Abazadde—Muyigirize Abaana Bammwe Empisa Ennungi
1 Empisa ennungi tezisikirwa busikirwa, oba tezijja buzi zokka. Kyokka, okuyigiriza abaana empisa ennungi, kyetaagisa ebiseera. “Okuyigiriza” kitegeeza “okuwa mu kigero ekitonotono.” Abazadde kibeetaagisa okubeera abanywevu basobole ‘okukuza abaana baabwe mu kukangavvula ne mu kubuuliriranga okwa Yakuwa.’—Bef. 6:4.
2 Tandikira mu Buwere: Obusobozi bw’abaana abato bonna okuyiga n’okukola ebintu ebippya bwewuunyisa. Wadde ng’abantu abakulu batera okukisanga nga kizibu okuyiga olulimi oluppya, abaana abatannatuuka kugenda ku ssomero basobola okuyiga ennimi biri oba satu mu kiseera kye kimu. Tolowoozanga nti omwana wo akyali muto nnyo okusobola okukulaakulanya empisa ennungi. Singa otandika okubayigiriza amazima ga Baibuli nga bukyali era n’otaddirira, mu kiseera omwana ng’akuzeekuzeemu, ebirowoozo bye bijja kuba bijjudde okumanya ‘okunaamusobozesa okufuna obulokozi.’—2 Tim. 3:15.
3 Obuweereza bw’Omu Nnimiro Bufuule Empisa Yo: Empisa ennungi ey’okuyigiriza abaana nga bakyali bato, kwe kwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda obutayosa. Abazadde bangi kino batandika okukikola nga batwala abaana baabwe mu buweereza obwa nnyumba ku nnyumba ng’abaana bakyali bawere. Abazadde bwe benyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa kiyamba abaana baabwe okukulaakulanya okusiima n’obunyiikivu mu buweereza. Abazadde bayinza okulaga abaana engeri y’okwenyigira mu kuwa obujulirwa mu buli ngeri yonna ey’obuweereza obw’omu nnimiro.
4 Okwewandiisa mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase nakyo kiyamba abaana. Kibayigiriza empisa ennungi ey’okuyiga n’engeri ey’okusoma n’ekigendererwa eky’okutegeera. Bayiga okunyumya ku bikwata ku Baibuli, okukola okuddiŋŋana, n’okuyigiriza abantu Baibuli. Okutendekebwa ng’okwo kuyinza okubaleetera okwagala okukola nga bapayoniya era n’okuluubirira enkizo ez’enjawulo ez’obuweereza. Ababeseri bangi n’abaminsani bajjukira n’essanyu ebiseera byabwe eby’emabega nga bali mu Ssomero ly’Obuweereza era balitwala ng’enteekateeka eyabayamba okukulaakulanya empisa ennungi.
5 Fenna tulinga ebbumba eriri mu ngalo z’Omubumbi Asingayo obukulu, Yakuwa. (Is. 64:8) Ebbumba bwe liba nga likyali ppya, lwe lisinga okubeera eryangu okubumba. Gyerikoma okukala, gyerikoma n’okuguma. N’abantu bwe batyo bwe bali. Nga bakyali bato, babeera bangu okukyusibwa—era omwana gy’akoma okubeera omuto, n’ebivaamu gye bikoma okubeera ebirungi. Ebiseera byabwe eby’obuto biba biseera eby’enkyukakyuka, ng’enkyukakyuka ziyinza okuvaamu ebirungi oba ebibi. Ng’omuzadde afaayo, tandika nga bukyali okuyigiriza abaana bo empisa ennungi mu buweereza obw’Ekikristaayo.