Engeri y’Okusendasendamu Abalala
1 Omutume Pawulo yamanyibwa ng’omuweereza asendasenda. (Bik. 19:26) Era ne Kabaka Agulipa yamugamba: “Mu kaseera katono wandinsenzesenze okufuuka Omukristaayo.” (Bik. 26:28, NW) Kiki ekyaleetera obuweereza bwa Pawulo okubeera obusendasenda ennyo? Yakubaganyanga ebirowoozo okuva mu Byawandiikibwa mu ngeri ey’amagezi, nga by’ayogera abituukaganya n’abamuwuliriza.—Bik. 28:23.
2 Nga tukoppa Pawulo, naffe tulina okubeera abasendasenda mu buweereza bwaffe. Mu ngeri ki? Nga tukozesa okutegeera nga twogera n’abalala era nga tubawuliriza. (Nge. 16:23, NW) Emitendera esatu emikulu gijja kutuyamba okutuukiriza kino.
3 Wuliriza n’Obwegendereza: Ng’omuntu omulala ayogera, wuliriza otegeere ekyo kye muyinza okukkiriziganyako kw’onoozimbira. Singa ayogera ekiremesa, gezaako okutegeera ensonga eviiriddeko ekyo. Kyandiyambye okumanyira ddala ky’akkiririzaamu, lwaki akkiriza bw’atyo, era n’ekyamuleetera okukikkiriza. (Nge. 18:13) Mu ngeri ey’amagezi gezaako okumuleetera okubaako ky’ayogera.
4 Buuza Ebibuuzo: Omuntu bw’aba ng’akkiririza mu Tiriniti, oyinza okumubuuza: “Buli kiseera obadde okkiririza mu Tiriniti?” Yongera omubuuze: “Wali weekenneenyezza Baibuli ky’eyogera ku nsonga eyo?” Era oyinza n’okumubuuza: “Singa Katonda yali kitundu kya Tiriniti, tetwandisuubidde Baibuli okukyoleka obulungi?” By’addamu bijja kukuyamba okukubaganya ebirowoozo n’omuntu oyo ku ebyo Ebyawandiikibwa kye bigamba.
5 Nnyonnyola Bulungi: Omujulirwa yabuuza omukyala eyali akkiriza nti Yesu ye Katonda: ‘Singa obadde ogezaako okunnyonnyola nti abantu babiri benkanankana, luganda ki olw’omu maka lwe wandikozesezza?’ Yamuddamu: “Nnyinza okukozesa ab’oluganda babiri.” Ow’oluganda yagattako nti: “Oboolyawo abalongo abafaanaganira ddala. Naye mu kutuyigiriza okutunuulira Katonda nga Kitaffe n’okumutunuulira ye kennyini nga Omwana, bubaka ki Yesu bwe yali atutuusaako?” Omukyala ensonga yagiraba nti omu ku bo mukulu era alina obuyinza obusingawo. (Mat. 20:23; Yok. 14:28; 20:17) Ebirowoozo bye n’omutima gwe byali bituukiddwako olw’engeri ennungi ey’okusendasenda.
6 Kya lwatu, bonna tebayinza kukkiriza mazima, ka kibe nti engeri gye tunnyonnyolamu ya magezi era nga ntuufu kwenkana wa. Naye nga Pawulo, ka tubeere banyiikivu mu kunoonya abo ab’emitima emyesigwa abali mu kitundu kyaffe, nga tubasendasenda okukkiriza obubaka bw’Obwakabaka.—Bik. 19:8.