa, tandikira mu Baibuli.

Weetegereze ennyiriri ezikiriraanye. Weebuuze: ‘Ekyawandiikibwa kino kyawandiikirwa ani? Ennyiriri eziriraanyeewo ziraga ki ku ndowooza y’abantu aboogerwako oba ekyaviirako okwogera ebigambo ebyo?’ Ebintu ng’ebyo biyinza okutuyamba okutegeera ekyawandiikibwa, era biyinza okwongera ebbugumu mu mboozi gy’onoowa.

Ng’ekyokulabirako, Abebbulaniya 4:12 lutera okujulizibwa okulaga amaanyi g’Ekigambo kya Katonda mu kutuuka ku mitima n’okukyusa obulamu bw’abantu. Ennyiriri eziriraanyeewo zituyamba okutegeera engeri ekyo gye kiyinzikamu. Zoogera ku byatuuka ku Baisiraeri nga bali mu ddungu okumala emyaka 40 nga tebannayingira mu nsi Yakuwa gye yasuubiza Ibulayimu. (Beb. 3:7–4:13) ‘Ekigambo kya Katonda,’ oba ekisuubizo kye okubaleeta mu kifo eky’okuwummula nga bwe yalagaanya mu ndagaano ya Ibulayimu, kyali kikyaliwo; kyali kiramu era nga kyolekedde okutuukirizibwa. Abaisiraeri baalina ensonga ennungi okukikkiririzaamu. Kyokka, nga Yakuwa abakulembera okuva mu Misiri okutuuka ku Lusozi Sinaayi era n’okweyongerayo nga boolekera Ensi Ensuubize, enfunda n’enfunda tebaayoleka kukkiriza. Bwe kityo, engeri gye beeyisaamu nga Katonda atuukiriza ekisuubizo kye, yayoleka bulungi ekyali mu mitima gyabwe. Mu ngeri y’emu leero, ekisuubizo kya Katonda kiraga ekiri mu mitima gy’abantu.

Kebera ebyawandiikibwa ebirala ebirina akakwate n’ekyo ky’osoma. Baibuli ezimu zirimu ebyawandiikibwa ebirala ebirina akakwate n’ekyawandiikibwa ekiba kisomebwa. Eyiyo ebirina? Bwe kiba bwe kityo, biyinza okukuyamba. Weetegereze ekyokulabirako kimu mu Baibuli. Peetero Ekisooka 3:6 lwogera ku Saala ng’ekyokulabirako ekigwanidde okukoppebwa abakyala Abakristaayo. Ekyawandiikibwa ekirala ekirina akakwate na kino kiri mu Olubereberye 18:12, era kiwagira ensonga eyo nga kiraga nti Saala yayita Ibulayimu mukama we “munda ye.” N’olwekyo, obuwulize bwe bwava mu mutima gwe. Ng’oggyeko okuwa amakulu ng’ago, ebyawandiikibwa ng’ebyo ebirina akakwate n’ekyo ky’oba osoma biyinza okukutwala ku byawandiikibwa ebirala ebiraga okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli oba okw’ebintu ebyogerwako mu ndagaano y’Amateeka. Kyokka, kitegeere nti ebyawandiikibwa ebimu ng’ebyo, tebiyinza kukuyamba mu ngeri eyo. Biyinza kwogera bwogezi ku birowoozo ebifaanagana oba ku bantu oba ku kitundu ekimu eky’ensi.

Noonyereza ng’okozesa Bible Concordance (Olukalala lw’Ebigambo Ebikozesebwa mu Baibuli). Olukalala ng’olwo luyinza okukuyamba okuzuula ebyawandiikibwa ebikwata ku ekyo ky’onoonyerezaako. Ng’obyekenneenya, ojja kuzuula ebintu ebirala ebinaakuyamba. Ojja kulaba obujulizi ‘bw’ebigambo’ eby’amazima ebiri mu Kigambo kya Katonda. (2 Tim. 1:13) New World Translation erimu ekitundu Bible Words Indexed (Olukalala lw’Ebigambo Ebiri mu Baibuli). Ate yo Comprehensive Concordance erimu ebigambo bingi nnyo. Bw’eba mu lulimu lwo, ejja kukutwala ku byawandiikibwa byonna ebirimu ebigambo ebikulu ebikozesebwa mu Baibuli.

