LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/00 lup. 3
  • Osiima Ebintu Ebitukuvu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Osiima Ebintu Ebitukuvu?
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana za Disitulikiti—Ekiseera eky’Okusinza okw’Essanyu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2006, “Okununulibwa Kwaffe Kuli Kumpi Okutuuka”
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Ekiseera eky’Okuliisibwa mu by’Omwoyo n’Okusanyuka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 5/00 lup. 3

Osiima Ebintu Ebitukuvu?

1 Bwe tubuuzibwa obanga tusiima ebintu ebitukuvu, kyandiba nga twandizzeemu mangu nti yee! Ebimu ku bintu ebitukuvu Katonda by’atuwadde bye tulina okusiima bye biruwa?

2 Ng’enkolagana gye tulina ne Kitaffe ow’omu ggulu tugitwala nga ya muwendo nnyo! Atukakasa nti singa ‘tumusemberera, naye ajja kutusemberera.’ (Yak. 4:8) Awatali ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo, tewali muntu yenna eyandisobodde okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 3:16) Olw’okusiima kwe tulina, buli lunaku twoleka mu kusaba kwaffe okusiima okungi kwe tulina olw’ekirabo kino eky’omuwendo ekyatuweebwa Katonda.

3 Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli Entukuvu, nakyo kya muwendo nnyo gye tuli, awamu n’entegeka ya Yakuwa ey’oku nsi. Tulaga nti tusiima ebintu bino Yakuwa by’atuwadde nga tugoberera emisingi gya Baibuli, nga tweyongera okwagala ab’oluganda, nga tugoberera enteekateeka za teyokulase, era nga tukolagana bulungi n’abo abatukulembera.​—1 Peet. 1:22.

4 Okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi, tufuna emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. Bwe kijja okubeera n’omwaka guno ku Lukuŋŋaana lwa District Olwa “Abakolera ku Kigambo kya Katonda.” Tujja kulufuniramu okuyigirizibwa okukulu era tube wamu ne bannaffe, ebintu bye twetaaga ennyo. Tuyinza tutya okwoleka okusiima okuviira ddala ku mutima eri enteekateeka eno entukuvu?

5 Tolagajjalira Nnyumba ya Yakuwa: Nekkemiya yakubiriza abo abaali bakoze ennyo okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi ‘obutalagajjalira nnyumba ya Katonda waabwe.’ (Nek. 10:39, NW) Leero “ennyumba” ya Yakuwa ye nteekateeka ye ey’okusinza. Enkuŋŋaana zaffe eza district kitundu kya nteekateeka eno. Obutalagajjalira nteekateeka eno, tuteekwa okubeerawo mu lukuŋŋaana olwo era ne tussaayo omwoyo, ne tulaga nti tusiima nnyo Yakuwa by’atuwa. (Beb. 10:24, 25) Twandikoze nteekateeka ki kati okulaga nti tusiima mu bujjuvu omukolo guno omutukuvu?

6 Baawo Ennaku Zonna Essatu: Buli omu ku ffe yandikoze enteekateeka okubaawo ennaku zonna essatu ez’olukuŋŋaana. Okola enteekateeka okutuukanga nga bukyali buli lunaku era obeewo okutuukira ddala ku kusaba okulifundikira ku Ssande? Bwe kiba bwe kityo, ojja kufuna emikisa mingi nnyo. Okubeerawo mu lukuŋŋaana kiyinza obutabeera kyangu bulijjo. Okukola enkyukakyuka ezikwata ku mulimu gwo kiyinza okukwetaagisa okwoleka obunywevu. Entambula eyinza obutabeera nnyangu. Naye tokkiriza nsonga zino kukulemesa kubeerawo mu lukuŋŋaana olunene.

7 Lowooza ku Kyokulabirako Kino Ekirungi Ennyo: Nga bagenda mu lukuŋŋaana lwa district olwaliwo omwaka ogwayita, ekibinja ky’ab’oluganda mu nsi emu ey’omu Afirika erimu obwegugungo baasisinkana ab’amagye. Ab’oluganda baabuuzibwa nti: “Mmwe baani, era mugenda wa?” Baddamu nti: “Tuli Bajulirwa ba Yakuwa, era tugenda mu lukuŋŋaana lwaffe olwa district.” Omu ku baserikale yabagamba: “Mmwe Abajulirwa ba Yakuwa temulina kintu kyonna kye mutya. Mugende, era mujja kubeera n’olukuŋŋaana lwammwe nga temufunye mutawaana gwonna. Kyokka, mukimanye nti mujja kusanga abaserikale bangi. Mutambulire wakati mu luguudo! Bwe mulaba abantu bangi nga beekumye wamu, mweyongere bweyongezi kutambulira wakati mu luguudo!” Baakola nga bwe baabagamba era ne batuuka mu lukuŋŋaana olunene nga tebatuuseeko kabi konna. Ab’oluganda bano baaweebwa emikisa kubanga baasiima ebintu ebitukuvu.

8 Okufaananako baganda baffe bangi ab’omu Afirika, naffe twolekagana n’ebizibu. Naye awatali kubuusabuusa, tuyinza okukoppa okukkiriza kwabwe ne tuba bamalirivu okubeerawo mu bitundu byonna eby’olukuŋŋaana lwaffe olwa district. Bwe kiba kitwetaagisa okukola enkyukakyuka, twesige Yakuwa okufuna obulagirizi, nga tukimanyi nti ajja kuwa omukisa okufuba kwaffe okubeerawo mu programu yonna.

9 Funa Emikisa: Tuyaayaanira Ekigambo kya Katonda, nga tukimanyi nti okuyitira mu kyo tuyinza okukulaakulana ne tufuna obulokozi. (1 Peet. 2:2) Okubeerawo kwaffe ku lukuŋŋaana lwa district n’okuwuliriza programu bijja kutuyamba kinnoomu okuzimba okukkiriza okunywevu mu Kigambo ekyo era mu ngeri eyo tusobole okugumira obulumbaganyi bwa Setaani. Mu kukola bwe tutyo, tujja kulaga Yakuwa n’abatulaba bonna nti tusiima mu bujjuvu ebintu ebitukuvu era nti “tetuli bantu abadda ennyuma . . . naye abo abalina okukkiriza okuwonyawo emmeeme.”​—Beb. 10:39, NW; 12:16; Nge. 27:11.

10 Tuyinza okwesunga nti Yakuwa Katonda ajja kutuggulirawo ebituli eby’omu ggulu era atuyiire emikisa mingi egy’eby’omwoyo. (Mal. 3:10) Kifuule kiruubirirwa kyo okubeerawo ku Lukuŋŋaana lwa District Olwa “Abakolera ku Kigambo kya Katonda” okuva ku ntandikwa ya programu ku Lw’Okutaano ku makya okutuuka ku kusaba okufundikira n’okugamba nti “Amiina!” ku Ssande olw’eggulo. Ojja kuba musanyufu nti obaddeyo!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share