LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 3/15 lup. 7-9
  • Oyinza Otya Okuwa Abalala Amagezi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyinza Otya Okuwa Abalala Amagezi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • Lwaki Tusaanidde Okusaba Abalala Okutuwa Amagezi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Engeri gy’Oyinza Okuwaamu Abalala Amagezi Amalungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Engeri y’Okunoonyerezaamu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ekitabo Ekipya Ekituyamba Okunoonyereza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 3/15 lup. 7-9

Oyinza Otya Okuwa Abalala Amagezi?

Waliwo omuntu eyali akusabye omuwe ku magezi? Ng’ekyokulabirako, waliwo eyali akubuuzizza ebibuuzo nga bino: ‘Nkole ntya? Ŋŋende ku kabaga kano? Nkole omulimu guno? Omuntu ono mutuufu okuwasa oba okufumbirwa?’

Omuntu ayinza okukusaba omuwe ku magezi ng’aliko ebintu by’ayagala okusalawo ebiyinza okukwata ku nkolagana ye ne mikwano gye, n’ab’omu maka ge, oba ne Yakuwa. Onoomuddamu nga weesigama ku magezi go oba ku Kigambo kya Katonda? Kiki ky’otera okukola ng’omuntu akusabye omuwe ku magezi? Nga tonnaba kuwa muntu magezi ku nsonga yonna, kiba kirungi okujjukira ebigambo ebiri mu Engero 15:28 awagamba nti: “Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula.” Lowooza ku ngeri emisingi gya Bayibuli gino etaano gye gisobola okukuyamba okuwa abalala amagezi amalungi.

1 Sooka Otegeere Bulungi Embeera y’Omuntu.

“Addamu nga tannawulira, busirusiru n’ensonyi gy’ali.”​—NGE. 18:13.

Okusobola okuwa omuntu amagezi amalungi, twetaaga okusooka okutegeera embeera ye n’endowooza ye. Ng’ekyokulabirako: Singa omuntu akukubira essimu n’akusaba omulagirire gy’obeera, kiki kye weetaaga okusooka okumanya nga tonnamulagirira? Osobola okumulagirira obulungi nga tosoose kutegeera wa w’ali? Nedda! Mu ngeri y’emu, okusobola okuwa omuntu amagezi amalungi, tuba twetaaga okusooka okutegeera “wa w’ali,” kwe kugamba, embeera ye n’endowooza ye. Kyandiba nti waliwo ebintu ebirala bye weetaaga okusooka okumanya nga tonnaba kumuwa magezi? Bw’owa omuntu amagezi nga tosoose kutegeera bulungi mbeera ye, oyinza okumuwabya.​—Luk. 6:39.

Gezaako Okumanya wa w’Atuuse mu Kunoonyereza ku Nsonga Eyo. Ate era kiba kirungi okubuuza omuntu ayagala okumuwa amagezi ebibuuzo nga bino: “Misingi ki egya Bayibuli gye walowoozezzaako egisobola okukuyamba?” “Biki ebiyinza okuvaamu singa osalawo bw’otyo?” “Biki bye wanoonyerezza ku nsonga eyo?” “Waliwo amagezi gonna ge wafunye okuva eri abakadde, bazadde bo, oba okuva eri oyo akuyigiriza Bayibuli?”

Ebyo by’addamu mu bibuuzo ebyo bisobola okutuyamba okumanya wa omuntu oyo w’atuuse mu kunoonyereza ku nsonga eyo era obanga waliwo abalala abaamuwadde ku magezi. Ate era by’addamu biyinza okutuyamba okumanya obanga omuntu oyo ayagala tumubuulire ‘ebyo by’ayagala okuwulira.’​—2 Tim. 4:3.

2 Toyanguyiriza Kuwa Muntu Magezi.

“Buli muntu abe mwangu wa kuwuliriza, alwewo okwogera.”​—YAK. 1:19.

Ebiseera ebimu tuyinza okwanguyiriza okuwa omuntu amagezi. Naye ekyo tekiba kya magezi, nnaddala singa tuba tetunnanoonyereza bulungi ku nsonga eyo. Engero 29:20 wagamba nti: “Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.”

Kiba kirungi okusooka okukakasa nti amagezi g’owa omuntu geesigamiziddwa ku Bayibuli. Sooka weebuuze, ‘Amagezi ge njagala okumuwa galina engeri yonna gye gooleka “omwoyo gw’ensi”?’ (1 Kol. 2:12, 13) Kijjukire nti okuba n’ekiruubirirwa ekirungi ku bwakyo tekimala. Omutume Peetero bwe yamanya nti Yesu yali agenda kuttibwa, yamugamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” Ebyo Peetero bye yayogera bituyigiriza ki? Bwe tuba tetwegenderezza, naffe tuyinza okuwa abantu amagezi agateesigamiziddwa ku “ndowooza ya Katonda” wabula ageesigamiziddwa ku ndowooza y’abantu. (Mat. 16:21-23) Nga kiba kya magezi okusooka okulowooza nga tetunnabaako kye twogera! Tusaanidde okukijjukira nti amagezi gaffe matono nnyo bw’ogageraageranya ku ga Katonda.​—Yob. 38:1-4; Nge. 11:2.

3 Wa Amagezi Ageesigamiziddwa ku Bayibuli.

“Sirina kintu kyonna kye nkola ku bwange; naye ebintu bino mbyogera nga Kitange bwe yanjigiriza.”​—YOK. 8:28.

Bw’oba owa amagezi, otera okugamba, “Singa mbadde nze, nnandibadde . . . ”? Ka kiba nti ekibuuzo omuntu ky’aba akubuuzizza kirabika ng’ekyangu okuddamu, kiba kirungi okukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Wadde nga yalina amagezi mangi nnyo, yagamba nti: “Soogedde ku bwange, naye Kitange kennyini . . . ye yandagira bye nteekwa okwogera.” (Yok. 12:49, 50) Amagezi Yesu ge yawanga n’ebintu byonna bye yayigirizanga byali bituukana n’ebyo Kitaawe by’ayagala.

Ng’ekyokulabirako, mu Lukka 22:49 walaga nti abayigirizwa ba Yesu baamubuuza obanga kyali kituufu okulwanyisa abasajja abaali bazze okumukwata. Omuyigirizwa omu yasikayo ekitala okulwanirira Yesu. Ebyo ebiri mu Matayo 26:52-54 biraga nti ne mu mbeera eyo, Yesu yafuba okuyamba abayigirizwa be okutegeera ekigendererwa kya Yakuwa. Olw’okuba yali amanyi bulungi omusingi oguli mu Olubereberye 9:6 awamu n’obunnabbi obuli mu Zabbuli 22 ne mu Isaaya 53, Yesu yasobola okuwa abayigirizwa be amagezi amalungi agaasobola okuwonya obulamu bw’abantu, era ekyo kyasanyusa Yakuwa.

4 Kozesa Ebitabo by’Omuddu Omwesigwa.

“Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawa emmere yaabwe mu kiseera ekituufu?”​—MAT. 24:45.

Yesu akwasizza omuddu omwesigwa era ow’amagezi obuvunaanyizibwa okutuwa emmere ey’eby’omwoyo. Bwe tuba tetunnawa muntu magezi ku nsonga yonna enkulu, tusooka kunoonyereza mu bitabo by’omuddu omwesigwa?

Ekitabo Watch Tower Publications Index awamu ne Watchtower Librarya bisobola okutuyamba mu kunoonyereza ku nsonga ezitali zimu. Tetusaanidde kwerabira kubikozesa! Bwe tunaabikozesa, tujja kusobola okuzuula amagezi amalungi agakwata ku nsonga ezitali zimu. Osobola okuyamba abalala okumanya engeri y’okukozesaamu Watch Tower Publications Index ne Watchtower Library okunoonyereza ku misingi gya Bayibuli n’okulaba engeri gye giyinza okubayamba okusalawo obulungi? Nga mmaapu bw’eyinza okuyamba omuntu okumanya ekkubo ly’asobola okukwata okusobola okutuuka gy’alaga, ebitabo byaffe bisobola okuyamba omuntu okusalawo mu ngeri eneemuyamba okusigala ku kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.

Abakadde bangi bayambye ab’oluganda okuyiga okukozesa Index oba Watchtower Library okuzuula ebitundu ebyafulumira mu bitabo byaffe n’ebyawandiikibwa bye basobola okukozesa nga baliko ensonga gye baagala okusalawo. Ekyo kiyambye ab’oluganda okuyiga okunoonyereza era n’okukozesa amagezi agali mu bitabo by’omuddu omwesigwa nga baliko bye basalawo. Era amagezi agali mu bitabo byaffe gabayambye mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Mu ngeri eyo, abakadde bayambye ab’oluganda okutendeka obusobozi bwabwe obw’okutegeera okusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.—Beb. 5:14.

5 Weewale Okusalirawo Abalala.

“Buli omu ajja kwetikka omugugu gwe.”​—BAG. 6:5.

Yakuwa awa buli muntu eddembe okusalawo obanga anaakolera ku misingi gye. (Ma. 30:19, 20) Ebiseera ebimu, wayinza okubaawo emisingi gya Bayibuli egiwerako omuntu gy’alina okulowoozaako, naye y’alina okwesalirawo eky’okukola. Omuntu bw’atusaba okumuwa ku magezi, tusaanidde okwebuuza, ‘Ddala nze ŋŋwanidde okumuyamba mu nsonga eno?’ Ebiseera ebimu kiyinza okwetaagisa abakadde okuyamba omuntu oyo. Ate bw’aba nga mwana muto, kiyinza okwetaagisa bazadde be okumuyamba.

[Obugambo obuli wansi]

a Watchtower Library, ekolera ku kompyuta, esobola okufunibwa mu nnimi 39. Ekitabo Watch Tower Publications Index kati kisobola okufunibwa mu nnimi 45.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Bye Muyinza Okukola mu Kusinza kw’Amaka

Ng’amaka, muyinza okusalawo okunoonyereza ku bibuuzo abantu bye baababuuza gye buvuddeko awo. Munoonye ebitundu ebyafulumira mu bitabo byaffe n’emisingi gya Bayibuli ebisobola okuyamba omuntu aba abuuzizza ebibuuzo ng’ebyo. Ng’ekyokulabirako, watya singa ow’oluganda oba mwannyinaffe akusaba omuwe ku magezi ng’aliko omuntu gw’ayagala okutandika okwogerezaganya naye? Osobola okukozesa Index oba Watchtower Library okunoonyereza ku nsonga eyo. Osobola okugenda mu Index wansi w’omutwe “Okwogerezaganya” oba “Obufumbo.” Wansi w’emitwe egyo, ojja kulabawo emitwe emitono egyogera ku nsonga eyo. Bw’oba oliko omutwe gw’okebera, laba obanga waliwo omutwe omulala ogujuliziddwa ogukwatagana n’ensonga gy’onoonyerezaako.

[Akasanduuko akali ku lupapula 9]

Ekibiina kya Yakuwa kituyamba okufuna amagezi agasingayo obulungi era kituyamba okuwa abalala amagezi amalungi. Omubuulizi 12:11 wagamba nti: “Ebigambo eby’abagezigezi biri ng’emiwunda, era ebigambo eby’ebifunvu by’amakuŋŋaaniro biri ng’enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.” “Emiwunda” buba buti obusongovu obukozesebwa okuluŋŋamya ebisolo obutawaba. Amagezi amalungi galinga “emiwunda” kubanga gatuyamba okukwata ekkubo ettuufu. “Ng’enninga,” oba emisumaali, bwe zikozesebwa okuzimba ekizimbe ekinywevu obulungi, amagezi amalungi gayamba omuntu okusalawo obulungi. Abantu ab’amagezi bakkiriza okukolera ku magezi agabaweebwa “omusumba omu,” Yakuwa.

Bwe tuba tuwa abalala amagezi, tusaanidde okukoppa Omusumba waffe, Yakuwa. Tusaanidde okufuba okuwuliriza obulungi oyo aba atusabye okumuwa amagezi era ne tukola kyonna ekisoboka okumuyamba. Singa tuwa abantu amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli, gajja kubaganyula era gajja kubayamba okufuna obulamu obutaggwaawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share