Yamba Abalala Okubeerawo mu Nkuŋŋaana
1 “Ab’emikwano bonna mu kitundu eky’omuliraano . . . abaagala okubeerawo mu nkuŋŋaana baanirizibwa n’essanyu lingi nnyo.” Bukya ekirango kino kifulumira mu Zion’s Watch Tower aka Noovemba 1880, Abajulirwa ba Yakuwa babadde bayita abantu okukuŋŋaana wamu nabo okuyigirizibwa Baibuli. (Kub. 22:17) Kino kitundu kikulu eky’okusinza okw’amazima.
2 Kikulu Okubeerawo: Tufuna emikisa bwe tukuŋŋaana awamu kibiina. Tweyongera okumanya Katonda waffe ow’ekitalo, Yakuwa. Mu kibiina tukuŋŋaana wamu ‘okuyigirizibwa Yakuwa.’ (Is. 54:13) Entegeka ye etuteekerateekera programu ey’okuyigirizibwa Baibuli etusembeza okumpi naye era etuyamba okussa mu nkola “[o]kuteesa kwa Katonda kwonna.” (Bik. 20:27; Luk. 12:42) Enkuŋŋaana zituwa okutendekebwa kinnoomu mu kuyigiriza obulungi Ekigambo kya Katonda. Okujjukizibwa kwe tufuna mu Byawandiikibwa kutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi n’abalala era ne Yakuwa kennyini. Okukolagana n’abo abaagala Katonda kinyweza okukkiriza kwaffe.—Bar. 1:11, 12.
3 Bayite Butereevu: Okuviira ddala ku mulundi ogusooka ogw’okusoma, yita buli muyizi wa Baibuli okubeerawo mu nkuŋŋaana. Muwe akapapula akayita abantu okubeerawo mu nkuŋŋaana. Mwagazise okujja mu nkuŋŋaana ng’omubuulira ku nsonga eyakuzizzaamu amaanyi mu lukuŋŋaana olwakaggwa era ng’oyogera ku kintu ekinaakubaganyizibwako ebirowoozo mu lukuŋŋaana olunaddako. Mutegeeze Kingdom Hall yaffe bw’efaanana, era kakasa nti amanya engeri y’okugizuula.
4 Omuyizi bw’atagenderawo mu lukuŋŋaana, weeyongere okumuyita. Funayo eddakiika entonotono buli wiiki okumulaga engeri entegeka yaffe gy’eddukanyizibwamu. Kozesa brocuwa Doing God’s Will ne vidiyo Jehovah’s Witnesses—The Organization Behind the Name okumumanyisa ebitukwatako n’enkuŋŋaana zaffe. Gendayo n’ababuulizi abalala omuyizi wo asobole okubategeera. Mu kusaba kwo, weebaze Yakuwa olw’entegeka ye era yogera ku bwetaavu bw’omuyizi okukolagana nayo.
5 Tolonzalonza kuyamba bappya okukuŋŋaana naffe. Ng’oku-siima kwabwe eri Yakuwa kweyongera, bajja kukubirizibwa okussa mu nkola bye bayiga era n’okuba ekitundu ky’entegeka ya Katonda eri obumu.—1 Kol. 14:25.