EKITUNDU EKY’OKUSOMA 29
OLUYIMBA 87 Jjangu Ozzibwemu Amaanyi
Engeri gy’Oyinza Okuwaamu Abalala Amagezi Amalungi
“Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.”—ZAB. 32:8.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri gye tusobola okuwaamu abalala amagezi agasobola okubayamba.
1. Ani alina okutuwa amagezi? Nnyonnyola.
KIKWANGUYIRA okuwa abalala amagezi? Abamu kibanguyira okuwa amagezi, naye abalala batya era tekibanguyira kuwa magezi. Ka kibe nti kitwanguyira okuwa amagezi oba nedda, emirundi egimu tuba tulina okuwa abalala amagezi. Lwaki? Kubanga Yesu yagamba nti abagoberezi be ab’amazima bandibadde bategeererwa ku kwagala kwe balagaŋŋana. (Yok. 13:35) Emu ku ngeri gye tukiraga nti twagala baganda baffe ne bannyinaffe, kwe kubawa amagezi bwe kiba kyetaagisa. Bayibuli egamba nti ‘omukwano’ gweyongera okukula singa mukwano gwo “akuwabula mu bwesimbu.”—Nge. 27:9.
2. Kiki abakadde kye bateekwa okuba nga basobola okukola era lwaki? (Laba n’akasanduuko “Okuwabula mu Lukuŋŋaana lwa Wakati mu Wiiki.”)
2 Okusingira ddala abakadde basaanidde okumanya engeri y’okuwaamu abalala amagezi amalungi. Okuyitira mu Yesu, Yakuwa alonze abasajja abo okuweereza ng’abasumba mu kibiina. (1 Peet. 5:2, 3) Emu ku ngeri gye batuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe obwo kwe kuyigiriza mu kibiina. Ate era basaanidde okuwabula ab’oluganda kinnoomu, nga mw’otwalidde n’abo ababa bawabye okuva mu kisibo. Abakadde n’ab’oluganda ffenna, tuyinza tutya okuwa abalala amagezi amalungi?
3. (a) Tuyinza tutya okuyiga okuwa abalala amagezi amalungi? (Isaaya 9:6; laba n’akasanduuuko “Koppa Yesu bw’Oba Owa Abalala Amagezi.”) (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Tusobola okuyiga okuwa abalala amagezi amalungi nga tusoma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaali abawi b’amagezi abalungi. Ng’ekyokulabirako, Yesu yawanga abalala amagezi amalungi. Yesu ayitibwa “Omuwi w’Amagezi ow’Ekitalo,” era ekyo kye kimu ku bitiibwa by’alina. (Soma Isaaya 9:6.) Mu kitundu kino tugenda kulaba ekyo kye tusobola okukola singa wabaawo atusabye okumuwa amagezi, n’ekyo kye tulina okukola singa tuba tulina okuwabula omuntu nga tatusabye. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okuwa abalala amagezi mu kiseera ekituufu era mu ngeri entuufu.
BWE WABAAWO ATUSABYE OKUMUWA AMAGEZI
4-5. Omuntu bw’atusaba okumuwa amagezi, kibuuzo ki kye tusaanidde okusooka okwebuuza? Waayo ekyokulabirako.
4 Omuntu bw’akusaba okumuwa amagezi, oyinza okusanyuka olw’okuba aba akwesize, era oyinza okwagala okugamuwa amangu ddala. Naye osaanidde okwebuuza nti, ‘Ensonga gy’ambuuzaako ngitegeera bulungi era nsobola okumuwa amagezi amalungi?’ Ebiseera ebimu, engeri eba esingayo obulungi gy’osobola okuyambamu omuntu aba akwebuuzizzaako, kwe kumusindika eri omuntu ategeera obulungi ensonga eyo.
5 Ng’ekyokulabirako, mukwano gwo ayinza okulwala obulwadde obw’amaanyi, era n’akugamba nti atandise okunoonyereza ku bujjanjabi obw’enjawulo. Akusaba omubuulire obujjanjabi bw’olowooza nti bwe businga. Wadde ng’oyinza okuba olina obujjanjjabi bw’oyagala aweebwe, osaanidde okukijjukira nti toli musawo era nti tewatendekebwa kujjanjaba bulwadde obwo. Mu mbeera ng’eyo, engeri gy’osobola okuyambamu mukwano gwo, kwe kumuyamba okufuna omuntu eyatendekebwa okujjanjaba obulwadde bw’alina.
6. Lwaki kirungi obutapapa kuwa muntu magezi?
6 Ne bwe kiba nti tuwulira nti tusobola okuwa omuntu amagezi ku nsonga emu, tuyinza okusalawo okulindako okugamuwa. Lwaki? Engero 15:28 wagamba nti: ‘Omutuukirivu afumiitiriza nga tannaba kwanukula.’ Naye watya singa tuba tumanyi amagezi ag’okumuwa? Ne bwe kiba kityo, kiba kirungi obutapapa, ne tusooka tunoonyereza, ne tusaba, era ne tufumiitiriza. Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu nti amagezi ge tumuwa gakwatagana n’ekyo Yakuwa ky’ayagala. Lowooza ku nnabbi Nasani.
7. Kiki kye tuyigira ku nnabbi Nasani?
7 Kabaka Dawudi yagamba nnabbi Nasani nti yali ayagala kuzimbira Yakuwa yeekaalu. Nga tasoose kulowooza, Nasani yagamba Dawudi nti yali asobola okugizimba. Naye Nasani yandibadde asooka kwebuuza ku Yakuwa. Lwaki? Kubanga Dawudi si y’oyo Yakuwa gwe yali ayagala okumuzimbira yeekaalu. (1 Byom. 17:1-4) Ng’ekyokulabirako ekyo bwe kiraga, omuntu bw’atusaba okumuwa amagezi, kiba kirungi obutayanguyiriza ‘kwogera.’—Yak. 1:19.
8. Nsonga ki endala eyandituleetedde okwegendereza nga tetunnawa muntu magezi?
8 Lowooza ku nsonga endala lwaki tusaanidde okwegendereza nga tetunnawa muntu magezi. Bwe tuwa omuntu amagezi amakyamu, tuba tuvunaanyizibwa singa afuna ebizibu. N’olwekyo, kikulu nnyo okusooka okulowooza nga tetunnawa muntu magezi.
OKUWABULA OMUNTU ATAKUSABYE KUMUWABULA
9. Nga tebannawabula muntu, abakadde balina kuba bakakafu ku ki? (Abaggalatiya 6:1)
9 Emirundi egimu, abakadde baba balina okuwabula ow’oluganda oba mwannyinaffe akutte “ekkubo ekkyamu.” (Soma Abaggalatiya 6:1.) Omuntu ayinza okuba nga by’asalawo si bya magezi era nga biyinza okumuviirako okukola ekibi eky’amaanyi. Abakadde baba n’ekiruubirirwa eky’okuyamba omuntu oyo okusigala mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. (Yak. 5:19, 20) Kyokka okusobola okumuwabula, balina okusooka okukakasa nti ddala omuntu oyo akutte ekkubo ekkyamu. Abakadde basaanidde okukijjukira nti owoluganda bw’asalawo ekintu ekyawukana ku ekyo kye balowooza, ekyo tekitegeeza nti aba akoze ekibi mu maaso ga Yakuwa. (Bar. 14:1-4) Watya singa ow’oluganda aba akutte ekkubo ekkyamu, era abakadde ne basalawo nti balina okumuwabula?
10-12. Kiki abakadde kye balina okukola bwe baba nga balina okuwabula ow’oluganda naye ng’abadde tabasabye kumuwabula? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ebifaananyi.)
10 Si kyangu abakadde okuwabula omuntu nga si y’abasabye okumuwabula. Lwaki? Omutume Pawulo yagamba nti omuntu ayinza okukwata ekkubo ekkyamu naye nga tannakimanya. N’olwekyo abakadde basaanidde okusooka okuteekateeka omuntu oyo kimwanguyire okubawuliriza nga bamuwabula.
11 Okuwabula omuntu nga takusabye kiringa okusiga ensigo mu ttaka erikaluba. Omulimi nga tannasiga nsigo mu ttaka eryo aba alina okusooka okulikabala. Ekyo kiyamba ettaka okugonda era aba asobola okulisigamu ensigo. Oluvannyuma afuukirira ensigo gy’aba asimbye esobole okukula. Mu ngeri y’emu, omukadde bw’aba agenda okuwabula omuntu naye ng’omuntu oyo tamusabye, aba alina okusooka okuteekateeka omuntu oyo. Ng’ekyokulabirako, afunayo ekiseera n’ayogerako n’ow’oluganda oyo. Amukakasa nti amufaako era nti waliwo ekintu kye yandyagadde okwogerako naye. Oyo awabula bw’aba ng’amanyiddwa ng’omuntu alaga abalala okwagala era ow’ekisa, kiba kyangu abo b’awabula okukkiriza okuwabula kw’abawa.
12 Omukadde bw’aba ayogera n’ow’oluganda oyo, amuyamba okukiraba nti buli muntu akola ensobi era ng’oluusi yeetaaga okuwabulwa. (Bar. 3:23) Omukadde ayogera n’obukakkamu era mu ngeri eraga nti assaamu ow’oluganda oyo ekitiibwa, era akozesa Ebyawandiikibwa okumuyamba okukitegeera nti akutte ekkubo ekkyamu. Ow’oluganda oyo bw’akitegeera nti yakoze ensobi, omukadde ‘asiga ensigo,’ kwe kugamba, amunnyonnyola ekyo ky’alina okukola okusobola okulongosaamu. Ku nkomerero omukadde “afukirira” ensigo, kwe kugamba, ng’asiima ow’oluganda oyo mu bwesimbu era ng’asabirako wamu naye.—Yak. 5:15.
Abakadde bwe baba bawabula omuntu atabasabye kumuwabula, basaanidde okukikola mu ngeri ey’amagezi era ey’okwagala (Laba akatundu 10-12)
13. Abakadde bayinza batya okukakasa obanga omuntu ategedde okuwabula kwe bamuwadde?
13 Ebiseera ebimu, oyo gwe bawabula ayinza obutategeera bulungi oyo awabula by’amugamba. Kiki abakadde kye basobola okukola okwewala ekyo okubaawo? Basobola okubaako ebibuuzo bye babuuza omuntu oyo mu ngeri ey’amagezi era eraga nti bamussaamu ekitiibwa, okukakasa obanga ategedde okuwabula kwe bamuwadde. (Mub. 12:11) Ebyo by’abaddamu bibayamba okukakasa obanga ategedde okuwabula kwe bamuwadde.
OKUWABULA MU NGERI ENTUUFU ERA MU KISEERA EKITUUFU
14. Lwaki tetusaanidde kuwabula balala nga tuli basunguwavu?
14 Ffenna tetutuukiridde, n’olwekyo emirundi mingi twogera oba tukola ebintu ebinyiiza abalala. (Bak. 3:13) Bayibuli eraga nti emirundi egimu abalala bayinza okukola ebintu ebiyinza okutusunguwaza. (Bef. 4:26) Naye tetulina kubawabula nga tuli basunguwavu. Lwaki? Kubanga “obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.” (Yak. 1:20) Bwe tuwabula abalala nga tuli basunguwavu, kiyinza okusajjula embeera. Kyokka ekyo tekitegeeza nti tetusaanidde kubuulira oyo aba atunyiizizza ngeri gye twewuliramu, oba ekyo kye tulowoooza. Naye tusaanidde okusooka okukakkana ne tulyoka twogera n’omuntu oyo. Waliwo kye tuyigira ku Eriku eyawabula Yobu mu ngeri ennungi.
15. Kiki kye tuyigira ku Eriku? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Eriku yamala ennaku eziwerako ng’awuliriza Yobu nga yeewoozaako olw’ebintu eby’obulimba mikwano gye bye baali bamwogeddeko. Eriku yasaasira Yobu. Naye Eriku yasunguwala nnyo Yobu bwe yagezaako okwewozaako ng’ayogera ebintu ebitali bituufu ku Yakuwa. Wadde kyali kityo, Eriku yalinda ekiseera ekituufu okwogera. Bwe yali awabula Yobu, yayogera naye mu ngeri ey’obukakkamu era eraga nti yali amussaamu ekitiibwa. (Yob. 32:2; 33:1-7) Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku Eriku: Tusaanidde okuwabula abalala mu kiseera ekituufu era mu ngeri entuufu. Ate era ekyo tusaanidde okukikola mu ngeri eraga nti tubaagala era nti tubassaamu ekitiibwa.—Mub. 3:1, 7.
Wadde nga mu kusooka Eriku yali musunguwavu, yawabula Yobu mu ngeri ey’obukakkamu era eraga nti amussaamu ekitiibwa (Laba akatundu 15)
WEEYONGERE OKUWABULA ABALALA ERA NAAWE KKIRIZA OKUWABULWA
16. Kiki kye tuyize mu Zabbuli 32:8?
16 Ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino kigamba nti: ‘Yakuwa atubuulirira ng’eriiso lye lituliko.’ (Soma Zabbuli 32:8.) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa ajja kweyongera okutuyamba. Atusuubiza okutuwa amagezi n’okutuyamba okugakolerako. Yakuwa atuteereddewo ekyokulabirako ekirungi! Naffe bwe tufuna enkizo ey’okuwabula abalala oba okubawa amagezi, tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tweyongera okubazzaamu amaanyi era nga tubayamba okusalawo obulungi.
17. Tuwulira tutya abakadde bwe batuwa amagezi amalungi okuva mu Bayibuli? Nnyonnyola. (Isaaya 32:1, 2)
17 Mu kiseera kino twetaaga okuwa abalala amagezi amalungi, n’okukkiriza okuweebwa amagezi okusinga bwe kyali kibadde. (2 Tim. 3:1) Abakadde abawa amagezi amalungi era ageesigamiziddwa ku Bayibuli, balinga “emigga mu nsi etaliimu mazzi.” (Soma Isaaya 32:1, 2.) Kitusanyusa nnyo okuba n’ab’emikwano abalungi abatalonzalonza kutuwa magezi ge twetaaga. Ebigambo byabwe biringa “apo eza zzaabu eziri mu bbakuli eza ffeeza.” (Nge. 25:11) Ffenna ka tweyongere okuyiga engeri y’okuwaamu abalala amagezi amalungi era n’okukkiriza amagezi agatuweebwa.
OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima