Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa “Okugondera Katonda” mu 2005
1 Omuyigiriza waffe omukulu, Yakuwa Katonda, atukoledde enteekateeka okukuŋŋaana awamu tuyigirizibwe amakubo ge. (Is. 30:20, 21; 54:13) Kino akikola okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi ekiteekateeka enkuŋŋaana gamba ng’eza disitulikiti ezibaawo buli mwaka. (Mat. 24:45-47) Naffe tulina endowooza ng’eya Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli, eyagamba nti: “Mu bibiina neebazanga Mukama.” (Zab. 26:12) Dawudi yali amanyi bulungi omuganyulo oguli mu kuyigirizibwa Yakuwa era yali mumalirivu okubeera n’abantu ba Yakuwa buli lwe baakuŋŋaananga.
2 Onooba omu ku abo ‘abanaabaawo ku lukuŋŋaana’ lwa Disitulikiti olwa “Okugondera Katonda,” olw’omwaka guno? Bwe kiba bwe kityo, bino wammanga bijja kukuyamba okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo mu lukuŋŋaana olwo.
3 Tandika Kati Okukola Enteekateeka Okubeerawo Ennaku Zonna: ‘Entegeka z’omunyiikivu zimuviiramu amagoba.’ (Nge. 21:5) Ebigambo ebyo tebiggumiza obukulu bw’okutandika okukola enteekateeka ezinaatusobozesa okubeerawo mu lukuŋŋaana olwo? Okusobola okukakasa nti tosubwa kintu kyonna mu programu eyo ey’eby’omwoyo, kyandibadde kya magezi okutandika kati okukola enteekateeka ezeetaagisa osobole okubaawo ennaku zonna essatu. Bwe kiba kikwetaagisa okusaba oyo akukozesa okukuwa olukusa osobole okugenda mu lukuŋŋaana, kikole mangu. Bwe kiba kikwetaagisa okukubaganya ebirowoozo ne munno mu bufumbo atali mukkiriza ku nteekateeka zo, tokikola ku ssaawa esembayo. Ka kibe kizibu ki ky’oyolekaganye nakyo, tuukirira Yakuwa mu kusaba, ng’oli mugumu nti ‘enteekateeka zo zijja kutuukirira.’ (Nge. 16:3) Okugatta ku ekyo, kyandibadde kirungi okuyamba abo b’oyigiriza Baibuli okukola enteekateeka okusobola okubaawo ennaku ezo zonna.
4 Eby’Ensula: Enteekateeka ezikwata ku eby’ensula zikoleddwa mu buli kibuga omunaabeera olukuŋŋaana olunene. Ab’oluganda abakola mu Kitongole ky’Eby’ensula basobodde okuzibakolera olw’okuba mukoledde wamu nabo. N’olwekyo, lowooza nga bukyali ku kifo gwe n’ab’omu maka go kye mujja okwetaaga okusulamu. Bwe muba nga mwagala kusula mu wooteeri, kakasa nti otegeeza Ekitongole Ekikola ku by’Ensula ssente z’osobola okusasulira buli muntu, buli lunaku.
5 Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Omutume Pawulo yagamba nti ab’oluganda abamu ‘baamuzzaamu amaanyi.’ (Kol. 4:7-11) Engeri emu gye baamuyambamu kwe kuba nti baamukolera ku byetaago bye. Oyinza otya ‘okuzzaamu abalala amaanyi’ nga mweteekerateekera olukuŋŋaana olunene? Ababuulizi abakaddiye, abo abalina obunafu, abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, n’abalala, bayinza okwetaaga okuyambibwako ku by’entambula, n’okufuna aw’okusula. Okusingira ddala ab’eŋŋanda zaabwe be bavunaanyizibwa okuyamba abalinga abo. (1 Tim. 5:4) Kyokka, bwe baba nga tebasobola kubayamba, bakkiriza bannaabwe basobola okukikola. (Yak. 1:27) Abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina balina okukakasa nti abo abali mu kibinja kyabwe abalina obwetaavu obw’enjawulo bakolerwa enteekateeka ez’okubeerawo mu lukuŋŋaana.
6 Foomu eziyitibwa Special Needs Room Request za kujjuzibwamu ababuulizi abo bokka abeetaaga aw’okusula kyokka ng’ab’omu maka gaabwe oba ab’omu kibiina kyabwe tebasobola kubayamba. Nga bagoberera obulagirizi obuli ku foomu eyo, abo abali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza balina okukakasa nti ababuulizi ng’abo balina ebisanyizo ebyetaagisa. Enteekateeka eno ekolerwa ababuulizi abo bokka abassaawo ekyokulabirako ekirungi, era abalina abaana abeeyisa obulungi.
7 Okugenda mu Lukuŋŋaana Olulala: Okukakasa nti waliwo ebifo ebimala, ebitabo ebimala, aw’okusula awamala, n’ebirala, ababuulizi bakubirizibwa okugenda mu lukuŋŋaana olwo lwokka ekibiina kyabwe lwe kirina okugendamu. Embeera bw’eba ekwetaagisa kugenda mu lukuŋŋaana olulala, tegeeza omuwandiisi w’ekibiina.
8 Bannakyewa Beetaagibwa: Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ng’akola ku byetaago by’abalala. (Luk. 9:12-17; Yok. 13:5, 14-16) Abo abeewaayo okukola nga bannakyewa ku nkuŋŋaana ennene booleka omwoyo gwe gumu. Mu lumu ku nkuŋŋaana ennene ez’omwaka oguwedde, kumpi abantu 20 ku buli kikumi ku abo abaaliwo, baakola nga bannakyewa. Okusobola okufuna bannakyewa abanaakola mu bitongole eby’enkuŋŋaana ennene, Obukiiko Obuddukanya Enkuŋŋaana Ennene mu kitundu kyammwe bujja kusaba abalala okuyambako mu bitongole ebyo. Naddala abakadde basaanidde okukola nga bannakyewa. Bwe beewaayo kyeyagalire bassaawo ekyokulabirako ekirungi eri bonna abali mu kibiina.—1 Peet. 5:2, 3.
9 Abalala kye Balaba: Maneja wa wooteeri yagamba: “Mmwe bantu be tusinga okwagala. Mweyisa bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna. Abakozi bonna baasiima engeri gye mwabayisaamu. Mu butuufu, buli omu aba ayagala okukola ku wiikendi gye mubeera wano!” Omusajja omulala akola mu wooteeri yagamba: “Kyangu nnyo okukolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa.” Omu ku bakulira ekifo awaali olukuŋŋaana omwaka oguwedde yagamba, “Mwaleka ekifo nga kiyonjo n’okusinga bwe mwakisanga. Abantu baakiriiramu naye tebasuulasuula bipapula buli wamu. Wadde waaliwo abaana, kabuyonjo zaalekebwa nga nnyonjo. Nnali mpulira buwulizi nti Abajulirwa ba Yakuwa bayonjo era nti balina enteekateeka ennungi, naye kati nkikakasiza ddala. Mwanirizibwa n’omulundi omulala.” Oboolyawo empisa zo ennungi ze zaaviirako ebigambo ng’ebyo okwogerwa. Teeberezaamu essanyu Yakuwa lyafuna bw’atulaba nga tweyisa mu ngeri emuleetera okutenderezebwa!—1 Peet. 2:12.
10 Okuyitira mu “muwanika omwesigwa,” Yakuwa Katonda akoze enteekateeka abantu be bakuŋŋaane, basobole okuyigirizibwa eby’omwoyo omwaka guno. (Luk. 12:42) Okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo ennaku zonna essatu kyetaagisa okufuba, naye okufuba okwo kujja kuvaamu emiganyulo. Awatali kubuusabuusa, Olukuŋŋaana olwa Disitulikiti olwa “Okugondera Katonda,” olw’omwaka guno, lujja kutusobozesa okweyongera okuweereza Yakuwa kati n’emirembe gyonna. Ka tubeere bamalirivu okugoberera okubuulirira kw’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: ‘Mutendereze Katonda nga mukuŋŋaanye.’—Zab. 68:26.