EKITUNDU EKY’OKUSOMA 28
OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go
Lwaki Tusaanidde Okusaba Abalala Okutuwa Amagezi?
“Abanoonya okubuulirirwa baba n’amagezi.”—NGE. 13:10.
EKIGENDERERWA
Kye tulina okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu magezi agatuweebwa.
1. Tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi era ebyo bye tuba tusazeewo ne bivaamu ebirungi? (Engero 13:10; 15:22)
FFENNA twagala okusalawo mu ngeri ey’amagezi era ebyo bye tuba tusazeewo biveemu ebirungi. Bayibuli eraga nti okusobola okusalawo obulungi twetaaga okusaba abalala okutuwa amagezi.—Soma Engero 13:10; 15:22.
2. Kiki Yakuwa ky’asuubiza okutukolera?
2 Kya lwatu, Kitaffe Yakuwa y’asobola okutuwa amagezi n’okubuulirira ebisingayo obulungi. Atusuubiza nti: “Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.” (Zab. 32:8) Ebigambo ebyo biraga nti Yakuwa atuwa magezi gennyini ge twetaaga, era atuyamba okugakolerako.a
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Mu kitundu kino, Bayibuli egenda kutuyamba okuddamu ebibuuzo bino bina: (1) Ngeri ki gy’olina okuba nayo okusobola okuganyulwa mu magezi agakuweebwa? (2) Ani asobola okukuwa amagezi amalungi? (3) Oyinza otya okukiraga nti oyagala okuweebwa amagezi? (4) Lwaki tosaanidde kusaba balala kukusalirawo?
NGERI KI GY’OLINA OKUBA NAYO?
4. Ngeri ki gye tulina okuba nayo bwe tuba twagala okuganyulwa mu magezi amalungi agatuweebwa?
4 Okusobola okuganyulwa mu magezi amalungi agatuweebwa, tulina okuba abeetoowaze. Tusaanidde okukikkiriza nti twetaaga abalala okutuyamba okusalawo obulungi bwe twesanga mu mbeera gye tutabeerangamuko. Ate era tusaanidde okukikkiriza nti tetumanyi buli kimu. Bwe tutaba beetoowaze Yakuwa tajja kutuyamba, era ne bwe tusoma Ekigambo kye tetujja kukitwala nti kikulu okukolera ku magezi g’atuwa. (Mi. 6:8; 1 Peet. 5:5) Naye bwe tuba abeetoowaze, tujja kwanguwa okuwuliriza n’okukolera ku magezi agali mu Bayibuli.
5. Bintu ki Dawudi bye yakola ebyali biyinza okumuviirako okuba ow’amalala?
5 Lowooza ku ekyo kye tuyigira ku Kabaka Dawudi. Wadde nga yakola ebintu ebirungi bingi, teyafuna malala. Bwe yali tannafuuka kabaka, abantu bangi baali bamumanyi nti muyimbi mulungi. Kabaka Sawulo yatuuka n’okumutumya amuyimbirenga. (1 Sam. 16:18, 19) Yakuwa bwe yamala okulonda Dawudi okuba kabaka addako, yamuwa omwoyo omutukuvu ogwamufuula ow’amaanyi. (1 Sam. 16:11-13) Abantu baamutendereza olw’okutta abalabe ba Isirayiri, nga mu bo mwe mwali n’Omufirisuuti omuwagguufu eyali ayitibwa Goliyaasi. (1 Sam. 17:37, 50; 18:7) Singa Dawudi yali wa malala, yandibadde alowooza nti olw’ebyo bye yali atuuseeko, yali teyeetaaga balala kumuwa magezi. Kyokka Dawudi yali mwetoowaze.
6. Tumanya tutya nti Dawudi yali ayagala okuweebwa amagezi n’okuwabulwa? (Laba n’ekifaananyi .)
6 Dawudi bwe yafuuka kabaka, yalonda emikwano egyali gisobola okumuwa amagezi amalungi n’okumuwabula. (1 Byom. 27:32-34) Ekyo tekyewuunyisa kubanga bulijjo Dawudi yabanga mwetegefu okukolera ku magezi amalungi abalala ge baamuwanga. Yakkirizanga amagezi agamuweebwanga abasajja, kyokka era yakkiriza n’amagezi agaamuweebwa omukazi ayitibwa Abbigayiri. Abbigayiri yali mukyala wa Nabbali, omusajja eyali ow’amalala, atasiima, era atassa kitiibwa mu balala. Dawudi yayoleka obwetoowaze n’akolera ku magezi amalungi Abbigayiri ge yamuwa, bw’atyo ne yeewala okukola ensobi ey’amaanyi.—1 Sam. 25:2, 3, 21-25, 32-34.
