EKITUNDU EKY’OKUSOMA 25
Weesige Yakuwa ng’Olina Ebikweraliikiriza
‘Nnina ennaku ya maanyi.’—1 SAM. 1:15.
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
OMULAMWAa
1. Lwaki tulina okussaayo omwoyo ku kulabula Yesu kwe yawa?
MU BUNNABBI bwe yawa obukwata ku nnaku ez’enkomerero, Yesu yagamba nti: ‘Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kweraliikirira eby’obulamu [oba “engeri y’okweyimirizaawo,” nwtsty obugambo obuli wansi.].’ (Luk. 21:34) Tusaanidde okussaayo omwoyo ku kulabula okwo. Lwaki? Kubanga mu kiseera kino ffenna twolekagana n’ebizibu abantu bonna okutwalira awamu bye boolekagana nabyo.
2. Ebimu ku bizibu baganda baffe bye boolekagana nabyo bye biruwa?
2 Oluusi twolekagana n’ebizibu bingi mu kiseera kye kimu. Lowooza ku byokulabirako bino. Ow’oluganda ayitibwa John,b alina obulwadde obukosa obusimu bw’omubiri yeeyongera okufuna ennaku mukyala we gwe yali amaze naye emyaka 19 bwe yamulekawo. Ate era mu kiseera ekyo bawala be ababiri baalekera awo okuweereza Yakuwa. Ate ye Ow’oluganda Bob ne mukyala we Linda bombi baafiirwa emirimu gyabwe, era ne baggibwako n’ennyumba yaabwe. Okugatta ku ekyo, Linda yalwala obulwadde bw’omutima obw’amaanyi ennyo, era n’afuna n’obulwadde obulala obwali bulya obutaffaali bw’omubiri obulwanyisa endwadde.
3. Abafiripi 4:6, 7 watutegeeza ki ku Yakuwa?
3 Yakuwa, Kitaffe atwagala ennyo, ategeera bulungi engeri gye tuyisibwamu nga tulina ebitweraliikiriza, era mwetegefu okutuyamba okubyaŋŋanga. (Soma Abafiripi 4:6, 7.) Ekigambo kya Katonda kirimu ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda abaayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, era kiraga engeri Yakuwa gye yabayambamu okwaŋŋanga ebizibu ebyo. Ka tulabeyo abamu ku bo.
ERIYA—“YALI MUNTU NGA FFE”
4. Bizibu ki Eriya bye yayolekagana nabyo, era yali atwala atya Yakuwa?
4 Eriya yaweereza Yakuwa mu kiseera ekizibu era yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Kabaka Akabu, eyali omu ku bakabaka ba Isirayiri abataali beesigwa, yawasa Yezebeeri, eyali omukazi omubi ennyo eyali asinza Bbaali. Akabu ne Yezebeeri bajjuza Isirayiri okusinza kwa Bbaali era batta bannabbi ba Yakuwa bangi. Naye ye Eriya yawonawo. Enjala ey’amaanyi bwe yagwa, Eriya yeesiga Yakuwa era Yakuwa yamuyamba okuyita mu njala eyo. (1 Bassek. 17:2-4, 14-16) Ate era Eriya yeesiga Yakuwa bwe yaŋŋanga bannabbi ba Bbaali n’abantu abalala abaali basinza Bbaali. Eriya yakubiriza Abayisirayiri okuweereza Yakuwa. (1 Bassek. 18:21-24, 36-38) Awatali kubuusabuusa Eriya yalaba engeri Yakuwa gye yamuyambamu mu biseera ebyo ebizibu.
Yakuwa yatuma malayika okuzzaamu Eriya amaanyi (Laba akatundu 5-6)c
5-6. Okusinziira ku 1 Bassekabaka 19:1-4, Eriya yawulira atya, era Yakuwa yakiraga atya nti yali amwagala?
