BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubaawo mu Nkuŋŋaana
Okubaawo mu nkuŋŋaana kye kimu ku bintu ebikulu bye tukola mu kusinza okulongoofu. (Zb 22:22) Abo bonna abakuŋŋaana awamu okusinza Yakuwa bafuna essanyu lingi n’emikisa. (Zb 65:4) Abayizi ba Bayibuli bakulaakulana mangu bwe baba nga babaawo mu nkuŋŋaana obutayosa.
Oyinza otya okuyamba abayizi bo aba Bayibuli okubaawo mu nkuŋŋaana? Weeyongere okubakubiriza okubaawo mu nkuŋŋaana. Balage vidiyo erina omutwe Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? Bannyonnyole emiganyulo gye bajja okufuna nga bazze mu nkuŋŋaana. (lff essomo 10) Osobola okubabuulirako ekintu ekimu kye wayize mu lukuŋŋaana, oba okubabuulira ebimu ku ebyo ebijja okuba mu lukuŋŋaana oluddako. Bawe obutabo obukozesebwa mu nkuŋŋaana. Ate era oyinza okubaako ky’okolawo okubayamba, gamba ng’okubayambako ku ntambula. Ojja kuwulira essanyu lingi ng’omuyizi wo azze mu nkuŋŋaana omulundi gwe ogusooka.—1Ko 14:24, 25.
MULABE VIDIYO, YAMBA ABAYIZI BO ABA BAYIBULI OKUBAAWO MU NKUŊŊAANA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Kakisa ki Anita ke yakozesa okuyita Shanita okubaawo mu nkuŋŋaana?
Lwaki tufuna essanyu omuyizi wa Bayibuli bw’abaawo mu nkuŋŋaana?
“Ddala Katonda ali mu mmwe”
Shanita yakwatibwako atya bwe yajja mu lukuŋŋaana lwe olwasooka?