Kabaka Dawudi yayoleka obwetoowaze n’akolera ku magezi Abbigayiri ge yamuwa (Laba akatundu 6))
7. Biki bye tuyigira ku Dawudi? (Omubuulizi 4:13) (Laba n’ebifaananyi.)
7 Waliwo bye tusobola okuyigira ku Dawudi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba n’ebitone oba nga tulina obuyinza ku balala. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kulowooza nti tumanyi buli kimu era nti tetwetaaga kuwabulwa. Ate era okufaananako Dawudi tulina okuwuliriza amagezi amalungi agatuweebwa, k’abe ani aba agatuwadde. (Soma Omubuulizi 4:13.) Bwe tukola bwe tutyo, kisobola okutuyamba okwewala okukola ensobi eziyinza okutuleetera ebizibu eby’amaanyi oba okubireetera abalala.
Tusaanidde okuba abeetegefu okuwuliriza amagezi amalungi k’abe ani aba agatuwadde (Laba akatundu 7)d
ANI ASOBOLA OKUKUWA AMAGEZI AMALUNGI?
8. Lwaki Yonasaani yali asobola okuwa Dawudi amagezi amalungi?
8 Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku Dawudi. Yawuliriza amagezi agaali gava eri abantu abaalina enkolagana ennungi ne Yakuwa era abaali bategeera obulungi embeera gye yalimu. Ng’ekyokulabirako, Dawudi bwe yali ayagala okumanya obanga yali asobola okuddamu okukolagana ne Kabaka Sawulo, yawuliriza amagezi Yonasaani mutabani wa Sawulo ge yamuwa. Lwaki Yonasaani yali asobola okuwa Dawudi amagezi amalungi? Kubanga Yonasaani yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa era ng’amanyi bulungi Sawulo. (1 Sam. 20:9-13) Ekyo kituyigiriza ki?
9. Ani gwe tusaanidde okwebuuzaako nga tulina amagezi ge twetaaga? Waayo ekyokulabirako. (Engero 13:20)
9 Bwe tuba twagala okufuna amagezi amalungi, tusaanidde okwebuuza ku muntu alina enkolagana ennungi ne Yakuwa era alina obumanyirivu ku nsonga gye twagala okusalawo.b (Soma Engero 13:20.) Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti ow’oluganda omuvubuka anoonya omuntu ow’okuwasa. Ani asobola okumuwa amagezi amalungi? Mukwano gwe atali mufumbo asobola okumuwa amagezi amalungi bwe gaba nga geesigamiziddwa ku Bayibuli. Naye ow’oluganda oyo asobola okufuna amagezi agasingako obulungi era agatuukirawo, singa yeebuuza ku bafumbo abakulu mu by’omwoyo, abamumanyi obulungi, era abamaze ekiseera nga basanyufu mu bufumbo bwabwe.
10. Nsonga ki ebbiri ze tugenda okulaba?
10 Tulabye engeri gye tusaanidde okuba nayo era n’ani asobola okutuwa amagezi amalungi. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukiraga nti twagala okuweebwa amagezi, era n’ensonga lwaki tetusaanidde kusaba balala kutusalirawo.
OYINZA OTYA OKUKIRAGA NTI OYAGALA OKUWEEBWA AMAGEZI?
11-12. (a) Kiki kye tusaanidde okwewala okukola? (b) Kiki Kabaka Lekobowaamu kye yakola ng’aliko ensonga enkulu gy’agenda okusalawo?
11 Emirundi egimu omuntu ayinza okusaba abalala okumuwa amagezi, kyokka bw’aba yasazeewo dda ekyo ky’ayagala okukola, aba ayagala bwagazi kumanya obanga abalala bakkiriziganya n’ekyo kye yasazeewo. Omuntu ng’oyo aba tayagala kuweebwa magezi. Waliwo ky’asobola okuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Lekobowaamu.