Okuyiga Okukozesa Ebintu Ebirala Ebyeyambisibwa mu Kunoonyereza

Akasanduuko akali ku lupapula 33 kamenya ebitabo n’ebintu ebirala ebyeyambisibwa mu kunoonyereza ebituweereddwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45-47) Bingi ku bino birina olukalala olulaga ebirimu, era bingi birina olukalala lw’ensonga enkulu ezoogeddwako emabega, esobola okukuyamba okumanya by’onoonya we biri. Ku buli nkomerero y’omwaka, enkalala z’emitwe egy’ebitundu ebiba bikubiddwa mu mwaka ogwo ziteekebwa mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!

Bw’oba omanyi ebiri mu bitabo nga bino ebiyamba okuyiga Baibuli kijja kukuganyula nnyo mu kunoonyereza. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti oyagala okumanya ebikwata ku bunnabbi, enjigiriza, enneeyisa y’Ekikristaayo oba engeri y’okukozesaamu emisingi egiri mu Baibuli. Omunaala gw’Omukuumi kasobola okubaamu by’onoonya. Awake! eyogera ku biriwo mu nsi, ku bizibu by’omu kiseera kyaffe, ku ddiini, sayansi n’abantu mu nsi ezitali zimu. Ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived kyogera ku biri mu Njiri mu ngeri gye byajja bibaawo. Ebitabo Revelation​—Its Grand Climax At Hand!, Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!, n’ebitabo byombi ebya Isaiah’s Prophecy​—Light for All Mankind binnyonnyola lunyiriri ku lunyiriri ebitabo by’omu Baibuli. Mu katabo Reasoning From the Scriptures, ojja kusangamu eby’okuddamu ebimatiza mu bikumi n’ebikumi by’ebibuuzo ebikwata ku Baibuli ebitera okubuuzibwa mu buweereza bw’ennimiro. Okusobola okutegeera obulungi ebikwata ku madiini amalala, enjigiriza zaago, n’ebyafaayo byago, laba ekitabo Mankind’s Search for God. Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino biri mu kitabo Jehovah’s Witnesses​—Proclaimers of God’s Kingdom. Okumanya ebituukiddwako mu kubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna laba Omunaala gw’Omukuumi aka Jjanwali 1 akaakafuluma. Ekitabo Insight on the Scriptures kinnyonnyola bingi ebiri mu Baibuli era kirimu mmaapu, ebipande n’ebifaananyi. Bw’oba oyagala okumanya kalonda akwata ku bantu, ebifo, ennimi, n’ebintu ebikulu mu byafaayo ebikwataganyizibwa ne Baibuli, ekitabo ekyo kijja kukuyamba nnyo.

“Watch Tower Publications Index.” Ekitabo kino ekikubiddwa mu nnimi ezisukka mu 20, kijja kukutegeeza bingi ebiri mu bitabo eby’enjawulo. Kirimu olukalala lw’emitwe n’olukalala lw’ebyawandiikibwa. Okusobola okukozesa olukalala lw’emitwe, funa ekigambo ekikwata ku mutwe gw’oyagala okwekenneenya. Okukozesa olukalala lw’ebyawandiikibwa, kebera mu lukalala olwo ekyawandiikibwa ky’oyagala okutegeera obulungi. Bwe wabaawo ekitabo ekyakubibwa mu lulimi lwo ekyogera ku mutwe ogwo oba ku kyawandiikibwa ekyo mu myaka Index gy’eyogerako, ojja kusangamu olukalala lw’ebitabo eby’okujulizaako. Olupapula olumu ku ntandikwa ya Index lujja kukuyamba okutegeera ebitabo ebijuliziddwako. (Ng’ekyokulabirako ojja kutegeera nti w99 3/1 15 kitegeeza Omunaala gw’Omukuumi aka Maaki 1, 1999, olupapula 15.) Emitwe emikulu nga “Bye Tusanga mu Buweereza bw’Ennimiro” ne “Ebikwata ku Bulamu bw’Abajulirwa ba Yakuwa” giyinza okukuyamba okuteekateeka emboozi ennungi mu kibiina.

