Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Ekitundu 8: Okuyamba Abayizi Okwegatta ku Kibiina
1. Lwaki kya muganyulo okuyigiriza omuyizi ekintu kimu ekikwata ku kibiina kya Yakuwa buli wiiki bwe muba nga musoma?
1 Ekiruubirirwa kyaffe mu kuyigiriza abayizi, si kwe kubayigiriza enjigiriza za Baibuli kyokka naye era n’okubayamba okwegatta ku kibiina Ekikristaayo. (Zek. 8:23) Brocuwa Abajulirwa ba Yakuwa—be baani? Kiki kye Bakkiriza? eyinza okutuyamba okukola kino. Giwe abayizi bo aba Baibuli abappya, era obakubirize okugisoma. Okugatta ku ekyo, kozesa eddakiika ntonotono buli wiiki nga musoma omuyigirizeeyo ekintu kimu ekikwata ku kibiina kya Yakuwa.
2. Oyinza otya okukubiriza abayizi ba Baibuli okujja mu nkuŋŋaana z’ekibiina?
2 Enkuŋŋaana z’Ekibiina: Engeri emu eyinza okusobozesa abayizi ba Baibuli okutegeera ekibiina kya Katonda kwe kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. (1 Kol. 14:24, 25) N’olwekyo, oyinza okusooka okubategeeza enkuŋŋaana z’ekibiina ettaano eza buli wiiki ng’obannyonnyola lumu ku lumu. Bategeeze omutwe gw’emboozi ya bonna egenda okuweebwa wiiki eyo. Balage ebigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Kusoma okw’Ekitabo okw’Ekibiina. Bannyonnyole Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Bw’oba ng’olina emboozi mu ssomero oyinza okubalaga engeri gy’ogenda okugiwaamu. Babuulire ensonga enkulu ezaayogeddwako mu nkuŋŋaana. Kozesa ebifaananyi ebiri mu bitabo byaffe kikusobozese okubayamba okutegeera obulungi ebyo ebibeera mu nkuŋŋaana. Bakubirize okujja mu nkuŋŋaana amangu ddala nga wakatandika okuyiga nabo.
3. Bintu ki ebikwata ku kibiina bye tuyinza okunnyonnyola abayizi?
3 Bwe waba nga wagenda kubaawo Ekijjukizo, enkuŋŋaana ennene n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu, kozesa eddakiika ntonotono okubibannyonnyola era obaleetere okwesunga okubaawo. Bannyonnyole ebibuuzo nga bino: Lwaki tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa? Lwaki ebizimbe bye tukuŋŋaaniramu biyitibwa Ebizimbe eby’Obwakabaka? Mirimu ki egikolebwa abakadde n’abaweereza? Omulimu gw’okubuulira n’ebitundu bye tubuuliramu bitegekebwa bitya? Ebitabo byaffe bikubibwa bitya? Ekibiina kyaffe kiwagirwa kitya mu by’ensimbi? Ettabi lya ofiisi n’Akakiiko Akafuzi birina kifo ki mu kulabirira omulimu gw’okubuulira?
4, 5. Vidiyo zaffe ziyinza zitya okuyamba abayizi okweyongera okutegeera obulungi ekibiina?
4 Vidiyo Eziyigiriza: Engeri endala eyinza okukozesebwa okuyamba abayizi ba Baibuli okutegeera obulungi ekibiina kya Yakuwa kwe kukozesa vidiyo zaffe. Vidiyo To the Ends of the Earth eraga omulimu gwaffe ogw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, Our Whole Association of Brothers, eraga oluganda lwaffe olw’ensi yonna ate yo United by Divine Teaching eraga obumu bwa Abajulirwa ba Yakuwa. Omukazi eyalinga afuna magazini zaffe n’ebitabo ebirala okumala emyaka etaano yakaaba amaziga oluvannyuma lw’okulaba vidiyo Jehovah’s Witnesses—The Organization Behind the Name. Yali yeesiga Abajulirwa abaamukyaliranga, naye bwe yalaba vidiyo eno, yawulira ng’alina n’okwesiga ekibiina. Yatandika okuyigirizibwa Baibuli era wiiki eyaddako yajja mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka.
5 Bwe tuwaayo eddakiika ntonotono buli wiiki okunnyonnyola abayizi ebikwata ku kibiina, era ne tukozesa ebintu ebituweereddwa ekibiina tusobola okuyamba abayizi okwegatta ku kibiina Yakuwa ky’akozesa leero.