12 Lekobowaamu yafuuka kabaka wa Isirayiri oluvannyuma lwa kitaawe, Kabaka Sulemaani, okufa. Lekobowaamu we yafuukira kabaka abantu baali bagagga nnyo, naye baali bawulira nti okuva mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani, baali bakola emirimu emikakali. Abantu bajja eri Lekobowaamu ne bamwegayirira akendeeze ku mirimu egyo. Yabasaba bamuweemu ekiseera alowooze ku nsonga eyo. Yasooka ne yeebuuza ku basajja abakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani. (1 Bassek. 12:2-7) Kyokka yagaana okukolera ku magezi ge baamuwa. Lwaki? Oboolyawo yali amaze okusalawo ekyo ky’ayagala okukola, era ng’asuubira nti abasajja abakadde bajja kukkiriziganya naye. Naye bwe batakkiriziganya naye, yeebuuza ku bavubuka banne be yali akuze nabo era bakkiriziganya n’ekyo kye yali ayagala. (1 Bassek. 12:8-14) Bwe kityo, Lekobowaamu yaddamu abantu ng’asinziira ku ekyo abavubuka kye baali bamugambye. N’ekyavaamu, abantu bangi baamujeemera era ne balonda ne kabaka omulala. Ekyo kyaleetera Lekobowaamu ebizibu bingi.—1 Bassek. 12:16-19.
13. Bwe tuba nga ddala twagala abalala okutuwa amagezi, kiki kye tusaanidde okwewala?
13 Kiki kye tuyigira ku Lekobowaamu? Tetusaanidde kusooka kusalawo kye twagala ate oluvannyuma ne tusaba abalala okutuwa amagezi. Tulina okuba abeetegefu okuwuliriza amagezi ge batuwa. N’olwekyo tusaanidde okwebuuza nti, ‘Bwe nsaba abalala okumpa amagezi, ngagaana olw’okuba tegakwatagana n’ekyo kye njagala okuwulira?’ Lowooza ku kyokulabirako kino.
14. Bwe tuweebwa amagezi, kiki kye tusaanidde okujjukira? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)
14 Ka tugambe waliwo ow’oluganda gwe basuubizza okuwa omulimu ogusasula obulungi. Ng’atannakkiriza mulimu ogwo, asaba omu ku bakadde amuwe ku magezi. Agamba omukadde nti omulimu ogwo gujja kumwetaagisa okumalanga ekiseera kiwanvuko nga tali na ba mu maka ge. Omukadde ajjukiza ow’oluganda oyo omusingi oguli mu Bayibuli ogulaga nti obuvunaanyizibwa bwe obukulu bwa kulabirira ab’omu maka ge mu by’omwoyo. (Bef. 6:4; 1 Tim. 5:8) Ka tugambe nti ow’oluganda oyo takkiriziganyizza n’ekyo omukadde ky’amugambye, era n’abaako abalala mu kibiina b’abuuza okutuusa lw’afuna amugamba nti asobola okukola omulimu ogwo. Ddala ow’oluganda oyo aba ayagala okumuwa amagezi, oba aba yasazeewo dda ng’anoonya muntu anakkiriziganya n’ekyo kye yasazeewo? Tulina okukijjukira nti omutima gwaffe mulimba. (Yer. 17:9) Ebiseera ebimu, amagezi agatuweebwa si ge tuba twagala okuwulira, naye ge tuba twetaaga.
Ddala tunoonya amagezi amalungi, oba tunoonya omuntu anakkiriziganya n’ekyo kye tumaze okusalawo? (Laba akatundu 14)
OSAANIDDE OKUSABA ABALALA BAKUSALIREWO?
15. Kiki kye tusaanidde okwewala, era lwaki?
15 Buli omu ku ffe alina okwesalirawo. (Bag. 6:4, 5) Nga bwe tulabye, omuntu ow’amagezi asalawo ng’asinziira ku Kigambo kya Katonda ne ku magezi agamuweebwa Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Kyokka tetusaanidde kusaba balala kutusalirawo. Abamu bayinza okugamba omuntu gwe beesiga nti, “Kiki kye wandikoze singa gw’obadde mu mbeera ng’eno?” Ate abalala bakoppa bukoppi ebyo abalala bye baba basazeewo.