Okuva okunoonyereza bwe kuyinza okukukwata omubabiro, weegendereze oleme okuwugulibwa. Nywerera ku kigendererwa kyo eky’okunoonya ebyetaagisa mu mboozi ekuweereddwa. Index bw’ekujuliza mu kitabo ekimu, bikula ku lupapula olulagiddwa, era kozesa emitwe emitono n’ennyiriri ezisooka mu buli katundu osobole okutuuka ku bye weetaaga. Bw’oba onoonya amakulu g’olunyiriri olumu mu Baibuli, sooka ozuule ekyawandiikibwa ekyo ku lupapula lwe bakujulizzaako. Oluvannyuma weekenneenye ebiriraanyewo ebikyogerako.

“Watchtower Library” eri ku CD-ROM. Bw’oba olina kompyuta, oyinza okuganyulwa mu kukozesa Watchtower Library eri ku CD-ROM, eriko ebitabo ebingi nnyo. Ekusobozesa okunoonya ekigambo kinnakimu, oba ebigambo ebiwerako, oba ekyawandiikibwa ekijuliziddwa mu kitabo kyonna ekiri mu Watchtower Library. Ne bw’otaba na Watchtower Library ku CD-ROM mu lulimi lwo, oyinza okukozesa eyo eri mu lulimi olulala lw’omanyi.

Amaterekero Amalala ag’Ebitabo bya Teyokulase

Mu bbaluwa ye ey’okubiri gye yawandiikira Timoseewo, Pawulo yasaba Timoseewo okumuleetera e Rooma ‘ebitabo, naddala ebyo eby’amaliba.’ (2 Tim. 4:13) Pawulo ebiwandiiko ebimu yabitwala nga bya muwendo era n’abitereka. Naawe oyinza okukola kye kimu. Otereka obutabo bwo obwa Omunaala gw’Omukuumi, Awake! ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka wadde nga bumaze okusomebwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina? Bwe kiba bwe kityo, ojja kubikozesa mu kunoonyereza, awamu n’ebitabo ebirala eby’Ekikristaayo by’olina. Ebibiina bingi bitereka ebitabo bya teyokulase mu tterekero ly’ebitabo eriba mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Ab’omu kibiina bayinza okubikozesa mu kunoonyereza nga bali mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

Beera ne Fayiro mw’Otereka Ebintu Byo

Weetegerezenga ebintu by’oyinza okukozesa ng’oyogera era ng’oyigiriza. Singa osanga mu mpapula z’amawulire oba magazini ekintu ekiyinza okukuyamba mu buweereza bwo, gamba ng’eky’okulabirako oba emiwendo egimu, kikoppolole okitereke. Wandiika olunaku lw’omwezi olw’olupapula lw’amawulire, magazini oba ekitabo, n’omutwe gwabyo oba erinnya ly’omuwandiisi waabyo. Ng’oli mu nkuŋŋaana z’ekibiina, wandiika ensonga n’ebyokulabirako ebiyinza okukuyamba okunnyonnyola abalala amazima. Wali olowoozezza ku kyokulabirako ekirungi kyokka n’oba nga toyinza kukikozesa mu kiseera ekyo? Kiwandiike era okitereke mu fayiro. Oluvannyuma lw’okubeera mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda okumala ekiseera, ojja kuba owadde emboozi eziwerako. Mu kifo ky’okusuula by’owandiise oluvannyuma lw’okuwa emboozi, bitereke. Ebyo by’onoonyerezzaako bijja kukuyamba oluvannyuma.

