LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 11/00 lup. 1
  • Mweyongere Okubuulira!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Mweyongere Okubuulira!
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • Lwaki Twandyeyongedde Okubuulira?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • ‘Okutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • “Mugende Mufuule Abantu b’Omu Mawanga Gonna Abayigirizwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Ensonga Lwaki Tweyongera “Okubala Ebibala Bingi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 11/00 lup. 1

Mweyongere Okubuulira!

1 Kwe kwagala kwa Katonda nti “abantu aba buli kika okulokolebwa n’okutuuka ku kumanya okutuufu okw’amazima.” (1 Tim. 2:4, NW) Olw’ensonga eno, atuwadde omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. (Mat. 24:14, NW) Singa tutegeera ensonga lwaki tusaanidde okweyongera okubuulira, kyonna ekiyinza okutumalamu amaanyi oba okutuwugula tekijja kutulemesa.

2 Lwaki Tusaanidde Okunyiikira? Waliwo ebintu bingi mu nsi ebiwugula ebireetera abantu okwerabira oba obutatwala bye tubabuulira ng’ebikulu. N’olwekyo, tuteekwa okweyongera okubajjukiza ebikwata ku bubaka bwa Katonda obw’okulokolebwa. (Mat. 24:38, 39) Okugatta ku ekyo, embeera mu bulamu bw’abantu zikyuka buli kiseera. Wadde n’embeera eziri mu nsi ziyinza okukyuka mbagirawo. (1 Kol. 7:31, NW) Enkya, wiiki ejja, oba omwezi ogujja, abantu be tubuulira bayinza okwolekagana n’ebizibu ebippya oba ebibeeraliikiriza ebibaleetera okufumiitiriza ku mawulire amalungi ge tubatwalira. Toli musanyufu nti Omujulirwa eyakuleetera amawulire amalungi yali munyiikivu?

3 Okukoppa Obusaasizi bwa Katonda: Olw’obugumiikiriza, Yakuwa alese ekiseera okuyitawo nga tannatuusa ku babi omusango gw’abasalidde. Ng’akozesa ffe yeeyongedde okukubiriza abantu ab’emitima emirungi okudda gyali balokolebwe. (2 Peet. 3:9) Twandibadde tuvunaanibwa omusango gw’okuyiwa omusaayi singa tetulangirira obubaka bwa Katonda obw’obusaasizi eri abantu era n’okubalabula ku musango Katonda gw’agenda okutuusa ku abo bonna abataleka bikolwa byabwe ebibi. (Ez. 33:1-11) Wadde okubuulira kwaffe oluusi tekusanyukirwa, tetuteekwa kuddirira mu kufuba okuyamba abeesimbu okusiima obusaasizi bwa Katonda.​—Bik. 20:26, 27; Bar. 12:11.

4 Okwoleka Okwagala Kwaffe: Yakuwa Katonda yennyini, okuyitira mu Yesu Kristo, ye yalagira nti amawulire amalungi galina okubuulirwa mu nsi yonna. (Mat. 28:19, 20) Abantu ne bwe bagaana okuwulira, tuba n’omukisa okwoleka okwagala kwaffe era n’okwemalira ku Katonda nga tunyiikira okukola ekituufu.​—1 Yok. 5:3.

5 Ka tubeere bamalirivu okweyongera okubuulira! Ka tubuulire n’obunyiikivu nga lukyali ‘lunaku lwa Yakuwa olw’obulokozi.’​—2 Kol. 6:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza