LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/05 lup. 5
  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Subheadings
  • EMBOOZI 1
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 12/05 lup. 5

Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 26, 2005. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30, nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Noovemba 7 okutuuka nga Ddesemba 26, 2005. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza osobola okufuna eky’okuddamu.​—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, emp. 36-7.]

ENGERI ENNUNGI EZ’OKWOGERAMU

1. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okukakasa nti tukubiriza abalala ‘mu ngeri ey’okwagala’? (Fir. 9) [be-LU lup. 266] Tulina okukakasa nti bye twogera byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda era nti tubyogera olw’okufaayo ku batuwuliriza. Engeri gye twogeramu esaanidde okwoleka omukwano n’amagezi, kitusobozese okutuuka ku mitima gy’abo be tugezaako okukubiriza okubaako kye bakola. Bwe tusiima baganda baffe mu bwesimbu olw’ebintu ebirungi bye bakoze mu buweereza bwa Katonda, kibayamba okwewulira nti ba mugaso era bajja kussaayo omwoyo nga tubakubiriza okubaako kye bakola. (1 Bas. 1:2-8; 2 Bas. 1:3-5)

2. Tuyinza tutya ‘okukubiriza abalala n’okuyigiriza okw’obulamu’? (Tito 1:9) [be-LU lup. 267 but. 1-2] Ekigambo kya Katonda kye tusaanidde okusinziirako nga tukubiriza abalala, so si ndowooza zaffe oba amateeka agassibwawo abantu. Bwe twogera ku miganyulo egiva mu kugoberera okubuulirira kwa Baibuli era n’ebyo ebiva mu butakugoberera, kireetera abalala okukwatibwako. Bwe tuba tukubiriza abalala nga twesigamye ku Byawandiikibwa, tusaanidde okubannyonnyola kye balina okukola era n’engeri y’okukikolamu.

3. Lwaki kikulu okuwa emboozi zaffe mu ngeri ezzaamu amaanyi, era tuyinza kukikola tutya? [be-LU lup. 268 but. 1-3, n’akasanduuko] Abantu banyigirizibwa nnyo mu nsi, era bangi baggwaamu amaanyi. Ekibiina kisaanidde okubeera ekifo eky’okwekwekamu, era ekibazzaamu amaanyi. (Is. 32:2) N’olwekyo, tusaanidde okwogera mu ngeri ezzaamu amaanyi. Ekigendererwa kyaffe kyandibadde okuzimba abalala n’okubayamba okufuna essuubi n’amaanyi okuva eri Yakuwa era n’enteekateeka ze ez’eby’omwoyo. (Yobu 16:5; Bar. 15:13)

4. Nga tukoppa Musa, mu ngeri ki okujjukiza abalala Yakuwa by’akoledde abantu be gye kiyinza okubazzaamu amaanyi? (Ma. 3:28; 31:1-8) [be-LU lup. 268 kat. 5–lup. 269 kat. 2] Okujjukiza baganda baffe Yakuwa by’akoledde abantu be nga Musa bwe yakola, kisobola okubayamba okuddamu amaanyi era n’okwongera okwesiga ebisuubizo bya Yakuwa. (Yos. 23:14) Tusobola okuzzaamu baganda baffe amaanyi nga twogera ku byokulabirako okuva mu Byawandiikibwa ebiraga engeri Yakuwa gy’afaayo ku bantu be. (Bik. 4:1–5:42)

5. Lwaki okwogera mu ngeri eraga nti tusiima ebyo Yakuwa by’akola kati ne by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso, kuzzaamu amaanyi abo ababa batuwuliriza? [be-LU emp. 270-1] Bwe tulaga nti tusiima ebintu eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa, oluganda lwe tulina, era n’okuba nti tuli Bajulirwa be, abatuwuliriza baddamu amaanyi. Bwe tuba twogera oba nga tusaba ebikwata ku bisuubizo bya Yakuwa eby’omu biseera eby’omu maaso, ebigambo byaffe bisaanidde okuba nga biva ku mutima. Kino kireetera abawuliriza okuba n’essuubi ekkakafu nti ebisuubizo ebyo bijja kutuukirizibwa.

EMBOOZI 1

6. Septuagint kye ki, era lwaki Abakristaayo bagitwala nga ya mugaso? [bsi05-LU lup. 15 kat. 12–kat. 14] “Septuagint” y’enzivvuunula y’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya eyasookera ddala okuvvuunulwa mu Luyonaani, era nga yamalirizibwa mu kyasa eky’okubiri B.C.E. Ebyawandiikibwa bingi eby’Oluyonaani ebyajulizibwa okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byaggibwa mu “Septuagint.” Ate era, ebitundutundu bya “Septuagint” eyaliwo mu kiseera ky’Abakristaayo abaasooka, birimu erinnya lya Katonda.

7. Abamasoleti baali b’ani, era bintu ki eby’omugaso ennyo bye baakola ebyayamba mu kuvvuunula Baibuli? [bsi05-LU lup. 18 kat. 18; lup. 19 but. 20-1] vvuunula Baibuli? [2, bsi05-LU lup. 18 kat. 18; lup. 19 but. 20-21] Abamasoleti be bantu abaakoppololanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mu byasa ebyaddirira nga Yesu amaze okuvaawo. Obugambo obutono bwe baawandiikanga mu miwaatwa oba ku nkomerero y’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, bwalaga enkyukakyuka abakoppolozi abaasooka ze baakola mu Byawandiikibwa ebyasookera ddala. Wakati w’ekyasa eky’okutaano n’eky’ekkumi C.E., Abamasoleti baatandikawo enkola ey’okuwandiika ebigambo mu ngeri eyandiyambye abantu okwatula ebigambo eby’Olwebbulaniya ebyawandiikibwanga nga tekuli mpeerezi. Ebiwandiiko by’Abamasoleti byakozesebwa mu kuwandiika Baibuli z’Olwebbulaniya nnyingi; obugambo obwa wansi mu “New World Translation,” bujuliza mu biwandiiko by’Abamasoleti emirundi mingi.

8. Nzivuunula ki eyasinziirwako mu kuvvuunula Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebya New World Translation mu Lungereza, era lwaki kigambibwa nti New World Translation yeesigika? [bsi05-LU lup. 22 kat. 28; lup. 23 kat. 30] Enzivuunula eyasinziirwako ye ya Rudolf Kittel eyitibwa “Biblia Hebraica.” Oluvannyuma enzivuunula ennongooseemu eyitibwa “Biblia Hebraica Stuttgartensia,” yakozesebwa okulongoosa mu bugambo obwa wansi obuli mu “New World Translation” eya 1984. Ebiwandiiko ebirala bingi nga mwe muli “Septuagint” awamu n’emizingo egyogerwako mu bugambo obwa wansi, biraga nti “New World Translation” yavvuunulwa oluvannyuma lw’okunoonyereza n’obwegendereza.

9. Abakristaayo abaasooka baalaga batya nti baagala nnyo okubunyisa Ekigambo kya Katonda? [bsi05-LU lup. 23 kat. 1–lup. 24 kat. 5] Okutandikira ku Pentekoote 33 C.E., Abakristaayo baawa obujulirwa mu bujjuvu nga bagondera ekiragiro kya Yesu ekiri mu Ebikolwa by’Abatume 1:8. Baabunyisa enjigiriza ez’Ekikristaayo mu buli kanyomero konna mu nsi eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo. (Bak. 1:23) Abamu baaluŋŋamizibwa okuwandiika ‘amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo,’ ate abalala baali bakoppolozi. (Mak. 1:1; Mat. 1:1) Abakristaayo abaasooka baakozesanga “codex” eringa ebitabo bye tulina leero, okugatta awamu ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa okusobola okubisoma, okubijulizaamu, n’okubibunyisa wonna.