Nnyumya n’Abantu

Bingi by’oyinza okuyiga okuva ku bantu abalala. Lukka bwe yali awandiika ebiri mu Njiri ye, awatali kubuusabuusa bingi bye yawandiika yabifuna ng’abuuza abantu abaalabako n’agaabwe. (Luk. 1:1-4) Oboolyawo Mukristaayo munno ayinza okukutangaaza ku kintu ky’obadde onoonyerezaako. Okusinziira ku Abeefeso 4:8, 11-16, Kristo akozesa ‘ebirabo mu bantu’ okutuyamba okukula mu ‘kumanya okutuufu okw’Omwana wa Katonda.’ Bw’obuuza ebibuuzo abo abamaze ebbanga nga baweereza Katonda ojja kufuna ebirowoozo ebirungi. Okunyumya n’abalala kiyinza okukuyamba okutegeera endowooza yaabwe, era kino kiyinza okukuyamba okuteekateeka emboozi ennungi.

Sengeka by’Onoonyerezzaako

Oluvannyuma lw’okukungula ebinywebwa, biggibwako ebikuta. Bwe kiba n’oluvannyuma lw’okunoonyereza. Nga tonnakozesa by’onoonyerezza, weetaaga okwawula ebyetaagisa okuva ku biteetaagisa.

Bw’oba ogenda kuwa mboozi, weebuuze: ‘Ensonga gye ŋŋenda okukozesa ddala erina eky’omuganyulo ky’eyongera ku mutwe gwe ŋŋenda okwogerako? Ne bwe kiba nti bye nfunye bisanyusa, binaawugula abampuliriza okuva ku mutwe gwe nnina okwogerako?’ Bw’oba oyagala okukozesa ebyakabaawo mu nsi, oba ebikwata ku sayansi oba eby’ekisawo, kakasa nti by’okozesa bippya. Era kitegeere nti ebintu ebimu mu bitabo byaffe ebikadde biyinza okuba byalongoosebwamu, n’olwekyo kozesa ebitabo ebyakakubibwa ebikwata ku mutwe gw’oyogerako.

Olina okwegendereza singa osalawo okukozesa ebitabo ebitali bya kibiina. Teweerabira nti Ekigambo kya Katonda ge mazima. (Yok. 17:17) Yesu alina ekifo ekikulu mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda. N’olwekyo, Abakkolosaayi 2:3 wagamba: ‘Mu ye mukwekeddwamu amagezi n’okumanya.’ Weetegereze by’onoonyerezzaako ng’olina ekyo mu birowoozo. Ku bikwata ku by’onoonyerezza mu bitabo by’ensi, weebuuze: ‘Ebyogeddwa bisavuwaziddwa, biteeberezebwa buteeberezebwa oba tebiganyula kiseera kyonna? Abaabiwandiika baali beenoonyeza byabwe oba nsimbi? Ebitabo ebirala bikkiriziganya nabyo? N’ekisinga obukulu, bikwatagana n’amazima agali mu Baibuli?’

Engero 2:1-5 zitukubiriza okweyongera okunoonya okumanya, okutegeera n’amagezi ‘nga ffeeza, era ng’eby’obugagga ebyakwekebwa.’ Ekyo kitegeeza okufuba era kivaamu emikisa mingi. Okunoonyereza kwetaagisa okufuba, naye bw’okikola kijja kukusobozesa okutegeera endowooza ya Katonda, okutereeza endowooza enkyamu, era n’okunywerera ku mazima. Kijja kuviirako emboozi zo okuba ennyuvu, onyumirwe okuziwa era zinyumire n’abakuwuliriza.

BIRUWA KU BINO BY’OLINA?

  • New World Translation of the Holy Scriptures

  • Comprehensive Concordance

  • Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!

  • Reasoning From the Scriptures

  • Jehovah’s Witnesses​—Proclaimers of God’s Kingdom

  • Insight on the Scriptures

  • Watch Tower Publications Index

  • Watchtower Library eri ku CD-ROM

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share