Ekitabo Ekipya Ekituyamba Okunoonyereza
Ababuulizi bangi okwetooloola ensi yonna baganyuddwa nnyo mu kukozesa ekitabo Watch Tower Publications Index nga banoonyereza. Naye olw’okuba ekitabo kino kirimu ebintu bingi, kyavvuunulwa mu nnimi ntono nnyo. N’olw’ensonga eyo, ekitabo ekirala ekirina omutwe ogugamba nti Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza kyafulumizibwa era kati kyakavvuunulwa mu nnimi nga 170. Ebitabo eby’okunoonyerezaamu ebiragibwa mu kitabo kino by’ebyo ebyafulumizibwa okuva mu mwaka gwa 2000 n’okudda waggulu. Ekitabo kino tekikubibwa mu nnimi ezirina Watch Tower Publications Index naye kiteekebwa ku Watchtower Library eri ku CD oba ku Layibulale ez’ennimi ezo eziri ku mukutu gwaffe. Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza kisobola okukuyamba okunoonyereza eby’okuddamu mu bibuuzo ebikwata ku njigiriza za Bayibuli n’ebikwata ku bulamu obwa bulijjo, era kisobola okukuyamba okweteekerateekera enkuŋŋaana n’okusinza kw’amaka.