16. Kiki Abakristaayo mu kibiina ky’e Kkolinso kye baalina okusalawo bwe kyatuuka ku kulya ennyama eyali eweereddwayo eri ebifaananyi? (1 Abakkolinso 8:7; 10:25, 26)
16 Lowooza ku ekyo Abakristaayo mu kibiina ky’e Kkolinso kye baalina okusalawo bwe kyatuuka ku kulya ennyama eyinza okuba nga yali eweereddwayo eri ebifaananyi. Pawulo yabagamba nti: “Tukimanyi nti ekifaananyi tekirina mugaso mu nsi, era waliwo Katonda omu yekka.” (1 Kol. 8:4) Olw’ebigambo bya Pawulo ebyo, abamu baasalawo nti baali basobola okulya ennyama eyali etundibwa mu butale wadde ng’eyinza okuba yabanga eweereddwayo eri ebifaananyi. Ate abalala baasalawo obutalya nnyama eyo kubanga omuntu waabwe ow’omunda yandibadde abalumiriza. (Soma 1 Abakkolinso 8:7; 10:25, 26.) Buli Mukristaayo yalina okwesalirawo ku nsonga eyo. Pawulo teyakubiriza Bakristaayo abo kusalirawo balala oba okukoppa ebyo abalala bye baabanga basazeewo. Buli omu ku bo yali ajja kwennyonnyolako “ku lulwe mu maaso ga Katonda.”—Bar. 14:10-12.
17. Kiki ekiyinza okubaawo singa tusalawo busazi ng’abalala bwe baba basazeewo? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ebifaananyi.)
17 Ekintu ekifaananako bwe kityo kiyinza kitya okubaawo leero? Lowooza ku nsonga ekwata ku butundutundu obuggibwa mu musaayi. Buli Mukristaayo alina okwesalirawo obanga anakkiriza okuteekebwako obutundutundu obuggibwa mu musaayi oba anaabugaana.c Tuyinza okuba nga tetutegeera bulungi bikwata ku butundutundu obuggibwa mu musaayi, naye buli Mukristaayo y’asaanidde okwesalirawo ku nsonga eno. (Bar. 14:4) Bwe tukoppa obukoppi ekyo abalala kye baba basazeewo, kiyinza okunafuya omuntu waffe ow’omunda. Naye bwe tutendeka omuntu waffe ow’omunda nga tukozesa Ekigambo kya Katonda, aba ajja kutuyamba okusalawo obulungi. (Beb. 5:14) Kati olwo ddi lwe tusaanidde okusaba Omukristaayo akuze mu by’omwoyo okutuwa ku magezi? Ekyo tukikola nga tumaze okukola okunoonyereza okwaffe, naye nga tukyetaaga okumanya engeri emisingi gya Bayibuli gye gikwata ku mbeera yaffe.
Tusaanidde okusaba abalala okutuwa amagezi nga naffe tumaze okukola okunoonyereza okwaffe (Laba akatundu 17)
WEEYONGERE OKUNOONYA AMAGEZI
18. Biki Yakuwa by’atukoledde?
18 Yakuwa akiraze nti atwesiga, ng’atuleka okwesalirawo. Atuwadde Ekigambo kye Bayibuli okutuyamba okusalawo obulungi. Ate era atuwadde ab’emikwano abalungi abasobola okutuyamba okutegeera obulungi emisingi egiri mu Bayibuli. Bwe kityo Yakuwa akiraze nti atufaako nnyo nga Kitaffe atwagala. (Nge. 3:21-23) Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ebyo Yakuwa by’atukolera?
19. Tuyinza tutya okweyongera okusanyusa Yakuwa?
19 Abazadde basanyuka nnyo abaana baabwe bwe bakula ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa abooleka amagezi era abayamba abalala. Mu ngeri y’emu Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, nga tunoonya amagezi, era nga tusalawo mu ngeri emuweesa ekitiibwa.
OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?
a Mu Bayibuli, ebigambo “okuwa amagezi” ne “okuwabula” bisobola okutegeeza ekintu kye kimu. Mu kitundu kino n’ekiddako ebigambo byombi bigenda kukozesebwa.
b Abakristaayo bayinza n’okwebuuza ne ku bantu abataweereza Yakuwa ku bintu gamba ng’eby’enfuna, eby’obujjanjabi, oba ku bintu ebirala.
c Okumanya ebisingawo laba ensonga 5 mu ssomo 39, n’ekitundu “Laba Ebisingawo,” mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!
d EKIFAANANYI KU : Omukadde awabula mukadde munne olw’engeri gye yayogeddemu nga bali mu lukuŋŋaana.