LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/07 lup. 4
  • Ensonga Lwaki Tuddayo Enfunda n’Enfunda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ensonga Lwaki Tuddayo Enfunda n’Enfunda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Laba Ebirala
  • “Ekitundu Kyaffe Tukikozeemu Enfunda n’Enfunda!”
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Lwaki Twandyeyongedde Okubuulira?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu ku Buweereza Bwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Banaawulira Batya?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 7/07 lup. 4

Ensonga Lwaki Tuddayo Enfunda n’Enfunda

1. Kibuuzo ki ekijjawo ekikwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

1 Mu bifo bingi, ekitundu kye tubuuliramu tukiddiŋŋana enfunda n’enfunda. Tweyongera okuddayo mu maka ge gamu emirundi n’emirundi wadde nga bannyinimu bayinza okuba baatugamba nti tebaagala kuyiga Baibuli. Lwaki tweyongera okukyalira abo abataasiima bubaka bwaffe?

2. Nsonga ki enkulu etuleetera okwenyigira ennyo mu buweereza?

2 Okwagala kwe Tulina eri Yakuwa n’Abantu: Ensonga enkulu etuleetera okwenyigira ennyo mu buweereza kwe kwagala kwe tulina eri Yakuwa. Omutima gwaffe gutukubiriza okweyongera okubuulira abalala ebikwata ku Katonda waffe ow’ekitalo. (Luk. 6:45) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okugondera ebiragiro bye era n’okuyamba abalala okukola kye kimu. (Nge. 27:11; 1 Yok. 5:3) Tweyongera okukola omulimu guno n’obwesigwa, abantu ka babe nga basiima obubaka bwaffe oba nedda. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ne bwe baali nga bayigganyizibwa, beeyongera okubuulira ‘awatali kuddirira.’ (Bik. 5:42, NW) Abantu bwe bagaana okuwuliriza obubaka bwaffe, tetuggwaamu maanyi wabula tweyongera bweyongezi okwemalira ku Yakuwa n’okwoleka okwagala kwe tulina gy’ali.

3. Okwagala kwe tulina eri abantu kunaatuyamba kutya okweyongera okubuulira?

3 Era tweyongera okubuulira olw’okuba twagala muliraanwa waffe. (Luk. 10:27) Yakuwa tayagala muntu yenna kuzikirizibwa. (2 Peet. 3:9) Ne mu bitundu ebibuulirwamu ennyo, tukyasangamu abo abaagala okuweereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, mu Guadeloupe abantu 214 be baabatizibwa omwaka oguwedde. Mu nsi eyo, omuntu omu ku buli bantu 56 Mujulirwa wa Yakuwa. Abantu nga 20,000 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo, nga kino kitegeeza nti omuntu 1 ku buli bantu 22 yaliwo!

4. Ebitundu bye tubuuliramu bikyukakyuka bitya?

4 Enkyukakyuka Ezibaawo mu Kitundu: Ebitundu bye tubuuliramu bikyukakyuka buli kiseera. Bwe tuddayo mu maka gye bataasiima bubaka bwaffe, omuntu omulala ow’omu maka ago​—oboolyawo oyo atawulirangako ku bubaka bwaffe​—ayinza okuggulawo oluggi n’awuliriza. Oba tuyinza okusangayo abasenze abappya abaagala okuwuliriza. Abaana abalina abazadde abataagala bubaka bwaffe, bakula ne bava awaka. Abaana ng’abo bayinza okwagala okuwulira obubaka bw’Obwakabaka.

5. Kiki ekiyinza okuleetera abantu okweyongera okusiima amazima?

5 N’abantu bakyuka. Omutume Pawulo yaliko “omuvumi era omuyigganya era ow’ekyejo.” (1 Tim. 1:13) Mu ngeri y’emu, bangi leero abaweereza Yakuwa, mu kusooka baali tebaagala mazima. Kiyinzika okuba nti abamu baali baziyiza amawulire amalungi. Embeera y’ensi nga bw’egenda ekyukakyuka, abamu ku abo abaatuziyizanga oba abo abaali bateefiirayo bayinza okutandika okutuwuliriza. Abalala bayinza okweyongera okusiima obubaka bwaffe oluvannyuma lw’okutuukibwako ebizibu, gamba ng’okufiirwa omu ku b’eŋŋanda zaabwe, okufiirwa omulimu, ebizibu by’eby’enfuna, oba obulwadde.

6. Lwaki tuteekwa okweyongera okubuulira n’ebbugumu?

6 Enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno egenda esembera, kyokka omulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okuyigiriza abantu gweyongera bweyongezi mu maaso. (Is. 60:22) N’olw’ensonga eyo, tweyongera okubuulira n’ebbugumu nga tukimanyi nti waliwo abayinza okusiima obubaka bwaffe. Oboolyawo omuntu omulala gwe tunaddako okwogera naye ajja kuwuliriza. Kitwetaagisa okweyongera okwogera! ‘Bwe tukola tutyo, tulyerokola fekka era n’abo abatuwuliriza.’​—1 Tim. 4:16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza