LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/00 lup. 1
  • Tubuulira Mawulire Malungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tubuulira Mawulire Malungi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Similar Material
  • ‘Okutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Koppa ‘Katonda Waffe Omusanyufu,’ Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • “Amawulire Amalungi”!
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Waliwo Amawulire Amalungi Abantu Bonna Ge Beetaaga Okuwulira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 3/00 lup. 1

Tubuulira Mawulire Malungi

1 Nga tulina enkizo ya kitalo okubuulira ‘amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi!’ (Bar. 10:15, NW) Tulina obubaka obuzzaamu amaanyi obw’okubuulira abantu aboolekaganye n’obutabanguko era n’embeera endala ezimalamu amaanyi. Tuyinza tutya okubayamba okutegeera nti tubaleetedde ‘amawulire amalungi ag’ebintu ebisingako obulungi’?​—Is. 52:7, NW.

2 Teekateeka Obubaka Obuzzaamu Amaanyi: Emboozi zaffe mu buweereza zijja kubaako ekirungi kye zikola singa tuteeka essira ku bintu ebizimba. N’olwekyo, bwe tuba tuteekateeka eby’okwogera era nga twekkaanya ekitabo kye tujja okugaba, twetaaga okuteeka essira ku bintu ebizzaamu amaanyi ebiri mu bubaka. Bwe twogera ku ssuubi lyaffe eryesigamiziddwa ku Baibuli nga tulina ebbugumu era nga twekakasa, tuyinza okufuna ebibala ebizzaamu amaanyi.​—Nge. 25:11.

3 Wadde twoleka obusaasizi abantu bwe boogera ku ngeri gye bakoseddwamu embeera z’ensi ezeeyongera okwonooneka, tusaanidde okubategeeza ekyo ekinaagonjoolera ddala ebizibu by’abantu, Obwakabaka bwa Katonda. Ne bwe tuba twogera ku lunaku lwa Yakuwa olujja ‘olw’okuwoolera eggwanga,’ twagala okubalaga engeri kino gye kiri ‘amawulire amalungi eri abawombeefu.’ (Is. 61:1, 2, NW) Tuyinza okukakasa abatuwuliriza nti buli kimu Yakuwa ky’akola kijja kutuviiramu essanyu era n’ebintu ebirala ebisingirayo ddala obulungi.

4 Buulira Amazima n’Essanyu Erya Nnamaddala: Abantu bwe balaba essanyu lye tulina ku maaso era n’enjogera yaffe ennungi, bajja kwagala okutuwuliriza. Singa twoleka endowooza ennungi, abatuwuliriza bajja kukitegeera nti ‘tusanyukira mu ssuubi lyaffe.’ (Bar. 12:12) Bajja kusikirizibwa okuwuliriza amawulire amalungi. Mazima ddala, tulina ensonga ennungi okulaganga bulijjo endowooza entuufu n’essanyu mu bitundu byonna eby’obuweereza bwaffe.

5 Ng’abaweereza b’amawulire amalungi, tukola ekisingawo ku kubuulira obubuulizi abantu. Okubuulira kwaffe kuwa essuubi ekkakafu ery’obulamu obusingako obulungi kati era ne mu biseera eby’omu maaso. (1 Tim. 4:8) Nga tutuukirira buli muntu, endowooza yaffe ennungi ejja kwolesebwa mu bye twogera era ejja kusobozesa abantu okukkiriza amawulire amalungi. Nga tufaayo ku bye twogera era n’engeri gye tubyogeramu, ka tukubirize abantu ab’emitima emyesigwa okukkiriza amawulire amalungi agabuguumiriza ge tubuulira!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share