5 Soma 1 Bassekabaka 19:1-4. Kyokka Eriya yatya nnyo, Nnaabakyala Yezebeeri bwe yagamba nti yali agenda kumutta. Bwe kityo yaddukira e Beeru-seba. Yaggwaamu nnyo amaanyi n’atuuka ‘n’okusaba afe.’ Kiki ekyamuleetera okuwulira bw’atyo? Eriya yali tatuukiridde, “yali muntu nga ffe.” (Yak. 5:17) Ayinza okuba nga yeeraliikirira nnyo era nga yali mukoowu nnyo. Kirabika Eriya yalowooza nti yali ateganidde bwereere okukubiriza abantu okudda eri Yakuwa, nti tewaaliwo kyali kikyuse mu Isirayiri, era nti ye muweereza wa Yakuwa yekka eyali asigaddewo. (1 Bassek. 18:3, 4, 13; 19:10, 14) Kiyinza okutwewuunyisa okuba nti nnabbi wa Yakuwa oyo omwesigwa yawulira bw’atyo. Naye Yakuwa yali ategeera bulungi ensonga lwaki yali awulira bw’atyo.
6 Yakuwa teyakambuwalira Eriya olw’okuwulira bw’atyo, wabula yamuyamba okuddamu amaanyi. (1 Bassek. 19:5-7) Yakuwa yayamba Eriya okutereeza endowooza ye bwe yakola ebintu ebitali bimu ebyoleka amaanyi ge. Yakuwa era yategeeza Eriya nti mu Isirayiri mwalimu abantu be abalala 7,000 abaagaana okusinza Bbaali. (1 Bassek. 19:11-18) Mu kukola ebintu ebyo, Yakuwa yalaga Eriya nti yali amwagala.
ENGERI YAKUWA GY’AJJA OKUTUYAMBAMU
7. Engeri Yakuwa gye yayambamu Eriya etukakasa ki?
7 Olina ebikweraliikiriza? Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa yali ategeera engeri Eriya gye yali awuliramu! Ekyo kitukakasa nti naffe bwe tuba mu bizibu Yakuwa aba atutegeera. Amanyi obusobozi bwaffe we bukoma, era amanyi bye tulowooza n’engeri gye twewuliramu. (Zab. 103:14; 139:3, 4) Okufaananako Eriya, naffe bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebitweraliikiriza.—Zab. 55:22.
8. Yakuwa anaakuyamba atya ng’olina ebikweraliikiriza?
8 Okweraliikirira kuyinza okukuleetera okufuna endowooza etali nnuŋŋamu era ekyo kiyinza okukuviirako okuggwaamu amaanyi. Ekyo bwe kikutuukako, kijjukire nti Yakuwa asobola okukuyamba okwaŋŋanga ebikweraliikiriza. Anaakuyamba atya? Akukubiriza omutegeeze ebikweraliikiriza era ajja kuddamu okusaba kwo. (Zab. 5:3; 1 Peet. 5:7) N’olwekyo, bw’oba oyolekagana n’ebizibu, saba Yakuwa enfunda n’enfunda. Yakuwa tajja kwogera naawe butereevu nga bwe yayogera ne Eriya, naye ajja kwogera naawe okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli n’okuyitira mu kibiina kye. Ebyo by’osoma mu Bayibuli bisobola okukubudaabuda n’okukuwa essuubi. Bakkiriza banno nabo basobola okukuzzaamu amaanyi.—Bar. 15:4; Beb. 10:24, 25.
9. Ow’omukwano omulungi ayinza kutuyamba atya?
9 Yakuwa yagamba Eriya okukwasa Erisa obumu ku buvunaanyizibwa bwe yalina. Mu ngeri eyo Yakuwa yawa Eriya omuntu omulungi eyandimuyambye ng’ayolekagana n’ebimweraliikiriza. Mu ngeri y’emu, naffe bwe tubaako ow’omukwano gwe tubuulira ebitweraliikiriza, asobola okutuyamba okubyaŋŋanga. (2 Bassek. 2:2; Nge. 17:17) Bw’oba owulira nti tolina muntu gw’osobola kubuulirako bikweraliikiriza, saba Yakuwa akuyambe okufuna Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo asobola okukuzzaamu amaanyi.
10. Ebyo bye tusoma ku Eriya bituzzaamu bitya amaanyi, era ebigambo ebiri mu Isaaya 40:28, 29 bitulaga ki?
10 Yakuwa yayamba Eriya okwaŋŋanga ebimweraliikiriza n’okumuweereza okumala emyaka mingi. Ebyo bye tusoma ku Eriya bituzzaamu nnyo amaanyi. Ebiseera ebimu tuyinza okweraliikirira ennyo ne kituviirako okukoowa mu mubiri ne mu birowoozo. Naye bwe twesiga Yakuwa ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okweyongera okumuweereza.—Soma Isaaya 40:28, 29.
KAANA, DAWUDI, NE “ASAFU” BEESIGA YAKUWA
11-13. Ebintu ebyeraliikiriza byakwata bitya ku baweereza ba Yakuwa basatu abaaliwo edda?
11 Waliwo n’abantu abalala aboogerwako mu Bayibuli abaayolekagana n’ebintu ebibeeraliikiriza ennyo. Ng’ekyokulabirako, Kaana yalina obulumi obw’amaanyi ku mutima olw’okubeera omugumba n’olw’okuyisibwa obubi muggya we. (1 Sam. 1:2, 6) Kaana yalina ennaku ya maanyi ku mutima ne kimuviirako okukaabanga n’okulemererwa okulya.—1 Sam. 1:7, 10.
12 Ebiseera ebimu Kabaka Dawudi naye yafunanga okweraliikirira okw’amaanyi. Lowooza ku bizibu bye yayolekagana nabyo. Waliwo lwe yawuliranga ng’omutima gumulumiriza nnyo olw’ensobi ze yabanga akoze. (Zab. 40:12) Abusaalomu, omwana we gwe yali ayagala ennyo yamwefuulira era oluvannyuma Abusaalomu yafa. (2 Sam. 15:13, 14; 18:33) Ate era omu ku mikwano gya Dawudi egy’oku lusegere yamulyamu olukwe. (2 Sam. 16:23–17:2; Zab. 55:12-14) Nnyingi ku zabbuli Dawudi ze yawandiika ziraga nti yali awulira ng’aweddemu amaanyi ate era ziraga nti yali yeesiga nnyo Yakuwa.—Zab. 38:5-10; 94:17-19.
Kiki ekyayamba omuwandiisi wa zabbuli okuddamu okuweereza Yakuwa n’essanyu? (Laba akatundu 13-15)d
13 Waliwo n’omuwandiisi wa zabbuli omulala eyatandika okukwatirwa abantu ababi obuggya. Omuwandiisi wa zabbuli oyo ayinza okuba nga yali muzzukulu w’Omuleevi eyali ayitibwa Asafu eyaweerezanga mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu. Omuwandiisi wa zabbuli oyo yatandika okuwulira nga si mumativu era yaggweebwako essanyu. Yawulira ng’empeera eva mu kuweereza Yakuwa tematiza.—Zab. 73:2-5, 7, 12-14, 16, 17, 21.
14-15. Biki bye tuyigira ku baweereza ba Yakuwa abo abasatu?
14 Abaweereza ba Yakuwa abo abasatu be tulabye bonna beesiga Yakuwa okubayamba. Baamusabanga ne bamutegeeza ebyali bibeeraliikiriza. Baamubuuliranga ensonga lwaki baali beeraliikirivu. Era tebaalekayo kugenda mu kifo Yakuwa gye yali asinzibwa.—1 Sam. 1:9, 10; Zab. 55:22; 73:17; 122:1.
15 Bonna Yakuwa yaddamu okusaba kwabwe. Kaana yafuna emirembe ku mutima. (1 Sam. 1:18) Dawudi yagamba nti: “Omutuukirivu aba n’ebizibu bingi, naye byonna Yakuwa abimuyisaamu.” (Zab. 34:19) Ate ye omuwandiisi wa zabbuli yawulira nga Yakuwa eyali ‘amukutte ku mukono ogwa ddyo,’ ng’amuwa amagezi. Yagamba nti: “Okusemberera Katonda kirungi gye ndi. Yakuwa Mukama Afuga Byonna mmufudde kiddukiro kyange.” (Zab. 73:23, 24, 28) Kiki kye tuyigira ku baweereza ba Yakuwa abo? Ebiseera ebimu tujja kufuna ebizibu ebitweraliikiriza. Naye tusobola okwaŋŋanga ebizibu ebyo singa tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abalala, singa tumweyabiza mu kusaba, era singa tumugondera.—Zab. 143:1, 4-8.
WEESIGE YAKUWA AKUYAMBE
Mu kusooka, mwannyinaffe yasalawo okweyawula ku balala, naye embeera yakyuka bwe yanoonya engeri y’okuyambamu abalala (Laba akatundu 16-17)
16-17. (a) Lwaki tetusaanidde kweyawula ku balala? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okuddamu amaanyi?
16 Ebyokulabirako ebyo ebisatu bituyigiriza ekintu ekirala ekikulu. Tetulina kweyawula ku Yakuwa ne ku bantu be. (Nge. 18:1) Nancy, eyafuna ennaku ey’amaanyi oluvannyuma lw’omwami we okumulekawo agamba nti: “Waliwo bwe lwakyanga nga saagala kwogera na muntu n’omu. Naye gye nnakoma okweyawula ku balala gye nnakoma okuba omunakuwavu.” Ebintu byakyuka Nancy bwe yanoonya engeri y’okuyambamu abalala abaali boolekagana n’ebizibu. Agamba nti: “Nnawulirizanga abalala nga bambuulira ebyali bibeeraliikiriza. Nnakiraba nti gye nnakoma okubalumirirwa gye nnakoma okulekera awo okwekubagiza.”
17 Okubangawo mu nkuŋŋaana nakyo kisobola okutuzzaamu amaanyi. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, tuwa Yakuwa akakisa ‘okutuyamba n’okutubudaabuda.’ (Zab. 86:17) Mu nkuŋŋaana Yakuwa atuzzaamu amaanyi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Ekigambo kye, n’abantu be. Enkuŋŋaana zitusobozesa ‘okuziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:11, 12) Mwannyinaffe ayitibwa Sophia yagamba nti: “Yakuwa ne bakkiriza bannange bannyamba okugumira ebizibu. Enkuŋŋaana kye kimu ku bintu ebyasinga okunnyamba ennyo. Nkirabye nti gye nkoma okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okubeera awamu n’ekibiina, gye kikoma okunnyanguyira okwaŋŋanga ebineeraliikiriza.”
18. Yakuwa atuyamba atya nga tuweddemu amaanyi?
18 Bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi, tusaanidde okukijjukira nti ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa asuubizza okumalawo ebintu byonna ebitweraliikiriza mu biseera eby’omu maaso, ne mu kiseera kino atuyamba okwaŋŋanga ebitweraliikiriza. Atusobozesa okwaŋŋanga ebintu ebitumalamu amaanyi era atuyamba okufuna essuubi.—Baf. 2:13.
19. Abaruumi 8:37-39 watukakasa ki?
19 Soma Abaruumi 8:37-39. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti tewali kisobola kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda. Tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe aboolekagana n’ebizibu? Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri gye tuyinza okukoppamu Yakuwa, nga tusaasira baganda baffe aboolekagana n’ebizibu era nga tubazzaamu amaanyi.
OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku
a Okweraliikirira ennyo oba okweraliikirira okumala ekiseera ekiwanvu kisobola okutukosa. Yakuwa ayinza atya okutuyamba? Tugenda kulaba engeri Yakuwa gye yayambamu Eriya bwe yali nga yeeraliikiridde. Tujja kulabayo n’ebyokulabirako ebirala okuva mu Bayibuli ebituyamba okumanya bye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okutuyamba nga tulina ebitweraliikiriza.
b Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.
c EBIFAANANYI: Malayika wa Yakuwa ng’azuukusa Eriya mu tulo n’amuwa emmere n’amazzi.
d EBIFAANANYI: Omuwandiisi wa zabbuli, oboolyawo eyali muzzukulu wa Asafu, anyumirwa okuwandiika zabbuli n’okuyimbira awamu ne Baleevi banne.