Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2006, “Okununulibwa Kwaffe Kuli Kumpi Okutuuka”
1. Abantu ba Katonda ab’edda baayoleka batya nti basiima okusinza okw’amazima, era nkizo ki naffe gye tulina leero?
1 Kabaka Keezeekiya yatuma ababaka okutwala amabaluwa agayita abantu okujja okukuŋŋaana awamu mu Yerusaalemi. (2 Byom. 30:6, 13) Ekyo abantu kye baakolawo kyalaga endowooza gye baalina ku kusinza okw’amazima. (2 Byom. 30:10-12) Mu myezi mitono egijja, abaweereza ba Yakuwa bajja kufuna omukisa gwe gumu, okwoleka okusiima kwabwe olw’enkizo ey’okukuŋŋaana awamu okusinza Yakuwa. Ekibiina kyammwe kiweerezeddwa ebbaluwa ebaaniriza okubaawo mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Okununulibwa Kwaffe Kuli Kumpi Okutuuka.” Onoobeerayo?
2. Kiki kye tusobola okukola kati okusobola okuganyula mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti?
2 Tandika Kati Okukola Enteekateeka: Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu programu eno ey’eby’omwoyo etutegekeddwa, tulina okubeerawo ennaku zonna. Tandika kati okukola enteekateeka ezinaakusobozesa ggwe n’ab’omu maka go okubeerawo ennaku zonna essatu. (Nge. 21:5) Enteekateeka ezo zizingiramu okusaba oyo akukozesa okukuwa olukusa oleme kukola ennaku ezo, okukubaganya ebirowoozo ne munno mu bufumbo atali mukkiriza ku nteekateeka ezo, okukola enteekateeka z’eby’ensula, era n’okuyamba abo b’oyigiriza Baibuli okubeerawo ennaku zonna. Enteekateeka zino tozikola ku ssaawo esembayo. Saba Yakuwa akuyambe okukola enteekateeka ezo ng’oli mukakafu nti ajja ‘kukuyamba.’—Zab. 37:5.
3. Lwaki twandigoberedde enteekateeka ez’eby’ensula ezikoleddwa?
3 Ekibiina kya Yakuwa kikakasizza nti enteekateeka z’eby’ensula zikolebwa mu buli kibuga awanaabeera olukuŋŋaana. Bwe tunaagoberera obulagirizi obuli mu kitundu kino kijja kulaga nti tusiima baganda baffe abeefiiriza ne bakola kyonna ekisoboka okusobozesa enteekateeka zino okugenda obulungi. Ate era kijja kulaga nti tufaayo ku banaffe be tunaabeera nabo mu lukuŋŋaana luno era nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka za teyokulase.—1 Kol. 13:5; 1 Bas. 5:12, 13; Beb. 13:17.
4-6. Nsonga ki enkulu ezirina okulowoozebwako bw’oba okwata ebisenge mu wooteeri, era lwaki?
4 Okukwata Ebifo mu Wooteeri: Bw’oba ng’onoosula mu wooteeri, Ekitongole Ekikola ku by’Ensula kijja okukuyamba okufuna wooteeri mu kibuga awanaabeera olukuŋŋaana. Wandiikira ekitongole ekyo obategeeze ssente z’onoosobola okusasulira buli omu, buli lunaku. Bw’onookolaganira awamu n’ekitongole ekyo, kijja kukusobozesa okufuna aw’okusula awalungi ku miwendo emisaamusaamu ate nga wali kumpi n’awanaabeera olukuŋŋaana.—1 Kol. 14:40.
5 Kikulu nnyo okukwata ebisenge ebyo byokka by’onookozesa mu kiseera ky’onoobeera mu lukuŋŋaana. Tetwandyagadde wooteeri kukulekerawo bisenge ebitagenda kukozesebwa. Buli kisenge kirina okuwandiisibwa mu linnya ly’omu ku abo abajja okukisulamu.
6 Okusobola okukakasa nti banaakukuumira ekisenge ky’okutte, oteekwa okubaako ne ssente z’osasulako. Bwe kitaba kityo, ekisenge kyo kiyinza okuweebwa omuntu omulala. Bwe kiba nga kyetaagisa okusasulako ssente, Ekitongole Ekikola ku by’Ensula kijja kukutegeeza.
7, 8. Abo abalina obwetaavu obw’enjawulo bayinza kufiibwako batya?
7 Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Engero 3:27 wagamba nti: “Tommanga birungi abo abagwanira, bwe kiri mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.” Oyinza otya okukolera abalala ebirungi mu biseera eby’olukuŋŋaana? Ababuulizi abakaddiye, abo abalina obunafu, abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, n’abalala, bayinza okwetaaga okuyambibwako ku by’entambula, n’okufuna aw’okusula. Okusingira ddala ab’eŋŋanda zaabwe be bavunaanyizibwa okuyamba abalinga abo. (1 Tim. 5:4) Kyokka, bwe baba nga tebasobola kubayamba, bakkiriza bannaabwe basobola okukikola. (Bag. 6:10) Abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina balina okukakasa nti abo abali mu kibinja kyabwe abalina obwetaavu obw’enjawulo bakolerwa enteekateeka ez’okubeerawo mu lukuŋŋaana.
8 Foomu eziyitibwa Special Needs Room Request za kujjuzibwamu ababuulizi abo bokka abeetaaga aw’okusula kyokka ng’ab’omu maka gaabwe oba ab’omu kibiina kyabwe tebasobola kubayamba. Nga bagoberera obulagirizi obuli ku foomu eyo, abo abali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza balina okukakasa nti ababuulizi ng’abo balina ebisanyizo ebyetaagisa. Enteekateeka eno ekolerwa ababuulizi abo bokka abassaawo ekyokulabirako ekirungi, era abalina abaana abeeyisa obulungi.
9. (a) Lwaki tulina kugenda mu lukuŋŋaana olwo lwokka ekibiina kyaffe lwe kirina okugendamu? (b) Embeera bwe ziba nga zikwetaagisa kugenda mu lukuŋŋaana olulala, kiki ky’oteekwa okukola?
9 Okugenda mu Lukuŋŋaana Olulala: Okusobola okukakasa nti waliwo ebifo ebimala, ebitabo ebimala, aw’okusula awamala, era n’ebirala, ababuulizi bakubirizibwa okugenda mu lukuŋŋaana olwo lwokka ekibiina kyabwe lwe kirina okugendamu. Embeera bw’eba ekwetaagisa kugenda mu lukuŋŋaana olulala, tegeeza omuwandiisi w’ekibiina akuwe endagiriro y’olukuŋŋaana lw’onogendamu.
10. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuyamba abalala okuganyulwa mu lukuŋŋaana?
10 Bannakyewa Beetaagibwa: Awatali kubuusabuusa, bonna abanaabeerawo mu lukuŋŋaana luno bajja kufuna essanyu era bajja kuganyulwa nnyo mu mmere ey’eby’omwoyo ne mu kubeera awamu ne baganda baabwe. Tujja kuba basanyufu n’okusingawo singa tuneewaayo okukola nga bannakyewa olukuŋŋaana lusobole okugenda obulungi. (Bik. 20:35) Akakiiko Akaddukanya Enkuŋŋaana Ennene mu kitundu kyammwe kajja kusaba abantu okwewaayo nga bannakyewa. Onneewaayo?—Zab. 110:3.
11. Kiki ky’osinga okwagala mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezibeerawo buli mwaka, era wandimaliridde kukola ki?
11 Omulenzi ow’emyaka etaano bwe yali mu lukuŋŋaana olunene yagamba nti: “Mu kusinza Yakuwa, ekintu kye nsinga okwagala ze nkuŋŋaana za disitulikiti.” Ebigambo ebyo ebyoleka okusiima bituyamba okutegeera obukulu bw’okubeerawo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olubaawo buli mwaka. Mazima ddala kino kituukagana bulungi n’ebigambo by’omuwandiisi wa zabbuli bye yagamba nti: “Olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi [awalala].” (Zab. 84:10) Mu luyimba Dawudi lwe yayimba yalaga nti ayagala nnyo ‘okutuula mu nnyumba ya Yakuwa ennaku zonna ez’obulamu bwe asobole okusiima yeekaalu ya Yakuwa.’ (Zab. 27:4) Dawudi yasanyukanga nnyo okubeera awamu n’abasinza ba Yakuwa abalala. Okufaananako Dawudi eyasiima okusinza okw’amazima, ka naffe tubeerewo ennaku zonna essatu mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Okununulibwa Kwaffe Kuli Kumpi Okutuuka.”
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Ebiseera bya Programu
Olwokutaano n’Olwomukaaga
3:30 ez’oku makya - 11:05 ez’olweggulo.
Ssande
3:30 ez’oku makya - 10:10 ez’olweggulo.