Lwaki Twandyeyongedde Okubuulira?
1 Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gubadde gukolebwa mu kitundu kyo okumala ekiseera kiwanvu? (Mat. 24:14) Bwe kiba bwe kityo, oyinza okulowooza nti ekitundu ekibiina kyo kye kibuuliramu, kyonna kimaze okubuulirwamu. Mu kubuulira kwo kati, oboolyawo abantu b’osanga balabika ng’abatayagala bubaka bw’Obwakabaka. Wadde kiri bwe kityo, weetegereze ekyogerwa ku bayigirizwa ba Yesu ab’amazima ku lupapula 141 olw’ekitabo Isaiah’s Prophecy II: “Mu bifo ebimu, ebibala ebiva mu buweereza bwabwe biyinza okulabika ng’ebitono ennyo bw’obigeraageranya n’ebyo ebiba bikoleddwa era n’okufuba okuteekeddwamu. Wadde kiri bwe kityo, beeyongera mu maaso.” Naye lwaki tulina okweyongera okubuulira?
2 Jjukira Yeremiya: Okweyongera okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira tekyandyesigamye ku bantu obanga bawuliriza oba nedda. Yeremiya yabuulira okumala emyaka 40 mu kitundu kye kimu wadde ng’abantu batono nnyo abaamuwuliriza era ng’abasinga obungi baali tebaagala bubaka bwe. Lwaki Yeremiya yeeyongera okubuulira? Kubanga yali akola omulimu Katonda gwe yali amulagidde okukola era ng’amanyi ekyali kigenda okubeerawo mu biseera eby’omu maaso.—Yer. 1:17; 20:9.
3 Tuli mu mbeera y’emu. Yesu ‘yatulagira okubuulira abantu n’okubategeeza nti y’Oyo Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abalamu n’abafu.’ (Bik. 10:42, NW) Obubaka bwe tubuulira bukulu nnyo eri abo be tubutwalira. Abantu bajja kusalirwa omusango okusinziira ku kye bakolawo nga bawulidde amawulire amalungi. N’olw’ensonga eyo, obuvunaanyizibwa bwe tulina kwe kukolera ddala nga bwe tulagiddwa. Wadde ng’abantu bagaana okuwuliriza, ffe ekyo kituwa omukisa okulaga nti tubaagala era nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tunyiikira okukola ekyo kye tulagiddwa okukola. Naye waliwo n’ensonga endala.
4 Tuganyulwa: Okukola Katonda by’ayagala, ka kibe nga abantu beeyisa batya mu kitundu kyaffe, kituwa emirembe mu mutima, obumativu n’essanyu ebitayinza kufunibwa mu ngeri ndala yonna. (Zab. 40:8) Obulamu bwaffe buba n’ekigendererwa. Gye tukoma okwenyigira mu buweereza, gye tukoma n’okumalira emitima gyaffe n’ebirowoozo ku ssuubi era n’essanyu ery’okubeera mu nsi ya Katonda empya. Bwe tufumiitiriza ku bisuubizo ebyo eby’omu Byawandiikibwa, kyongera okutunyweza mu by’omwoyo era kinyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa.
5 Ne bwe tutalabirawo mangu ebibala ebiva mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, ensigo ey’amazima eyinza okuba ng’esigiddwa mu mutima gw’omuntu era ng’ejja kumera mu kiseera Yakuwa ky’anaaba ayagadde. (Yok. 6:44; 1 Kol. 3:6) Tewali n’omu ku ffe amanyi bantu bameka abalala mu kitundu kyaffe oba mu nsi yonna abanaayiga ebikwata ku Bwakabaka okuyitira mu kufuba kw’abantu ba Yakuwa.
6 N’okusingira ddala kati, tusaanidde okugoberera obulagirizi bwa Yesu: “Mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira. Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule.” (Mak. 13:33, 37) N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, tusanyuse omutima gwa Yakuwa nga tutukuza erinnya lye ekkulu ennyo era ettukuvu.