10. Okwekenneenya emizingo egiriwo n’ebiwandiiko by’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu kulaga ki ku Baibuli? [bsi05-LU lup. 30 kat. 32] Kulaga nti Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’eby’Oluyonaani bye tulina leero, bye bimu ddala n’ebyo ebyasooka. (2 Peet. 1:20, 21) Wadde ng’abakoppolozi abaalina obumanyirivu tebaaluŋŋamizibwa, waliwo obukakafu obumala obulaga nti Baibuli yaluŋŋamizibwa.

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Okuba nti Dawudi teyakkirizibwa kuzimba yeekaalu kiraga nti Yakuwa teyasiima ntalo ze yalwana? (1 Byom. 22:6-10) Nedda. Entalo Dawudi ze yalwananga zaalina ekigendererwa eky’okumalawo obubi n’abo abaali baziyiza obufuzi bwa Yakuwa, okugaziya ensi ya Isiraeri okutuukira ddala ku nsalo Katonda ze yali ataddewo, era n’okussaawo obutuukirivu n’emirembe. Kyokka, olw’okuba Obwakabaka bwa Yakuwa bwa mirembe, era ng’ekigendererwa kyabwo kwe kussaawo emirembe, yeekaalu yali ya kuzimbibwa Sulemaani omusajja w’emirembe era mu kiseera eky’emirembe. [1, it-2 lup. 987 kat. 1]

12. Sulemaani yalaga atya mu ssaala gye yasaba ng’awaayo yeekaalu nti, Yakuwa takoma ku kufaayo ku byetaago by’abaweereza be bonna awamu, naye era nti afaayo ku mbeera ya buli muntu kinnoomu amutya? (2 Byom. 6:29, 30) Sulemaani yalaga nti buli muntu kinnoomu atya Katonda aba n’ebizibu by’alina okugumira. Omuntu omu ayinza okuba ng’alina ekizibu kya bulwadde. Omulala ng’alina ebimweraliikiriza. Abamu bayinza okuba nga banakuwavu olw’okufiirwa omwagalwa waabwe. Obutaba na mulimu, obuzibu mu byenfuna, ne mu maka, nabyo binyigiriza nnyo abantu mu biseera bino ebizibu. [4, w97 4/15 lup. 4]

13. Ebigambo “endagaano ey’omunnyo” bitegeeza ki? (2 Byom. 13:5) Olw’okuba omunnyo gukuuma ebintu ne bitayonooneka, gwakozesebwanga ng’akabonero akalaga ekintu eky’enkalakkalira era ekitayinza kukyusibwa. N’olwekyo, ebigambo “endagaano ey’omunnyo” bitegeeza endagaano etajjulukuka oba ey’olubeerera. [5, w05 12/1 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Birimu mu Kitabo ky’Ebyomumirembe eky’Okubiri”]

14. 2 Ebyomumirembe 20:17 walaga nti tuteekwa kweyisa tutya nga Googi ow’e Magoogi alumbye abantu ba Katonda? Okusobola ‘okulaba obulokozi bwa Yakuwa,’ kijja kutwetaagisa ‘okuyimirira mu bifo byaffe’ tuwagire Obwakabaka bwa Katonda. Mu kifo ky’okwerwanako mu maanyi gaffe, tujja ‘kuyimirira butengerera’ nga tussa obwesige bwaffe mu Yakuwa. [7, w05 12/1 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Birimu mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri”; w03 6/1 16, 21-2]

15. 2 Ebyomumirembe 20:22, 23 walaga watya ekyo ekinaatera okutuuka ku nsi ya Setaani? Nga Okubikkulirwa 17:16, 17 bwe ziraga, Yakuwa alina ekintu ‘ky’alowooza’ okukola ku Babulooni Ekinene, era nga Kristendomu kye kitundu kya Babulooni ekisinga okunenyezebwa. Ajja kuteeka ‘ekirowoozo’ kye ekyo mu magye g’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte geefuulire amadiini ag’obulimba gagazikirize. Kristendomu kyewaggula, okufaananako Abedomu okuva ku Lusozi Seyiri, ejja kuzikirizibwa! [7, w84 7/1 lup. 18 kat. 17]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share